John Baptist Mukasa
John Baptist Nsubuga Mukasa (Omwezi ogusooka 1967 – Omwezi ogwomukaaga 2021) yali munnayuganda omusawo alongoosa obwongo eyaweerezaako ng'omusawo alongoosa obwongo eyeebuzibwako ku ddwaliro ly'eggwanga ekkulu ery'e Mulago mu kibuga kya Uganda ekikulu Kampala. Mu kiseera kye kimu yaweereza ng'omusomesa ali ku ddaala erya waggulu mu kitongole ekisomesa okulongoosa obwongo mu bbanguliro lya yunivasite y'e Makerere ery'obujanjabi eririranyeewo
Yafiira mu Kampala, olw'ebizibu ebyava mu bulwadde bwa Lumiima -Mawugwe (COVID -19) nga 29 Omwezi ogw'omukaaga 2021. [1]
Obuvo bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mukasa yazaalibwa awo nga mu 1967 mu ttundutundu ly'amasekkati ga Uganda . Oluvannyuma lw’okusoma mu masomero ga pulayimale ne siniya ag’omu kitundu, yaweebwa sikaala okusoma obusawo obw'okujanjaba bw’abantu ku yunivasite y'e Luhansk State Medical Uniiversity, mu Ukraine, n’atikkirwa diguli y’obusawo obwokujanjaba abantu okuva eyo.
Oluvannyuma, yagenda ku Yunivasite y,e Huanzhong University of Science and Technology, Wuhan, Hubei, China, gye yakugukira ng’omusawo alongoosa obwongo. Ebintu byeyeeyongera okukugukamu mwalimu okulongoosa abafunye obuzibu ku bwongo mu bubenje (neurotraumao), okulongoosa abaana abalina obuzibu ku bwongo (pediatric neurosurgery) n’okulongoosa olukizi(spinal cord surgery. [2] [3]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kiseera we yafiira, Mukasa yali omu ku basawo ekkumi n'abasatu (13 ) bokka abalongoosa obwongo mu Uganda, eteeberezebwa okaba n'obungi bw'abantu abawera obukadde amakumi anna mu musanvu (47 Million) [2] Mungeri ey'omukwano nokwagala ajjukirwa banne, bakozi banne, abasawo abalongoosa obwongo, abatuuze, abayizi abasoma obusawo be yasomesa ne beyali eky'okulabirako gye bali, n’abalwadde abangi be yalongoosa n’akola kyonna ekisoboka okuyamba. Mu bano kuliko Juliet Sekabunga Nalwanga, omusawo omukyala eyasooka mu Uganda okulongoosa obwongo, eyatendekebwa Mukasa. [2] [3] John B. Mukasa nera yalina enkizo z’okuddukanya emirimu mu ddwaaliro lya UMC Victoria Hospital e Bukoto , mu bukiikakkono bwa Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu . [2]
Obulamu bwe ng'omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Dr Mukasa yaleka namwandu n'abatabani babiri. [2]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Chris Kiwawulo (29 June 2021). "Senior neurosurgeon Dr. Mukasa succumbs to COVID-19". Kampala, Uganda. Retrieved 22 October 2022.
- Saeed Kamali Dehghan (9 August 2021). ""A great blow to Uganda": Surgeon John Baptist Mukasa dies of Covid". The Guardian. London, United Kingdom. Retrieved 22 October 2022.
- Adela Wu (17 July 2022). "Pandemic Loss: Pioneering Ugandan Neurosurgeon Was A 'Servant Of The People'". National Public Radio. Washington, D.C., United States. Retrieved 22 October 2022.
- ↑ Chris Kiwawulo (29 June 2021). "Senior neurosurgeon Dr. Mukasa succumbs to COVID-19". Retrieved 22 October 2022.
- 1 2 3 4 5 Saeed Kamali Dehghan (9 August 2021). ""A great blow to Uganda": Surgeon John Baptist Mukasa dies of Covid". The Guardian. Retrieved 22 October 2022. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "2R" defined multiple times with different content - 1 2 Adela Wu (17 July 2022). "Pandemic Loss: Pioneering Ugandan Neurosurgeon Was A 'Servant Of The People'". National Public Radio. Retrieved 22 October 2022. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "3R" defined multiple times with different content
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Lumiima-mawugwe: Abasawo abaafiira ku mulimu Okuva nga 1 Omwezi ogwomusanvu 2021