John Baptist Odama
John Baptist Odama (yazaalibwa nga 20 Ogwomusanvu 1947) musumba w’Awabakatoliki Munnayuganda era nga yaweereza nga Ssaabasumba w'ssaza ekkulu ery’e Gulu, mu Uganda, okuva nga 2 Ogwoluberyeberye 1999 okutuusa lwe yawummula olw’emyaka gye nga 22 Ogwokusatu 2024. Nga tannatuuka awo, okuva nga 23 Ogwokubiri 1996 okutuuka nga 2 Ogwoluberyeberye 1999, ye yali omusumba w’essaza ly’ekereziya katolika e Nebbi, mu Uganda. Yalondebwa Paapa John Paul II okubeera omusumba. Yatukuzibwa n’atuuzibwa e Nebbi nga 26 Ogwokutaano 1996. Nga 2 Ogwokubiri 1999, Paapa yamukyusa n’amutwala e Gulu n’amulonda nga Ssaabasumba Metropolitan eyo. Okulekulira kwe olw’emyaka kwakkirizibwa Paapa Francis nga 22 Ogwokusatu 2024. Bwe yali mu kuwummula, yaweerezaako ng’Omuddukanya w'Obutume mu busumba bw’e Gulu okuva nga 22 Ogwokusatu 2024 okutuuka nga 12 Ogwomusanvu 2024.
Obuvo bwe n’obusaserdooti
[kyusa | kolera mu edit source]Odama yazaalibwa ku kyalo Riki-Oluko, mu Disitulikiti y’e Arua leero, mu kitundu kya West Nile, mu Bukiikakkono bwa Uganda nga 29 Ogwomukaaga 1947. Yatuuzibwa nga Omusaserdooti mu busuumba bw’e Arua, nga 14 Ogwekkuminebiri 1974, mu Lutikko y’e Arua, Omusumba Angelo Tarantino, Omusumba w’e Arua. Yaweereza nga Omusaserdooti w'essaza ly'e Arua okutuusa nga 23 Ogwokubiri 1996.[1]
Nga Omusumba
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 23 Ogwokubiri 1996, Paapa John Paul II yalonda Odama nga omusumba. Yatuzibwa ng’Omusumba w’Obusumba bw’Abakatuliki obw’e Nebbi, nga 26 Ogwokutaano 1996, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa nga 2 Ogwoluberyeberye 1999.[1]
Nga 2 Ogwoluberyeberye 1999, yalondebwa okuba Ssaabasumba w’essaza ly’e Gulu ery’Abakatuliki, nga ye musumba w’Ekikatoliki eyasooka okuweereza mu kifo ekyo; kubanga Essaza eryo yatondebwawo ku lunaku lwe lumu lwe yatuuzibwa.[1][2]
Odama yali ssentebe w’ekibiina ky’enzikiriza ez’enjawulo ekimanyiddwa nga Acholi Religious Leaders Peace Initiative (ARLPI), okuva mu 2002 okutuuka mu 2010. Ekibiina kino kyali kyenyigira mu kaweefube w’okuzza emirembe mu Bukiikakkono bwa Uganda. Ng’omukulembeze w’ekibiina kino, Odama yasisinkana Joseph Kony n’abakulembeze abalala ab’eggye lya Lord’s Resistance Army n’abatabaganya ne Gavumenti ya Uganda. ARLPI yafuna ekirabo kya Niwano Peace Prize mu 2004. Odama era yali mu nteeseganya za Juba mu 2006-08 wakati w’enjuyi zombi mu South Sudan.[3][4]
Ssaabasumba Odama y'aliko ssentebe w'Olukiiko lw'Abasumba mu Uganda okuva mu 2010.[5]
Obuvunaanyizibwa obulala
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu Gwoluberyeberye 2020, Ssaabalabirizi Odama ye Chancellor wa Uganda Martyrs University, yunivasite ey’obwannannyini eyeegattira ku kkanisa ya Roman Catholic Church mu Uganda era nga kampasi yaayo enkulu eri mu Disitulikiti y’e Mpigi, Uganda.[6]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 David M. Cheney (3 April 2025). "MicroData Summary for Archbishop John Baptist Odama (born 29 June 1947) Archbishop Emeritus of Gulu". Kansas City. Retrieved 1 August 2025.
- ↑ David M. Cheney (17 February 2019). "Profile of the Archdiocese of Gulu: Historical Summary". Kansas City: Catholic-Hierarchy.org. Retrieved 22 August 2019.
- ↑ Pax Christi International (2006). "About Acholi Religious Leaders' Peace Initiative". Brussels, Belgium: Pax Christi International. Archived from the original on 22 August 2019. Retrieved 22 August 2019.
- ↑ Mike Wooldridge (19 January 2011). "LRA: Ugandan Bishop Urges Negotiated Settlement". London: British Broadcasting Corporation. Retrieved 22 August 2019.
- ↑ Uganda Episcopal Conference (6 June 2010). "Uganda Episcopal Conference: About Uganda Catholic Secretariat". Uganda Episcopal Conference. Archived from the original (Archived from the original on 9 December 2013) on 9 December 2013. Retrieved 22 August 2019.
- ↑ Mathias Mazinga (10 November 2018). "Uganda Martyrs University passes out 2040 graduates". Retrieved 7 January 2020.
Olukangaga lw'okuddiriragana mu buweereza
[kyusa | kolera mu edit source]Template:S-start Template:S-rel Template:S-break Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-break Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-break Template:S-end
Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]Lua error: Invalid configuration file.