Jump to content

John Bosco Ikojo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

John Bosco Ikojo (yazaalibwa 21 Ogwomusanvu 1974) Munnayuganda omubalirizi w'ebitabo, omukugu mu byensimbi era munnabyabufuzi. Ono ye mubaka mu Palamenti owa Bukedea County, mu Disitulikiti y'eBukedea, era nga wa kibiina kya NRM, ekibiina ky’ebyobufuzi ekiri mu buyinza mu Uganda. [1] [2] [3] [4]​​​ [5] [6]

Nga tannatandika byabufuzi, Ikojo yakolako ng’akulira ebyensimbi mu Bukedea Town Council era ng’omubalirizi w’ebitabo mu Gavumenti ez’ebitundu mu Disitulikiti y’e Kumi . Era ye mutandisi era akulira kkampuni ya ROSKO Uganda, egaba looni entotono mu Uganda. [7]

Obuto bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Ikojo yazaalibwa Bukedea, mu ttundutundu lya Teso sub-region, nga 21 Ogwomusanvu 1974 nga wa nzikiriza ya Kkanisa ya Uganda. Pulayimale yagisomera mu kitundu ky'e Bukedea era n’afuna ebbaluwa ya PLE mu 1988.

Oluvannyuma yagenda mu Wiggins Secondary School okusoma gye yatuulira Siniya eyookuna mu 1992 oluvannyuma ne yeegatta ku ne Ngora High School gye yatuulira ebigezo bya Siniya eyoomukaaga n'afuna ebbaluwa ya UACE mu 1996.

Ikojo yeeyongerayo ne yeegatta ku ttendekero lya Makerere University Business School ng'ayita mu Uganda College of Commerce Aduku gye yafunira dipulooma mu byakitunzi mu 1998. Oluvannyuma yeegatta ku Makerere University, n’atikkirwa diguli mu byobusuubuzi eya Bachelor of Commerce mu 2006. Yayongerako diguli eyookubiri mu byobusuubuzi eya Master of Business Administration okuva mu ttendekero lya Uganda Management Institute mu 2014. [1]

Emirimu gye n’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ikojo yatandika emirimu gye mu 2000 oluvannyuma lw’okufuna dipulooma n'akola ng’omubalirizi w’ebitabo mu Gavumenti ez’ebitundu mu Disitulikiti y’e Kumi okutuusa mu 2007 lwe yafuna omulimu ng’akulira ebyensimbi mu Bukedea Town Council. Yaweereza munisipaali eno okutuusa mu 2010 lwe yalekulira okwetaba mu byobufuzi eby'akalulu.

Mu 2010, [8] Ikojo yeegatta ku byobufuzi eby’akalulu ku tikiti ya National Resistance Movement era n’akola enteekateeka z’okulonda kwa 2016 ekintu ekyamuyamba okuwangula mu kamyufu k'ekibiina aka 2015 n’okulonda kwa bonna okwa 2016 bw’atyo n’afuuka mmemba wa Palamenti ey’ekkumi eya Uganda, Ekkula lya Africa ng’akiikirira Bukedea County mu Disitulikiti y’e Bukedea. Mu Palamenti ey’ekkumi, Ikojo yaweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku byenfuna by’eggwanga n’akakiiko akavunaanyizibwa ku byobugagga obw'ensibo. Ono era mmemba mu kakiiko ka Palamenti aka NRM. [7] [9]

Ebirala ebimukwatako

[kyusa | kolera mu edit source]

Ikojo musajja mufumbo era alina abaana abawerako. Era y'akulira kkampuni ya ROSKO Uganda, kkampuni ewola ssente gye yatandika mu 2004.

Ebiwandiiko ebikozeseddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "IKOJO JOHN BOSCO". Parliament of Uganda.
  2. admin (2020-09-04). "OFFICIAL: Incumbent Ikojo secures bragging rights in Bukedea, leaves Apostle Dan speaking in tongues". Kampala Sqoop (in American English). Retrieved 2023-02-08.
  3. "John Bosco Ikojo". theyworkforyou.github.io. Retrieved 2023-02-08.
  4. "Ikojo John Bosco - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-08.
  5. "Bukedea residents excited over new sub-counties". New Vision.
  6. "MPs 'banned' from travelling abroad". Daily Monitor. Archived from the original on 2017-08-16. Retrieved 2025-10-22.
  7. 1 2 "Bukedea MP Ekuma loses election". Vision Group. Archived from the original on 2018-10-05. Retrieved 2025-10-22.
  8. "Calm returns to Bukedea". New Vision.
  9. "Kadaga Names 20 Man Team to Vet EALA Nominees". Parliament Watch. 14 February 2017.

Ebiwandiiko ebijuliziddwa okuva ebweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]