John Byabagambi
John Byabagambi yazaalibwa nga 8 Ogwokutaano mu 1958 yinginiya era munnabyabufuzi Omunnayuganda . Yaliko Minisita wa Kabineti avunaanyizibwa ku Nsonga z'e Karamoja, mu kabineti ya Uganda okuva nga 6 Ogwomukaaga 2016 okutuuka nga 8 Ogwomukaaga 2021 era nga Mary Goretti Kitutu yeeyamudira mu bigere. [1] Emabegako yawerezaako nga Minisita w'Emirimu n'Eby'entambula wakati w'Ogwokusatu 2015 n'Ogwomukaaga 2016, [2] ng'adda mu bigere bya Abraham Byandala eyalondebwa okuba Minisita atalina Kifo Kyankalakarira . [3] Era yeeyali Omubaka wa Palamenti eyalondebwa, ng'akiikirira Ibanda County South mu Disitulikiti y'e Ibanda. Yasooka kulondebwa ku kifo ekyo mu 2001. [4]
Obulamu bwe n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]John Byabagambi yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Ibanda nga 8 Ogwokutaano mu 1958. Yasomera mu St. Leo's College Kyegobe e Fort Portal, gyeyatuulira S.4 mu 1973. S.6 yagisomera ku St. Henry's College Kitovu e Masaka, nga gyeyagituulira mu 1979. Alina diguli ya Master of Science mu Chemical Engineering. Yunivasite gye yafunira diguli ye eno teyogerwaako. [4]
Emulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Nga tannaba kwegatta ku bya bufuzi mu 2001, yakolako nga Yinginiya mu bizinensi z’obwannannyini eziwerako. Mu 1989, yakola nga Yinginiya mu Bafulumya ebintu mu kampuni ya Miroko Industries. Okuva mu 1991 okutuuka mu 1992, yakola ng'Akulira ba Maneja mu Mukwano Industries Limited, ezimu ku kampuni za Mukwano Group of Companies. Wakati wa 1992 ne 2001, yakola ng'Akulira ba Maneja mu Songdol Films Uganda Limited. Mu 2001, yayingira eby'obufuzi n’avuganya ku kifo kya palamenti okukiikirira Ibanda County South mu Disitulikiti y’e Ibanda. Yawangula mu 2001 n’addamu okulondebwa mu 2006 ku tikiti y’ekibiina ky’eby'obufuzi ekya National Resistance Movement (NRM). [4] Oluvannyuma lw'okuweereza nga Minisita w'Emirimu n'Ebyentambula okuva nga 1 Ogwokusatu mu 2015 okutuuka nga 6 Ogwomukaaga mu 2016, yaddamu okuweebwa omirimu gwa Minisita wa Kabineti e Karamoja nga 6 Ogwomukaaga mu 2016. [5] Yava mu kabineti nga 8 Ogwomukaaga 2021. [6]
Obulamu bw’e
[kyusa | kolera mu edit source]Mufumbo. Ono wa kibiina kya byabufuzi ekya National Resistance Movement. Ebintu by'asinga okwagala kuliko okusoma n'okutambula . [4]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Uganda State House (6 June 2016). "Uganda's New Cabinet As At 6 June 2016". Scribd.com. Retrieved 7 June 2016.
- ↑ Administrator (2 March 2015). "Museveni Reshuffles His Cabinet". Archived from the original on 3 March 2015. Retrieved 3 March 2015.
- ↑ Uganda State House (1 March 2015). "Full Cabinet List As At 1 March 2015" (PDF). Archived from the original (PDF) on 9 July 2017. Retrieved 3 March 2015.
- 1 2 3 4 POU. "Profile of Byabagambi John, Member of Parliament for Ibanda County South, Ibanda District". Parliament of Uganda (POU). Archived from the original on 24 September 2015. Retrieved 3 March 2015.
- ↑ Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Archived from the original (PDF) on 7 October 2016. Retrieved 7 June 2016.
- ↑
{{cite news}}: Empty citation (help)"NEW CABINET: Museveni drops Kutesa, 10 ministers". The Independent. 9 June 2021. Retrieved 29 August 2022.