Jump to content

John Ddumba Ssentamu

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

John Ddumba Ssentamu (yazaalibwa mu 1953) Munnayuganda omukugu mu byenfuna, mu byenjigiriza era omukugu mu bya bbanka. Pulofeesa mu byenfuna era yaliko omumyuka w'akulira yunivasite ya Makerere, okuva mu 2012-2017 nga ye yunivasite esinga obukadde mu Uganda, eyatandikibwawo mu 1922. [1] Ye ssentebe w'olukiiko olukulu olutwala Centenary Bank, bbanka y’ebyobusuubuzi ekwata ekyokubiri mu zisinga obunene mu ggwanga.

Yazaalibwa mu 1953, mu Disitulikiti y’e Masaka, mu ssaza ly'e Buddu, mu masekkati ga Uganda . [2]

Pulofeesa Ddumba Ssentamu yasomera mu ssomero lya St. Mary's College Kisubi era gye yatuulira siniya eyookuna n'ey'omukaaga. Oluvannyuma yayingira Yunivasite ya Makerere mu 1974, okusoma ebyenfuna, n’atikkirwa diguli esooka mu byenfuna (Bachelor of Arts in Economics), mu 1977. Oluvannyuma yava e Makerere n’agenda okwongera okusoma e Canada. [3]

Yafuna diguli eyookubiri (Master of Arts in Economics), okuva mu University of Waterloo, e Waterloo, Ontario, Canada mu 1979. Oluvannyuma yakomawo e Makerere okusoma diguli ye eyookusatu eya Doctor of Philosophy (PhD) mu byenfuna. [4] [5]

Omulimu gw’ekikugu

[kyusa | kolera mu edit source]

Okumala emyaka egisoba mu 35, abadde musomesa, omusomesa omukulu, anaatera okufuuka pulofeesa era pulofeesa mu yunivasite ya Makerere. Mu kiseera we yalondebwa ku kifo ky’alimu kati, yali Principal w’ettendekero lya College of Business and Management Science mu yunivasite y’e Makerere. Kigambibwa nti alina ebitabo nga 30 bye yafulumya mu mannya ge. Amaze emyaka egisoba mu 10 nga ssentebe w’olukiiko olufuzi mu bbanka ya Centenary. Mu kiseera ekyo, bbanka eno ekula okuva ku kitongole ekitono eky’ensimbi entonotono n’efuuka bbanka y’ebyobusuubuzi enzaalwa ey’okubiri mu Uganda. Emyaka bwe gizze giyitawo, Pulofeesa Ddumba Ssentamu abaddeko ng’omukebezi ow’ebweru, omusomesa ow’ekiseera oba omukenkufu ow’ebweru ow’okukuza abakozi mu limu ku matendekero gano wammanga:

  • Yunivasite y’e Waterloo e Waterloo, Ontario, Canada.
  • Yunivasite ya Nelson Mandela Metropolitan University e Port Elizabeth, South Afrika
  • Yunivasite y’e Ghana e Legon, Ghana
  • Yunivasite y’e Swaziland e Mbabane, Swaziland
  • Kwame Nkrumah Yunivasite ya Sayansi ne Tekinologiya e Kumasi, Ghana ne...
  • Yunivasite y’e Dar es Salaam mu Tanzania

Era abaddeko ng'omuwi w'amagezi mu bitongole by'amawanga amagatte eby'enjawulo omuli UNDP, FAO, WHO, WFP, n'ebirala nga USAID ne Gavumenti ya Sweden . [6]

Ebirala ebimukwatako

[kyusa | kolera mu edit source]

Ssentamu mufumbo. Ye mu nzikiriza y’Ekikatoliki ekya Rooma .Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

__LEAD_SECTION__

[kyusa | kolera mu edit source]

John Ddumba Ssentamu (yazaalibwa mu1953) Munnayuganda omukugu mu byenfuna, mu byenjigiriza era omukozi mu bbanka. Ono Pulofeesa w’ebyenfuna era nga yaliko omumyuka wa Chancellor (2012-2017) mu yunivasite y’e Makerere, yunivasite esinga obukadde mu Uganda, eyatandikibwawo mu 1922. [7] Ye ssentebe wa Centenary Bank, bbanka y’ebyobusuubuzi eyatandikira mu Uganda era nga yakubiri mu bunene mu ggwanga.

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Tuhereze, Elias (15 September 2017). "Professor Ddumba Is Makerere Vice Chancellor". Makerere University. Retrieved 9 November 2017.
  2. Kagolo, Francis (13 September 2012). "We Shall Rebuild Makerere – Professor Ddumba". Retrieved 30 July 2014.
  3. mwamai (2019-10-07). "Prof. John Ddumba-Ssentamu". Makerere University (in Lungereza). Archived from the original on 2023-05-17. Retrieved 2023-05-17.
  4. Talemwa, Moses (12 July 2009). "Professor Ddumba: Modern Professor". Retrieved 30 July 2014.
  5. Campus, News (2012). "Profile of Professor John Ddumba, Makerere university Vice Chancellor". CampusTimesUg.Com. Retrieved 30 July 2014. {{cite web}}: |first= has generic name (help)
  6. Kagolo, Francis (28 Gwamunaana(Muwakanya) 2012). "Professor Ddumba Is New Makerere Vice Chancellor". Archived from the original on 10 Gwamunaana(Muwakanya) 2014. Retrieved 30 Gwamusanvu(Kasambula) 2014.
  7. Tuhereze, Elias (15 September 2017). "Professor Ddumba Is Makerere Vice Chancellor". Makerere University. Retrieved 9 November 2017.