John Massa Kasenene
John Massa Kasenene mukugu mu by'ebimera n'obutonde bw'ensi, munnabyanjigiriza, munnassaayansi era omuddukanya w'eby'ensoma mu Uganda . Okuva nga 4 Ogwekkumi, 2022, abadde amyuka wa vice chancellor ow’amaanyi mu Mountains of the Moon University (MMU), mu kiseera ekyo eyali yunivasite ya gavumenti eyekkumi mu ggwanga. [1]
Okuva nga 25 Ogwolubereberye 2019 okutuuka nga 4 Ogwekkumi 2022, yaliko omumyuka wa ssentebe w’akakiiko ka Task Force akaalimu abantu abana, nga kaateekebwawo minisita wa kabineti ow’ebyenjigiriza n’emizannyo okulabirira enkyukakyuka ya MMU okuva mu kuba yunivasite ey’obwannannyini okudda ku ttendekero lya gavumenti. [2] [3]
Obuvo bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kasenene Munnayuganda, era yafuna diguli esooka eya Bachelor of Science mu Biology ne Diploma mu by’enjigiriza mu kiseera kye kimu okuva mu Makerere University, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde era esinga obunene mu Uganda. Oluvannyuma yafuna diguli eyookubiri eya Master of Science mu Plant Ecology, nga nayo yava Makerere. Diguli eyookusatu eya Doctor of Philosophy mu Forest Ecology eyamuweebwa Michigan State University, mu East Lansing, Michigan, Amerika. Era yafuna satifikeeti mu by’obutonde (primatology) n’enkola z’okunoonyereza mu nsi okuva mu matendekero agali mu ssaza ly’e Virginia, mu Amerika. [1]
Omulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kasenene asomesezza okuva mu 1982 mu masomo ge yakugukamu. nga 2011 tegunnatuuka, yeeyali omukenkufu oba pulofeesa mu Forestry Ecology mu kitundu kya Department of Botany mu Ssettendekero wa Makerere. Yli akola emirimu ebiri omwali okuba omusomesa omukulu mu ssettendekero era nga omu ku batendesi mu Makerere University Biological Field Station mu kkuumiro ly'ebisolo erya Kibale National Park.[1][4]
Okuva mu 2011 okutuuka mu 2022, yeeyali vice chancellor wa Mountains of the Moon University. Mu kiti ekyo, yeeyali munnabyanjigiriza omukulu era omuddukanya omukungu mu ttendekero,nga y'alinga CEO, ettendekero bwe lyali likyali lya bwannannyini. On 4 Ogwekkumi, ya;ondebwa okuba omumyuka wa vice chancellor wa MMU, avunaanyizibwa kuddukanya n'okutambula mu bantu, mu ttendekero lya gavumenti kati.[1][4]
Obuwandiisi mu by’ensoma
[kyusa | kolera mu edit source]Kasenene akoze kinene mu by’obutonde bw’ebimera n’ebibira ng’ayita mu kunoonyereza kwe, okufulumye mu bitabo by’abayivu ebiwerako n’ebifo ebitereka ebiwandiiko. Omulimu gwe gulimu emiko gino wammanga:
- "The influence of mechanized selective logging, felling intensity and gap-size on the regeneration of a tropical moist forest in the Kibale Forest Reserve, Uganda." Kino ekiwandiiko kyogera engeri y'okuggya emiti mu bibira nga bakozesa ebyuma mu bibira ebirimu ebika by'emiti ebingi kwali kuzibu okufuga era nga kukalubya eky'okukendeeza okukosebwa okutuusibwa ku bibira ebyemeza.[5]
- "On the Diversity of Malaria Parasites in African Apes and the Origin of Plasmodium falciparum from Bonobos". Kyazuulibwa oluvannyuma lw'okusoma obuwuka obuvaako omusujja gw'ensiri obukulu bukuumibwa nnyo amazike n'ebisodde, ate nga kyangu kubusiiga bantu, ensonga eyoomugaso mu lutalo lw'okumalawo omusujja gw'ensiri.[6]
- "Medicinal plant diversity and uses in the Sango bay area, Southern Uganda". Ekiwandiiko kyaleetera okuleeta ebimera by'eddagala ebya Sango bay mu Bukiikaddyo bwa Uganda.[7]
- "Traditional plants used for medicinal purposes by local communities around the Northern sector of Kibale National Park, Uganda". Ekiwandiiko kyaleeta ebimera by'eddagala ebikozesabwa okujjanjaba endwadde ez'enjawulo mu bantu b'omu Bukiikakkono bwa Kibale National Park mu Bugwanjuba bwa Uganda.[8] Waliwo enkola enzungu ey'okuvumula omusujja gw'ensiri yasuulibwa ebbali olwensonga nti amazike galina enkola ey'okwejjanjaba gokka mu Uganda.[9]
- "Antiplasmodial and cytotoxic activities of medicinal plants traditionally used in the village of Kiohima, Uganda". Ekiwandiiko kino kyali ku bikolwa zookunoonyereza ku bimera by'eddagala ebijjanja akawuka akaleeta omusujja gw'ensiri n'eritta obutoffaali mu mubiri ku bimera ebirondemu ku kyalo Kiohima, ekisangibwa okumpi n'ekkuumiro ly'ebisolo erya Kibale National Park mu Bukiikaddyo bwa Uganda.[10]
- "Elephants, selective logging and forest regeneration in the Kibale Forest, Uganda". Kino ekiwandiiko kyateesa nti mu kifo kyokuggya enjovu mu bibira, kisingako okukendeeza ku miti egitemebwa okusobozesa okusobozesa okutema emiti okumala ebbanga eggwanvu wamu n'okukendeeza okutema kw'emiti n'obulabe obuva mu kutema obubi emiti.[11]
- "Small rodent populations in selectively felled and mature tracts of Kibale Forest, Uganda".[12]
- "Density and species diversity of trees in four tropical forests of the Albertine rift, western Uganda". Okusoma kuno kwekenneenya ebika by'emiti nga kutunuulira obungi bwagyo, okusaasaana kwagyo mu bifo ebiwera yiika 12 1 eza poloti mu bibira bina ebisangibwa mu Albertine rift, mu bugwanjuba bwa Uganda.[13]
- "Suitable habitats for endangered frugivorous mammals: Small-scale comparison, regeneration forest and Chimpanzee density in Kibale National Park, Uganda". Ekiwandiiko kino kyateekawo ensonga ezinnyonyola obungi bw'amazike nga kigeraaebyavaamu ebibiri mu bifo ebirala bibiri mu Kibale: Kanyawara (amazike matono mu bungi) ne Ngogo (waliyo mangi, ne Sebitoli esembayo okuba ewala).[14]
- "Nodular worm infection in wild chimpanzees in Western Uganda: A risk for human health?" Ekiwandiiko kino essira ly'akissa ku Oeosophagostomum sp., okusingira ddala ku O. bifurcum, nga parasite esobola n'okutta abantu nga eno esaasaanidde nnyo mu bantu ne mu nkima mu bifo by'ebyalo, naye nga tebunnasangibwako mu mazike.[15]
- "Hydroperoxy-cycloartane triterpenoids from the leaves of Markhamia lutea, a plant ingested by wild chimpanzees". Okusoma kuno kwagamba nti crude ethyl acetate extract of M. lutea ereka eyolesezza vitro anti-parasitic activity ne low cytotoxicity ku butaffaali bwa MRC5 KB.[16] Above ground carbon stocks, woody and litter productivity along an elevational gradient in the Rwenzori Mountains, Uganda.[17] Tropical forest management: can rates of natural treefalls help guide us?[18]
- "Cycloartane triterpenes from the leaves of Neoboutonia macrocalyx L". Ekiwandiiko kino kyanoonyereza ku phytochemical ku bikoola by'ekimera ki Neoboutonia macrocalyx L ekikozesebwa anatu b'omu Bukiikaddyo bwobugwanjuba bwa Uganda mu bifo by'ekkuumiro lya Kibale National Park mu kujjanjaba.[19]
- "Post-logging tree mortality and major branch losses in Kibale Forest, Uganda". Okusoma kuno kwateekawo okwebuuza oba okutema emiti emirondemu n'okubaawo kw'amabanga kireetera okukyuka n'okugwa kw'amatabi g'emiti.[20]
- "Impact of exotic plantations and harvesting methods on the regeneration of indigenous tree species in Kibale forest, Uganda". Ekiwandiiiko kino kyekenneenya ebiva mu kutema emiti egiva ebweru n'okutemamu n'okuzzaawo emiti ginnansangwa.[21] Okunoonyereza ku nsiri eziyitibwa anopheline mosquitoes okuliraana awasulwa amazike agayinza okuba ne malaria mu nsozi za Uganda.[22]
- "Okufa mu kibira kya Kibale, mu Uganda: Okusoma ku kufa okwali mu kibira ekitonnyamu enkuba okuliraana ekibira ky'emiti egyava ebweru". Okusoma kuno kwateesa nti emiti egyaggibwa ebweru naddala conifers, tegirina kusimbibwa kumpi n'emiti gi nnansangwa.[23]
- "Antiplasmodial compounds from the stem bark of Neoboutonia macrocalyx pax".[24]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 https://www.newvision.co.ug/category/news/mmu-chancellor-appoints-vice-deputy-vice-chan-144673
- ↑ https://web.archive.org/web/20221009110839/https://admissions.co.ug/mountains-of-the-moon-university-transition-task-force/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/govt-to-take-over-mountains-of-the-moon-university-1858942
- 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/mountains-of-the-moon-university-gets-new-vc-3979764
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Doi_(identifier)
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC2820532
- ↑ https://www.sciencedirect.com/science/article/pii/S0378874107003546
- ↑ https://www.sciencedirect.com/science/article/pii/S0378874111002960
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC478548
- ↑ https://www.sciencedirect.com/science/article/pii/S0378874110007981
- ↑ https://www.cambridge.org/core/journals/journal-of-tropical-ecology/article/abs/elephants-selective-logging-and-forest-regeneration-in-the-kibale-forest-uganda/15A31CFA93080C0032B1A1BAB1AC773D
- ↑ https://www.jstor.org/stable/2388345
- ↑ https://doi.org/10.1111%2Fj.1366-9516.2004.00089.x
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC4102508
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC2838776
- ↑ https://www.sciencedirect.com/science/article/pii/S0031942209002751
- ↑ https://onlinelibrary.wiley.com/doi/10.1111/btp.13114
- ↑ https://doi.org/10.1017%2FS0030605300018779
- ↑ https://www.sciencedirect.com/science/article/pii/S0031942214000727
- ↑ https://dx.doi.org/10.1016/0378-1127%2891%2990237-P
- ↑ https://onlinelibrary.wiley.com/doi/10.1111/j.1365-2028.2007.00736.x
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC3515334
- ↑ https://dx.doi.org/10.1016/0378-1127%2889%2990047-9
- ↑ https://www.sciencedirect.com/science/article/pii/S037887411400899X