Jump to content

John Nagenda

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

John Mwesigwa Robin Nagenda ( 25 Omwezi ogwokuna 1938 – 4 Omwezi ogwokusatu 2023 ) yali munnayuganda omuwandiisi wa Uganda, munnabyabufuzi, era munnabyamizannyo. Mu myaka gya 1960, yatandikawo ebiwandiiko by’Olungereza eby’oluvannyuma lw'obufuzi bw'amatwale mu buvanjuba bwa Afirika. Yabeera mu buwanganguse mu Bungereza mu myaka gya 1970 negy'e 1980 nga tannadda mu Uganda mu 1986. Yaddako okufuuka omuwabuzi omukulu owa pulezidenti Yoweri Museveni era omuwandiisi w’emiko gy'empapula z'amawulire omututumufu. Yakiikirira obugwanjuba bw'Afirika mu mpaka z'ekikopo ky'ensi yonna ez'omuzannyo gwa Criket ez'omwaka kwa 1975 era oluvannyuma n'abeera pulezidenti w'ekibiina kya Uganda ekitwala omuzannyo gwa Cricket

Nagenda yazaalibwa nga 25 Omwezi ogwokuna 1938 mu nsi kati eyitibwa Rwanda . [1] Yeeyali mukulu mu baana omukaaga abasigaddewo abaazaalibwa William Kyanjo Nagenda ne Sala Maliamu Bakaluba. Bazadde be baali baminsani Abakuristaayo, era amaka gaddayo mu Uganda ng’akyali mwana muto. Amaka ga kitaawe ga kika kya Mmamba eky'oBwakabaka bwa Buganda ; jjajjaawe Festo Mukasa Manyangenda yali nnannyini ttaka wa maanyi era yaweereza ng'omu ku bakauza ku mulembe gwa Mutesa II owa Buganda . Era ssaabaminisita Apolo Nsibambi yali kkojjaawe .

Nagenda okusoma kwe yakutandikira ku ssomero lya Kiwanda e Namutamba, essamba y'amaka gaabwe ey'amajaani gye yali esangibwa. Yagenda mu maaso okusomera ku King’s College Budo nga tannasindikibwa mu kisulo ku somero lya siniya erya Kigezi High School okumala emyaka ebiri.

Omulimu gw’ebyemizannyo

[kyusa | kolera mu edit source]

Nagenda yazannyira Uganda n'obuvanjuba bw'Afirika cricket w’ensi yonna ng’omuteebi wa ddyo ow’amangu n’amangu. Ye n'omuteebi Sam Walusimbi be bannayuganda bokka abaalondebwa mu ttiimu y'obuvanjuba bw'Afirika mu mpaka ezaggulawo ez'omuzannyo gwa Criket ez'ekikopo ky'ensi yonna mu Bungereza. Yaggulawo okukubira obugwanjuba bw'afirika akapiira mu muzannyo gwabwo ne New Zealand, n’atwala emiwendo gya 1/50, naye teyazannya mipiira egy'eyongerako mu mpaka. N'era yalabikira mu mupiira gumu ogwa Cricket ogw'omutendera ogusooka ogw'obuvanjuba bw'Afirika nga battunka ne Sri-Lanka mu Bungereza mu 1975. [2] [3]

Ku nkomerero y'olugendo lwe olw'okuzannya, Nagenda yaweereza nga ssentebe w’ekibiina kya Uganda ekitwala / ekikulembera omuzannyo gwa Cricket ekya Uganda Cricket Association era yakola kinene nnyo mu kukulaakulanya kw'ekisaawe ky'omuzannyo gwa Cricket ekya Kyambogo Cricket Oval .

Nagenda yali mu bayizi abaasooka mu pulogulaamu / kkoosi y'ebiwandiiko ku yunivasite y'e Makerere era nga yasunsula n'okwekeneenya ensobi mu katabo k'abayizi aka Penpoint . Yali mmemba empagi "ow'ebbanguliro lya Makerere", elyava mu yunivasite, wamu ne David Rubadri ne Ngugi wa Thiong'o. Ebitontome bye eby'omuntandikwa n'engero ze ezaasooka byafulumira nnyo mu Penpoint ne mu katabo Transition, n'ekitontome kye "Ennyanja Gahini ( Gahini Lake ) n'olugero olumpi "Na kino (And This), Ku kisembayo - {At Last) " biyingizibwa mu kitabo kya Makerere anthology Origin East Africa ekyafulumizibwa mu 1965. Okusinziira ku Simon Gikandi Nagenda yali "omu ku batandisi b'okuwandiika mu buvajuba bw'Afirika " era yawandiika "ku biseera by'okukyuka mu kuwandiika kw'obuvanjuba bw'Afirika okwomulungereza", abawandiisi bawano abaakuzibwa mu kiseera ky'obufuzi bw'amatwale bwe baafuba okukozesa engeri z'Abangereza ez'ebiwandiiko n'ebitontome mu mbeera y'obuvanjuba bw'Afrika. [4]

Nagenda yabeera mu buwanganguse mu Bungereza mu myaka gya 1970 ne 1980 nga kiddirira Uganda okuwamba gavumenti mu 1971 . Yakomawo mu ggwanga mu 1986 Yoweri Museveni bwe yafuuka pulezidenti. [1] Mu mwaka gwe gumu, yafulumya akatabo ke akasooka ,Omukyo gwa Thomas Tebo - ( The Seasons of Thomas Tebo ) , ekizingiramu "omusajja alina endowooza ennungi eyeenyigira mu byobufuzi kyokka n'akwatibwa mu ntiisa n'akavuyo k'enkola ey'obulyake". [4] Nagenda oluvannyuma yafuuka omuwandiisi w’emiko okumala ebbanga mu lupapula lwa New Vision, olufuluma buli lunaku mu Kampala. Omuko gwe "Wiiki / ssabiiti y'Omusajja Omu" gwamala emyaka egisukka mu makumi abairi mwetaano (25 years), era ekiwandiiko kyawamu omuli ebiwandiiko oba atiko ze kyafulumizibwa mu 2019 wansi w'omutwe = wansi w'omutwe Wiiki y'Omusajja Omu: Amagezi agataterekeddwa .

Mu myaka gya 1980, Nagenda yafuuka mmemba w’ekiwayi ky’ebweru eky’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), ekyawagira Yoweri Museveni . Yali ku kakiiko akafuzi aka NRM e Kenya era yakola kinene mu kumatiza Kabaka Muwenda Mutebi II owa Buganda okudda okuva mu buwanganguse okuwagira omugendo guno. Yawerekera Mutebi okuva e London okutuuka mu kibuga ekikulu ekya Rwanda e Kigali, gye baava ne bakukusibwa okuyingira Uganda ne basisinkana Museveni n'abakiise b'eggye lya National Resisitance Army .

Nagenda yakomawo mu Uganda mu 1986 oluvannyuma lw'olutalo lwa Kampala ne Museveni okulinnya ku bwa pulezidenti. Mu mwaka gwe gumu, yalondebwa ku kakiiko akanoonyereza ku kutyoboola eddembe ly’obuntu (akamanyiddwa ennyo nga akakiiko k’amazima mu Uganda -Ugandan Truth Commission), ng’avunanyizibwa ku kunoonyereza ku kutyoboola eddembe ly’obuntu wansi w’abakulembeze Museveni beyaddira mu bigere : Idi Amin ne Milton Obote . [5]Nagenda yamanyika eri abanyu olw'engeri enkakali gyeyabuuzaamu eyali omumyuka wa pulezidenti owa Obote Paulo Muwanga eyalumba Nagenda n'ebigambo ebinyooma ebyekuusa ku kuzaalibwa mu Rwanda . Akakiiko ku nkomerero ya byonna kaawa alipoota yaako mu 1994 naye kaazibuwalirwa olw’ebbula ly’ensimbi n’obuwagizi bwa gavumenti mu nkola zaako. [5]

Mu 1989, Nagenda yalondebwa Museveni ng’omuwabuzi wa pulezidenti omukulu ku by’amawulire n’enkolagana n’abantu, ekifo ky’eyalimu okutuusa lwe yafa mu 2023. Mu kulonda kw'obwa pulezidenti okwa 1996, yateekateeka kakuyege wa gavument ng’ewakanya omukulembeze w’oludda oluvuganya Paul Ssemogere, ng’amwoleka ng'eyali aleeteddwa pulezidenti Milton Obote eyali yamaamulwa ku ntebe. Nagenda yalina enkolagana enzibu ne Museveni, n'amuvumirira mu lujjudde emirundi egiwera. Mu 2010, yavumirira gavumenti okuwamba akatabo ka Olive Kobusingye akayitibwa The Correct Line? Uganda Under Museveni . Kigambibwa nti yafuna obutakkaanya ne Museveni mu 2011 nga kyava ku butambi bwa Amerika obw'ekikungu obwasomolwa mwe yasangibwa ng'anyonnyodde Museveni nga "atafugika era ateefuga " ate mukyala we Janet Museveni nga " akisussa". Wabula oluvannyuma Nagenda ne Museveni baatabagana, era mu 2020 yategeeza nti Museveni "yali akoze omulimu gwa ttendo" nga pulezidenti. [1]

Nagenda yafiira ku ddwaliro lya Medipal International Hospital mu Kampala nga 4 Omwezi ogwokuna 2023. Yalina emyaka 84. [1]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Senior presidential advisor John Nagenda dies at 84". Monitor (in Lungereza). 4 March 2023. Retrieved 4 March 2023.
  2. Muwonge, Sumaya (14 August 2020). "John Nagenda: My Story". New Vision. Retrieved 6 March 2023.
  3. Malinga, Marion (6 December 2022). "Cricket Fraternity Honours John Nagenda". NBS Sport. Retrieved 6 March 2023.
  4. "Cricket fraternity mourns John Nagenda's death". New Vision. 5 March 2023. Retrieved 6 March 2023.
  5. "John Nagenda". CricketArchive. Retrieved 5 October 2012.
  6. "The Home of CricketArchive". cricketarchive.com. Retrieved 1 November 2022.
  7. Gikandi, Simon (2003). Encyclopedia of African Literature. Routledge. pp. 491–492. ISBN 9781134582235.
  8. Muli, Peter (23 September 2020). "Honouring John Nagenda, the wordsmith". New Vision. Retrieved 7 March 2023.
  9. Muli, Peter (23 September 2020). "Honouring John Nagenda, the wordsmith". New Vision. Retrieved 7 March 2023.
  10. "Literary icon, John Nagenda dies after lengthy illness". NTV. 4 March 2023. Archived from the original on 14 March 2023. Retrieved 6 March 2023.
  11. Basudde, Elvis (25 January 2014). "How the NRM struggle unfolded in Nairobi". New Vision. Retrieved 6 March 2023.
  12. "Nagenda the Legend who cemented Kabaka – Museveni ties". Uganda Update. 4 March 2023. Retrieved 7 March 2023.
  13. Quinn, Joanna R. (2004). "Constraints: The Un-Doing of the Ugandan Truth Commission". Human Rights Quarterly. 26 (2): 401–427. doi:10.1353/hrq.2004.0024. S2CID 144493124.
  14. Kigambo, Gaaki (17 October 2010). "Release 'anti-Museveni' book, urges Nagenda". The Observer. Archived from the original on 6 March 2023. Retrieved 6 March 2023.
  15. "Nagenda, Museveni secrets revealed, how Wikileaks caused fallout". Observer. 11 September 2011. Archived from the original on 7 March 2023. Retrieved 7 March 2023.

Template:East Africa Squad 1975 Cricket World CupLua error: Invalid configuration file.

  1. 1 2 3 4 "Senior presidential advisor John Nagenda dies at 84". Monitor (in Lungereza). 4 March 2023. Retrieved 4 March 2023.
  2. "John Nagenda". CricketArchive. Retrieved 5 October 2012.
  3. "The Home of CricketArchive". cricketarchive.com. Retrieved 1 November 2022.
  4. 1 2 Gikandi, Simon (2003). Encyclopedia of African Literature. Routledge. pp. 491–492. ISBN 9781134582235.
  5. 1 2 Quinn, Joanna R. (2004). "Constraints: The Un-Doing of the Ugandan Truth Commission". Human Rights Quarterly. 26 (2): 401–427. doi:10.1353/hrq.2004.0024. S2CID 144493124.