John Nambeshe
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Erinnya eriweereddwa | John, John Baptist |
| Yazaalibwa nga | 4 Gwakkuminogumu(Museenene) 1965 |
| Gy'azaalwa | Manjiya County, Bududa |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | munnabyabufuzi, archivist, Professional teachers--educating the young, laboratory technician, legislator |
| Ekifo ky'alimu | mubaka wa palamenti, Opposition Chief Whip, Chairperson LC5, acting president, Omubaka wa Palamenti ya Uganda |
| Disitulikiti mwalondera | Bududa |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | National Unity Platform, Ekibiina kya National Resistance Movement |
| Okwesiimbawo kwe mu kalulu | Akalulu ka Uganda aka 2026 |
| Mmemba wa | Kabineeti eyekisikirize eya Uganda, 12th Parliament of Uganda |
| Interested in | natural disaster, community tourism, Education Funding and Individual Preferences for Redistribution |
John Baptist Nambeshe yazaalibwa 24 Ogwekkuminogumu 1965 Munnayuganda, munnabyabufuzi era mmemba mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumineemu okuva mu Ssaza ly'e Manjiya mu Disitulikiti y'e Bududa mu kiseera kino akola nga nnampala w'oludda oluvuganya mu Paalamenti. Ono mmemba mu kibiina ekivuganya gavumenti ekya National Unity Platform (NUP) era omumyuka wa Pulezidenti w’ekibiina kino mu kitundu ky'e Buvanjuba.[1][2][3]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Nambeshe yazaalibwa nga 24 Ogwekkuminogumu 1965 mu Ssaza ly'e Manjiya mu Disitulikiti y'e Bududa.[4] Yasomera ku Shikhuyu Primary School gye yafunira satifikeeti ye eyasooka eya First School Leaving Certificate mu 1982 nga tannafuna O'Level okuva mu Bulucheke SS (1986) ne A'Level okuva mu Nabumali High School mu 1989. Yafuna dipulooma mu mirimu gya gavumenti n'eddembe ly'obuntu eya Diploma in Local Governance and Human Rights okuva ku yunivasite ya Uganda Martyrs Nkozi mu 2012 ne diguli ya Arts in local Governance and Human Rights mu 2014 okuva ku Uganda Martyrs University, Nkozi.
Oluvannyuma Nambeshe y'egatta ku Ssettendekero wa Makerere gye yatikkirwa diguli ey'okubiri mu by’enteekateeka n’okuddukanya emirimu eya Master of Arts in Social Sector Planning and Management mu 2020.[1]
Nambeshe yakola ng'omusomesa mu Bududa SS okuva mu 1989 okutuuka mu 1990, era nga ye mutendeke wa laboratory mu Jinja College wakati wa 1993 ne 1999.[5]
Emirimu gye egy'ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Nambeshe yayingira eby'obufuzi mu 2006 bwe yavuganya n’alondebwa ku bwa Ssentebe wa LC3 ku Bududa Town Council mu 2006. Mu 2011, yalondebwa ku bwa Ssentebe wa LC5 mu Disitulikiti y’e Bududa Local Government. Mu 2016, yalondebwa ku Paalamenti ya Uganda ku tikiti y’ekibiina kya National Resistance Movement era n’aweereza ku bukiiko obuvunaanyizibwa ku by’enfuna by’eggwanga n’ebyobugagga eby’omu ttaka mu Paalamenti. Ono y’omu ku babaka ba NRM abaawakanya okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga mu 2017 nga bajeemera ekiragiro ky’ekibiina okuwagira eky’okuggya ekkomo ku myaka kisobozese Pulezidenti Yoweri Museveni okweyongerayo nga Pulezidenti. Yavumirirwa nnyo omukungu w’ekibiina.[6][7]
Yalekulira ekibiina kya NRM okwegatta ku kibiina ekyali kitondeddwawo ekya NUP.[8][9][10] Oluvannyuma yalondebwa okuba omumyuka wa Pulezidenti w’ekibiina kino, mu Buvanjuba bwa Uganda era yaweerezaako nga pulezidenti w'ekibiina okumala wiiki ssatu mu 2020 Robert Kyagulanyi Ssentamu omukulembeze w’ekibiina bwe yali atambuddemu okugenda mu Amerika ku mirimu emitongole.[11][12] Nambeshe yavuganya n'awangula ekifo ky'omubaka mu Paalamenti akiikirira Essaza lye Manjiya mu Disitulikiti y'e Bududa ku tikiti ya NUP mu kulonda kwa bonna okwa 2021.[13] Yalondebwa ku bwa Nnampala w'oludda oluvuganya oluvannyuma lw'ekibiina kye okuvaayo ng'ekibiina ekinene eky'oludda oluvuganya mu Paalamenti ey'ekkumin'emu.[14]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 https://www.mpscanug.com/profile/nambeshejohnbaptist/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/98835
- ↑ https://www.independent.co.ug/nup-declares-national-fasting-and-prayer-day-as-museveni-swears-in/
- ↑ Ssenti, Peter (2022-03-31). "Grief as John Baptist Nambeshe's father succumbs to cancer". PML Daily (in American English). Retrieved 2026-02-26.
- ↑ https://flashugnews.com/john-baptist-nambeshe-biography-education/
- ↑ "Nambeshe Threatens to Quit NRM :". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2026-02-26.
- ↑ Mafabi, David (2020-11-10). "NRM plotting for MP Nambeshe's downfall". PML Daily (in American English). Retrieved 2026-02-26.
- ↑ "MP Nambeshe says he has bowed out of NRM Party". The Independent Uganda (in American English). 2020-07-07. Retrieved 2026-02-26.
- ↑ Kirabo, Jonah. "NRM MPs Patrick Nsamba, Nambeshe officially unveiled in Bobi Wine's NUP". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2026-02-26.
- ↑ "Five legislators join NUP". The Independent Uganda (in American English). 2020-08-03. Retrieved 2026-02-26.
- ↑ https://nilepost.co.ug/2021/06/21/bobi-wine-hands-over-office-to-nambeshe-as-he-flies-out-of-country/
- ↑ https://www.independent.co.ug/nup-faults-govt-over-poor-handling-of-covid-19-relief-cash/
- ↑ https://nilepost.co.ug/2020/12/15/muntu-endorses-nups-nambeshe-in-bududa-calls-for-unity-among-change-seeking-forces/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/opposition-chief-whip-nambeshe-involved-in-horrible-accident-3519722