John Nasasira
[1]John Nwoono Nasasira MunnaUganda, yinginiya era munnabyabufuzi. Gye buvuddeko yali Minisita wa tekinologiya mu Kabineeti ya Uganda, kyokka n'alekulira obubaka bwa Paalamenti mu Gwomunaana 2016 olw'obulwadde obwali bumutawaanya. [2] Yalondebwa ku kifo ekyo nga 23, Ogwokutaano 2013, ng'adda mu bigere bya Ruhakana Rugunda . [3] Ekyo nga tekinnatuuka, okuva nga 27 Ogwokutano 2011 okutuusa nga 23 Ogwokutano 2013, yaweerezaako nga Nampala wa Gavumenti.[4] Emabegako, okuva mu 1996 okutuuka mu 2011, yaweerezaako nga Minisita w’emirimu n’entambula. Era yali akiikirira Essaza ly'e Kazo mu Disitulikiti y'e Kiruhura mu Paalamenti, ekifo kye yaweererezaamu okuva mu 1989.
Ensibuko n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Kiruhura nga 1, Omwezi ogwokutano 1952. Nasasira alina Ddiguli esooka mu bwa yinginiya bw'okuzimba enguudo, entindo,emyala n'ebizimbe okuva mu Yunivasite of Nairobi . [5]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Nasasira abadde akiikirira essaza ly'e Kazo mu disitulikiti y’e Kiruhura mu Paalamenti ya Uganda emirundi egiddiringana okuva mu 1989. Wakati wa 1989 ne 1991, yaliko Minisita omubeezi ow’emirimu. Okuva mu 1991 okutuuka mu 1992, yaweerezaako ng'omuwabuzi wa Pulezidenti wa Uganda ku nkolagana n’abantu. Mu 1992, yalondebwa nga Minisita omubeezi ow’emirimu, entambula n’empuliziganya, nga yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1994.
Okuva mu 1994 okutuuka mu 1995, Nasasira yali omu ku babaka mu lukiiko lw'eggwanga olwabaga Ssemateeka wa Uganda owa 1995. Era yaweerezaako nga Minisita omubeezi ow'ebyobulimi mu kaseera k'ekamu. Mu 1995, yalondebwa nga Minisita ow'ebyobulimi, obulunzi n'obuvubi. Mu 1996, mu kifo ky’ekyo yalondebwa ku bwa Minisita w’emirimu, amayumba n’empuliziganya. Yaweereza mu kifo ekyo okumala emyaka kkumi ekya mufuula omu ku bantu abasinga okulondebwa mu kabineeti mu gavumenti y'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement. Wakati w'Ogwokutano 2011 n'Ogwokutaano 2013, yaliko Nampala mu Paalamenti ya Uganda . Nga 23 Ogwokutano 2013, yalondebwa ku bwa Minisita wa tekinologiya w’amawulire n’ebyempuliziganya.
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]Nasasira mufumbo. Kigambibwa nti anyumirwa nnyo okulima, okusoma, emizannyo, n’ebyobufuzi. [6]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Nasasira quits MPs race after 27 years". Daily Monitor (in British English). Retrieved 2016-11-07.
- ↑ UHCUK (23 May 2013). "Cabinet of the Government of the Republic of Uganda As At 23 May 2013". Uganda High Commission to the United Kingdom (UHCUK). Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 4 March 2015.
- ↑ <ref name="UKHC">{{cite web|url=https://web.archive.org/web/20150402091711/http://www.ugandahighcommission.co.uk/Government/Cabinet.aspx
- ↑ POU. "Profile of John Nwoono Nasasira, Member of Parliament for Kazo County, Kiruhura District". Parliament of Uganda (POU). Archived from the original on 23 October 2015.
- ↑ "Nasasira: The ever gentle politician". Daily Monitor (in Lungereza). Retrieved 2020-05-28.
- ↑ "Nasasira: The ever gentle politician". Daily Monitor (in Lungereza). Retrieved 2020-05-28.