John Senyonyi
John Musisi Senyonyi Munnayuganda mubalanguzi, omusomesa, omubuulizi w'enjiri era omuddukanya eby'ensoma . Yeyali omumyuka wa chancellor wa Uganda Christian University, yunivasite ey’obwannannyini eyakkirizibwa ekitongole kya Uganda National Council of Higher Education (UNCHE), mu 1997. Yalondebwa ku kifo ekyo mu 2010. [1] Oluvannyuma lw’emyaka kkumi egy’obutasalako mu kifo ekyo, yawummula, [2] yumivasite n’ekwasibwa Aaron Mushengyezi, mu Muwakanya wa 2020. [3]
Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Nakasongola, mu 1956, mu maka ga Eriakimu Kajja, omusomesa w’essomero ne Mukyala Kajja, omukyala ow’awaka omujjuvu. Y’omu ku baganda be kkumi na basatu. Omu ku baganda be omugenzi Peter Nyombi, eyali Ssaabawolereza wa Uganda era eyali omubaka wa Palamenti owa "Buruuli County" mu Disitulikiti y'e Nakasongola. [4]
- ↑ Campus Times (7 December 2013). "Profile: Reverend Doctor John Senyonyi, Vice Chancellor of Uganda Christian University". Campus Times Uganda. Retrieved 19 December 2020.
- ↑ "Outgoing UCU Vice Chancellor Releases Statement, Pens Emotional Farewell to Students and Staff". Campus Bee Uganda. February 2020. Retrieved 19 December 2020.
- ↑ Kam Isaac (30 August 2020). "Uganda Christian University Installs 3rd Vice Chancellor". Taarifa Rwanda. Archived from the original on 25 November 2020. Retrieved 19 December 2020.
- ↑ Carol Kasujja (10 October 2018). "Nyombi's family eulogises former Attorney General". Retrieved 19 December 2020.