Jump to content

John Ssebuwufu

Bisangiddwa ku Wikipedia

Script error: No such module "Infobox person".

John Pancras Mukasa Lubowa Ssebuwufu amanyikiddwa ennyo nga John Ssebuwufu Munnayuganda omukugu mu by'eddagala, musomesa era omuddukanya w'emirimu . Ono yaliko Ssenkulu wa Kyambogo University, yunivasite ya gavumenti ey'okubiri mu Uganda ng'aweereza wakati wa 2014-2022 ng'amaze ebisanja 2. [1] Yatuuzibwa ku bwa Ssenkulu nga 19 Ogwokubiri 2014, nga y’adda mu bigere bya Eric Tiyo Adriko, eyali amaze ebisanja bye ebibiri. [2] [3] Enjatula entuufu ey'amannya ge ag'enkomerero ye Ssebuwufu . Wabula ebiwandiiko birimu emirundi mingi erinnya mwe liwandiikibwa ne "s" emu.

Yazaalibwa mu kitundu ky'omumasekkati ga Uganda mu 1947.

Ssebuwufu yasomera mu ttendekero lya Namilyango College mu misomo gye egya siniya mu myaka gya 1960. Yasomera mu Makerere University, era yatikkirwa Diguli mu sayansi eya Bachelor of Science ne Master of Science, zombi mu by'eddagala . Mu 1974, yawangula sikaala okusoma Doctor of Philosophy mu Queen’s University Belfast mu Bukiikakkono bwa Ireland, gye yatikkirwa mu 1977. Ssebuwufu yamala emyaka emirala ebiri mu Yunivasite ya Queen's ku bbaluwa ya postdoctoral fellowship nayo mu by'eddagala.

Ssebuwufu bwe yakomawo mu Uganda mu 1979, yalondebwa okubeera Lekikyala mu dipaatimenti y'okutabula eddagala muSsettendekero wa Makerere . Yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1985, lwe yakuzibwa n’afuulibwa lekikyala omukulu. Mu 1987, yafuuka akulira dipaatimenti y'okutabula eddagala mu yunivasite eno.

Mu 1990, yalinyisibwa n’atuuka ku ddaala lya pulofeesa era n’alondebwa okuba omukulu w’ettendekero ly’ebyenjigiriza by’abasomesa; kati ekitundu ku yunivasite y'e Kyambogo . Mu kifo ekyo yaweereza okutuusa mu 1993 lwe yalondebwa okuba omumyuka wa Ssenkulu wa yunivasite y’e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde mu Uganda era esinga obunene. Yaweereza ng’omumyuka wa Ssenkulu okutuusa ekisanja kye lwe kyaggwaako mu 2004. [4] Mu Gwokubiri 2014, Pulezidenti wa Uganda yamulonda okuba Ssenkulu wa Kyambogo University . [5]

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

Ng’oggyeeko obuvunaanyizibwa bw’alina mu yunivasite y’e Kyambogo, Ssebuwufu mu kiseera kino y’amyuka Ssenkulu wa Yunivasite y’e Kisubi (UniK) eyali emanyiddwa nga Kisubi Brothers University College (KBUC), ebbanguliro lya Uganda Martyrs University nga nalyo yaliweerezaamu ng’omukulu w’essomero. Mu 2013, yalondebwa nga Ssentebe w'ekibiina kya UbuntuNet Alliance, omukutu gw’okunoonyereza n’okusomesa mu kitundu kye Buvanjuba n'Amasalengeta ga Afrika . Emabegako, abaddeko nga Dayirekita wa pulogulaamu z’okunoonyereza mu kibiina ekigatta Yunivasite za Afirika ekya Association of African Universities (AAU) mu Ghana .

Ssebuwufu mmemba mu kibiina kya World Bank Millennium Science Initiative era y’omu ku bakugu mu by’ekikugu mu Uganda. Akola nga Ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’amakampuni ne bizinensi za Uganda:

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]

Olukangaga lw'abamyuka Ssenkulu nga bwe baddiringana

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Olukangaga lw'aba Ssenkulu ba Kyambogo Yunivasite nga bwe baddiringana

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwamu eby'ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]

Lua error: Invalid configuration file.