John Wills
colspan="2" class="infobox-above n" style="font-size:125%;color: #202122; background-color:
| |
|---|---|
| yali Mulabirizi wa Uganda | |
John Willis, ekifaananyi kyakubiddwa c. 1910–15 | |
| Obulabirizi | Obulabirizi bwa Uganda |
| Mu ofiisi | 1912–1934 |
| Eyasooka | Alfred Tucker |
| Ebiwandiiko ebirala (s) | omuyambi w’omulabirizi mu kibuga Leicester |
| Ebikwata ku muntu | |
| Okuzaalibwa | 8 Ogusooka 1872 |
| Yafa | 12 Ogwekkuminogumu 1954 (emyaka 82) . |
John Jamieson Willis CBE (8 Ogwekkuminogumu 1872 – 12 Ogwekkuminogumu 1954) yali mulabirizi w'aba Polotesitanti, Omulabirizi wa Uganda okuva mu 1912 okutuuka mu 1934 n’oluvannyuma n’afuuka omumyuka w'omulabirizi mu Leicester . [1] Ye ne William George Peel Omulabirizi w'e Mombasa bavunaanibwa olw'okugoberera endowooza n'enzikiriza saako olw'obutakkanya bw'aba kikuyu .
Ebikwata ku bulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa nga 8 Ogwekkuminogumu1872, mutabani ow'okubiri eri Sir William Willis, omubalirizi w'ebitabo omukulu ow’amagye g’oku mazzi, era muzzukulu wa Joseph Tucker, kalabaalaba w'okuzimba amaato amalwanyi ag’oku mazzi [2] [3] Willis yasomera ku Haileybury ne Pembroke College, Cambridge, gye yafunira diguli ye eya Bachelor of Arts (BA) mu 1894, Cambridge Master of Arts (MA Cantab) mu 1899, ne Doctor of Divinity (DD) mu 1912. [4] [5] Yatuuzibwa mu 1895 [6] era n’atandika omulimu ogw'okuweereza ng'omuyambi wa kabona mu Great Yarmouth . [7] Oluvannyuma yatandika okuweereza okumala ebbanga ng’omuminsani wa CMS okumala ebbanga eliwerako mu Afrika okukkakkana ng’afuuse Ssaabalabirizi w’e Kavirondo nga tannalondebwa ku bw'Obulabirizi mu 1912. [8] [9] Mu 1934 yaddayo e Bungereza okubeera Omuyambi w’Omulabirizi w’e Leicester. Yafa nga 12 Ogwekkuminogumu 1954.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Who's_Who
- ↑ Haileybury Register". Haileybury and Imperial Service College
- ↑ Alumni Cantabrigienses, Volume 2: From 1752 to 1900, Part 6: Square- Zupitza, pg 507
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-04-15. Retrieved 2025-07-30.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/The_Times
- ↑ "The Clergy List, Clerical Guide and Ecclesiastical Directory" London, John Phillips, 1900
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Richard_Malden
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/The_Times
- ↑ http://archives.lambethpalacelibrary.org.uk:8080/Archives/dserve.exe?dsqIni=Dserve.ini&dsqApp=Archive&dsqDb=Persons&dsqSearch=Code==%27NA2585%27&dsqCmd=Show.tcl
Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Ebifaananyi bya John Jamieson Willis ku National Portrait Gallery, London
Template:S-start Template:S-rel Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-endTemplate:Bishops of Uganda