Johnson Omuhunde Rwashote Byabashaija
Johnson Omuhunde Rwashote Byabashaija Yazaalibwa nga 27 Ogwomwenda 1957 era amanyiddwa nga Canon. Dr. J.O.R Byabashaija Munnayuganda, Canon era omusawo w'ebisolo nga ye Commissioner General w'amakomera mu Uganda okuva mu 2005. [1] [2] [3] Byabashaija yalondebwa kubwa Lay Canon mu Kkanisa ya Uganda North Kigezi . [1]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Byabashaija yazaalibwa ku kyalo Kajumiro mu Ggombolola ye Nyakishenyi mu Ssaza ly'e Rubabo mu Disitulikiti y’e Rukungiri ng’azaalibwa omugenzi Gregory Rwanshote n’omugenzi Cecilia Rwanshote nga ye maama we. Byabashaija ye mwana omubereberye mu baana musanvu nga bazaalibwa abalenzi basatu n'abawala bana. [1] [4]
Emisomo gye yagitandikira ku Nyakishenyi Primary School, Kamwezi Primary School ne Mukyayi Primary School okusoma pulayimale nga tannayingira Mutorere Secondary School mu Disitulikiti y’e Kisoro okusoma Siniya ey'okuna era wano we yasisinkanira eyali omuduumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura. Olwo Byabashaija ne yeegatta ku ssomero lya Makerere College School okusoma Siniya ey'omukaaga. [1] Yasomera Physics, Chemistry, Biology ne Subsidiary Mathematics oluvannyuma yaweebwa ekifo mu bbanguliro ly'abasawo b'ebisolo mu Ssettendekero wa Makerere erya Veterinary School okusoma kkoosi ey’emyaka ena mu by’obusawo bw’ebisolo. [1] Mu 1986, yagenda okusoma diguli ey'okubiri eya Master of Science mu Yunivasite y'e Glasgow Bungereza . [1] [5]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lwa yunivasite, Byabashaija yasomesa Physics, Chemistry ne Mathematics ku Lakeside Secondary School e Luzira. [1]
Mu 1982, Byabashaija yeegatta ku Uganda Prisons Service era n’akola diguli ya Cadet Assistant Superintendent of Prisons Course ku ssomero lya Prisons Training School n'oluvannyuma yegatta ku Uganda Prisons Service. Yasooka kusindikibwa mu kkomera e Kigo okuddukanya ekkomera, okumala emyaka nga 15 okukkakkana ng’afuuse Omuserikale avunaanyizibwa ku kkomera ly’e Kigo. Mu 1999, yakuzibwa n’afuulibwa Assistant Commissioner of Prisons ate mu 2000 n’atwalibwa ku kitebe ky’amakomera ekikulu n’afuuka Assistant Commissioner. [5][6]Oluvannyuma yakuzibwa n'afuulibwa Senior Assistant Commissioner okumala emyaka ebiri n'oluvannyuma n'akuzibwa n'afuulibwa Deputy Commissioner General okumala omwaka gumu n'ekitundu oluvannyuma n'afuulibwa Commissioner General of Prisons okudda mu bigere bya Joseph A. [1] [7]
Mu mwaka gwa 2020, akakiiko ka Paalamenti akasunsula kaddamu ne kagaana okusunsula Byabashaija ku bwa Kaminsona ne James Mwanje, okuba omumyuka we mu kitongole ky'amakomera ekya Uganda Prisons Service ku musingi gw’obukadde. Wabula mu Gusooka 2022, Pulezidenti Yoweri Museveni yaddamu n'alonda Byabashaija ku bwa Kaminsona Omukulu w’ekitongole ky’amakomera mu Uganda oluvannyuma lw’enteeseganya ezaaliwo ezitamnyika. [8] Mu mwaka gwe gumu, ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) kyekalakaasa nga bawakanya okuddamu okulondebwa kwa Johnson Byabashaija ku bwa Kaminsona Omukulu ow’amakomera. [9]
Byabashaija era mulunzi wa nkoko asinga kukolebwa ku faamu ye eyitibwa Jena Farms e Kigo mu Entebbe . [10] [11]
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu 1988, Byabashaija abadde mufumbo ne Byabashaija Janipher. [1]
Awaadi z'eyafuna
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2017, Byabashaija yaweebwa Awaadi ya JLOS Distinguished Service Award mu Recognition awards 2017 mu lukiiko lw'omwaka olwa Joint Government of Uganda and Development Partners JLOS Annual Review olw’omulundi ogwa 22 ku Speke Resort Munyonyo . [12]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 6 7 8 9 https://web.archive.org/web/20210222080134/https://theinformerug.com/2020/05/12/what-you-didnt-know-about-canon-dr-johnson-omuhunde-byabashaija-commissioner-general-of-prisons/
- ↑ https://www.independent.co.ug/tag/dr-johnson-byabashaija/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-02-14. Retrieved 2025-10-25.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/museveni-reappoints-prison-boss-byabashaija-1887630
- 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2025-09-09. Retrieved 2025-10-25.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.pmldaily.com/investigations/special-reports/2020/05/profile-after-37-years-of-serving-prisoners-byabashaija-has-grown-a-passion-to-help-others-reform.html
- ↑ https://www.independent.co.ug/how-uganda-built-best-prison-service-in-africa/
- ↑ https://eagle.co.ug/2022/01/25/museveni-reappoints-dr-byabashaija-as-uganda-prisons-boss.html
- ↑ https://allafrica.com/stories/202202010453.html
- ↑ https://www.observer.ug/viewpoint/interview/29582-byabashaija-commissioner-general-of-excellence
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-09-09. Retrieved 2025-10-25.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-08-17. Retrieved 2025-10-26.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)