Jolly Nankunda
Jolly Kaharuza Nankunda (yazaalibwa 1959), musawo w'abaana mu minisitule y'ebyobulamu mu Uganda, era aweereza ng'omumyuka w'akulira eddwaliro lya Mulago Women's and Neonatal Referral Hospital. Yalondebwa ku kifo kino nga 9 August wa 2018.[1]
Omulamu bw'obuto n'ebyanjigiriza
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu 1959, ku kyalo Kinoni, Rwampara, mu distulikiti ye Mbarara, abazadde Mary Kabarungi ne John Kafaari. Oluvannyuma lw'okumaliririza pulayimale, yeyunga ku Bwaranyangi Girls' Senior Secondary School mu disitulikiti y'e Bushenyi, gye yasoma O-level.[2] Mu 1977, yawebwa ekifo mu ssomero lya Gayaza High School, essomero ettutumu ennyo ery'abawala ery'ekisulo mu disitulikiti y'e Wakiso, gye yasomera emisomo gya A-Level.[2]
Yaweebwa ekifo mu Makerere University, okusoma obusawo bw'abantu. Mu 1987 yafuna ddiguli mu Bachelor of Medicine and Surgery (MBChB). Oluvannyuma, mu 1996, yaweebwa ddiguli ey'okubiri mu busawo (MMed) mu bw'obujjanjabi bw'abaana (Pediatrics), nayo okuva mu Makerere University, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda.[3] Mu 2012, yatikkibwa ne ddiguli ya Doctor of Philosophy mu bw'obujjanjabi bw'abaana, okuva mu University of Bergen, mu Norway.[4]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Dr. Nankunda omusawo w'abaana mu ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital, agamba nti y'emu ku waadi ezizaalisa ezisinga okubeera bbize mu nsi yonna, nga abaana abasukka mu 30,000 bazaalibwa nga balamu buli mwaka, era nga tebakka wansi wa 32,654 mu mwaka mu myaka essatu okuva 1 January 2011 okutuusa 31 December 2013. Kino kiraga enzaalo 90 buli lunaku oba enzaalo 3.7 buli ssawa nga ogaseeko n'abakyala abalongosebwa (Caesarean sections).[5]
Mu August wa 2018, Minisitule y'ebyobulamu mu Uganda, yalonda Jolly Kaharuza Nankunda MBChB, MMed (peds), Phd, nga omumyuka w'akulira eddwaliro lya New Mulago Specialised Maternal and Neonatal Hospital. Amyuka Dr. Evelyn Christine Nabunya, omusawo omukugu mu kujjanjaba abakyala.[6]
Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision
- 1 2 https://archives.visiongroup.co.ug/collections/51-her-vision/28075-nankunda-s-passion-for-breastfeeeding
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-08-11. Retrieved 2025-04-27.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://translate.google.com/translate?hl=en&sl=no&u=https://www.uib.no/en/node/72918&prev=search
- ↑ https://translate.google.com/translate?hl=en&sl=no&u=https://www.uib.no/en/node/72918&prev=search
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Govt-appoints-directors-Kiruddu-Kawempe-hospitals/688334-4706006-15qy4up/index.html