Jump to content

Jolly Twebaze Ngabirano

Bisangiddwa ku Wikipedia

Jolly Twebaze Ngabirano (yazaalibwa 1961) yali munnayuganda omusuubuzi era nga yatandikawo amaduuka ga kaawa wansi w'erinnya lya Cafe' Pap. [1] [2]

Ensibuko n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Ngabirano yazaalibwa mu maka g’abasumba okuva mu bazadde Gladys ne Yeremiah Nyakairima nga 21 May 1961 ku kyalo Nyakiju, mu ggombolola ly’e Buyanja, mu Disitulikiti y’e Rukungiri, mu Uganda. [3] Yali wa munaana mu maka g’abaana kkumi. [3]

Ngabirano pulayimale yagikolera ku ssomero lya Nyakaina mu Disitulikiti y’e Rukungiri. [3] Yasomera mu Maryhill High School okusoma siniya era yamaliriza diguli ye eya bbasale mu 1985 okuva mu yunivasite y’e Makerere. [3]

Yagenda nasoma essomo lye ery'omwaka ogumu ogw'enkolagana n'abantu mu kibuga Nairobi . [3]

Ngabirano yakolagana n'ekitongole ekivunaanyizibwa ku byokutundakaawa ekya Uganda Coffee Development Authority mu 1987. [3]

Era yakolako nga omukungu omukulu avunaanyizibwa ku musolo mu Uganda Revenue Authority gye yakolera ekifo kino okutuusa mu 2003. [3] [1]

Nga 23 /4/2004, Ngabirano yatandikawo Cafe’ PAP ku 13B ku luguudo lwa palamenti. [4] [5] Cafe PAP yagaziwa n’eggulawo ebifo ebirala bibiri ku Garden City shopping mall ne Shell Bukoto oluvannyuma lw’emyaka 14. [3]

Obulamu bw’omuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Ngabirano yafumbirwa Henry Ngabirano eyali maneja wa Uganda Coffee Development Authority era ne bafumbiriganwa mu 1988. [1] [3] [2]

Yafiira mu Girimaani mu 2018 oluvannyuma lw’okukyusibwa okujjanjabibwa kookolo w’olubuto. [3]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 "Aronda's sister Jolly Ngabirano dies". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2025-03-22.
  2. 1 2 Kiggundu, Edris (2018-02-08). "Jolly Ngabirano, owner of Cafe Pap, is dead". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-03-22.
  3. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 "Ugandans eulogise Aronda's sister, Jolly Ngabirano". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2025-03-22.
  4. ↑ "Ngabirano, first female café owner". Monitor (in Lungereza). 2021-01-13. Retrieved 2025-03-22.
  5. ↑ "Café PAP marks 20 years of existence". New Vision (in Lungereza). 24 April 2024. Retrieved 2025-03-22.