Jump to content

Jonah Lwanga

Bisangiddwa ku Wikipedia

Jonah Lwanga era ayogerwako nga Metropolitan Jonah Lwanga (18 Ogwomusanvu 1945 – 5 Ogwomwenda 2021) yali musumba wa Uganda, eyaweereza nga Ssaabalabirizi wa Kampala era Exarch wa Uganda yonna mu kkanisa y'aBasoddookisi mu Uganda. Okuva mu 1997, era yali Metropolitan wa Metropolis of Kampala era ne Uganda yonna, ne mu Masekkati ga Africa wansi w’ekkanisa ya Eastern Orthodox Church of Alexandria, okutuusa lwe yafa mu September 2021. Entebe ye yali Kampala, ng’alina obuyinza ku Uganda yonna. [1]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Lwanga yazaalibwa nga 18 Ogwomusanvu 1945 ku kyalo Ddegeya mu Disitulikiti y’eLuweero nga bweyitibwa leero, mu Uganda mu maka ga Kezia Babitaka. [2] Jjajja wa Lwanga, Obadiah Basajjakitalo, y'omu ku bakulembeze ababiri abaasooka mu kkanisa y'Abasoddookisi mu Uganda wamu ne Ruben Spartas Mukasa . [3]

Emisomo gye gyonna Yagimaliririza Bulemezi ne Kyaddondomu Uganda (1952-1964).

Okuva mu 1964 okutuuka mu 1968 yasomera mu Ecclesiastical School of Crete. Okuva mu 1968 okutuuka mu 1978 yalina diguli mu by'eddiini ne Philosophy okuva mu yunivasite y'eAthenss . [3]

Obuweereza bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Okuva mu 1979 okutuuka mu 1981 yaweereza ng’Omuwandiisi w’Ekibiina ky’Abasoddookisi mu Uganda.

Lwanga yatuuzibwa ku bu dyankoni nga 1 Ogwokutaano 1981 era oluvannyuma lw’omwaka gumu, mu 1982, yatuuzibwa ku bwa faaza. [4]

Oluvannyuma lw’okutuuzibwa, Lwanga yalondebwa okuba Dean mu seminaaliyo ya Archbishop Makarios III Patriarchal Orthodox Seminary e Riruta mu Nairobi, era n’asomesa eby’eddiini . [4] Ygenda akuzibwa, era naafuna ekifo kya Archimandrite mu 1992. [5] Nga wayiseewo akaseera katono, yatuuzibwa ku bwa Vicar Bishop wa Bukoba, Tanzania nga 27 Ogwolubereberye 1992. [5]

Nga 12 Ogwokutaano 1997, Lwanga yakyusibwa okuva mu Bulabirizi bw'eBukoba mu Tanzania n'atwalibwa mu Uganda n'afuuka Metropolitan wa Kampala ne Uganda Yonna oluvannyuma lw'okufa kwa Metropolitan Theodoros Nankyama [6] .. .

Lwanga yalangirirwa nti afudde nga 5 Ogwomwenda 2021 mu kibuga Athens ekya Butuluuki . Ekyavaako okufa kwe kyagambibwa kookolo w'akatungulu mu nsonda ezimu ate endala ne boogera ku "yalwalira ebbanga". [7] [8]

Olukiiko lw'abakulembeze b'eddiini mu Uganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Ng’ali wamu ne Ssaabalabirizi Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo, Sheikh Shaban Mubajje ne Kalidinaali Emmanuel Wamala .Lwanga yali omu ku baatandikawo olukiiko lw'abakulembeze b'eddiini olwa Uganda 2002. [9] Mu kiseera we yafiira, yali Mmemba ku kakiiko, K'abapulezidenti, ekifo kye yali akutte okuva olukiiko lwe lwatandikibwawo. [10]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:S-rel Template:Succession box Template:Succession box Template:S-end

  1. https://greekreporter.com/2021/09/06/uganda-orthodox-church-jonah-lwanga-dies/
  2. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/archbishop-of-nairobi-to-organise-lwanga-burial--3540930
  3. 1 2 https://web.archive.org/web/20210911135243if_/https://www.ugandaorthodoxchurch.co.ug/biography-of-metropolitan-jonah-lwanga/
  4. 1 2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/114157
  5. 1 2 http://grforafrica.blogspot.com/2015/08/native-africans-bishops-in-orthodox.html
  6. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/100-year-journey-of-orthodox-church-in-uganda-1823736
  7. https://www.monitor.co.ug/uganda/video/return-of-archbishop-jonah-lwanga-s-body-delayed-3549968
  8. https://www.independent.co.ug/greek-government-delays-return-of-archbishop-lwangas-body/
  9. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/archbishop-lwanga-a-voice-of-reason-leaves-a-tall-legacy-3540920
  10. https://ircu.or.ug/ircu-council-of-presidents/