Jump to content

Joram Muzira

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Joram Muzira amanyiddwa nga Muzira Joram Job. yazaalibwa mu 1987 Munnayuganda Musuubuzi w'ebyemisono, mwolesi w'amisono era omutendesi, dayilekita w'endaga z'emyoleso, voice over artists, era muweereza ku TV. [1] [2] [3] [4] [5] [6] [7] Yatandikawo JMM (Joram model management Uganda) eyakola endagaano n'abolesi b'emisono abomutendera gw'ensi yonna omuli Aamito stacie Lagum ne Patricia Akello . [1] [2] [8] [9] [5] [10] [11] [12] [7]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Joram yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Jinja eri omugenzi Dr. Muzira Eriab Ngobi Geseri eyafa mu Gwomukaaga 1994 n’omugenzi Muzira Ndera eyafa mu Gwekkumi 1994. [2] [6]

Joram pulayimale ye yagisomera ku Kamuli Boys primary school, Lake Victoria primary school, Mwiri primary school, Bushenyi Town school ne St. Francisco primary school e Hoima. Mu misomo gye egya siniya, Joram yasomera ku Yale High School ne Aggrey Memorial School. [6] [3] Joram yatikkirwa mu 2009 n'afuna diguli eyokubiri mu kuteekerateekera ebibuga okuva ku Ssettendekero wa Makerere . [2] [5] [10] [6] [7]

Emirimu gye n’obumanyirivu

[kyusa | kolera mu edit source]

Joram yakolerako aba Design Agenda Limited mu luwummula lwe olw'obuyigirize olwa siniya ey'omukaaga mu 2004. [10] [7] Yakola nga omuddukanya w'ekibiina kya Talent Africa ow'ekiseera saako n'obwamaneja n'okusunsula abazannyi abanalabikira mu firimu. [10] [7]

Joram yakola nga nnakyewa eri Bannayuganda aboolesi b'emisono nga Santa Anzo, Stella Atal ne Sylvia Owori . [2] [5] [10] [6] Yakola nga mmodo era omusikawutu mu kitongole kya Ziper modeling Agency ne African Woman magazine nga alabirirwa Sylvia Owori . [2] [9] [5] [10] [6] Yekkanya n'okulambula ba mmodo ba Sylvia Owori mu mwoleso gw’emisono ogwa ‘Forever love’ ogwa 2012. Olulaga Joram lwe yakulembera. [2] [3] [10] [6] [7]

JMM ya Joram ebadde eddukanya ba mmodo omuli; Aamito Lagum, [13] [2] Aliet sara, Akello Patricia, Adit Priscilla, Lamich Kirabo, Ayak Veronica, Meeya Dutie, Akech Joy wimnie, Paul Mwesigwa, Angair Biong, Achan Biong, Adut Mary ne abalesi abawerako aba wano okuva mu Uganda ne south Sudan . [5] [3] [14] [10] [6]

Joram yakola emisono nga UNAA causes fashion weekend mu Washington DC mu Gwomunaana 2018 ne mu New York mu 2019, [14] [10] [6] Abryanz style and fashion awards (ASFA'S) show eyategekebwa Titus brian Ahumuza okuva awaadi zino lwe zaatandikibwawo mu 2013. Yakola show endala ezaalimu Seed Project 2018, . Miss Tourism Uganda okuva mu 2016 okutuuka mu 2018, wiiki y'emisono mu Kampala, ne Italy Fashion Show-Revolution Africa 2019. [14] [10] [6]

Joram yalondoola n’okutendeka ba mmodo mu miss tourism Uganda okuva mu 2015 okutuuka mu 2018 fashion show gye yafulumya. Yategeka wiiki y’emisono mu Kampala. [3] Joram yali omu kubalamuzi b'empaka z’obwannalulungi omuli miss Albinism East Africa, little miss Uganda ne little miss universe. [3] [12]

Awaadi, okusunsulwa n’okusiimibwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Ekibiina kye ekya Joram Model Management kyasunsulwa wansi w’omutendera gwa Best Model Management ku Ssemazinga wa Afrika (Africa) mu mpaka za Abryanz Style and Fashion Awards 2016 .
  2. Joram yafunye engule ya Star Maker Honorary Award mu mpaka za Abryanz Style and Fashion Awards 2019
  1. Abryanz Style and Fashion Awards 2016

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/business/prosper/muzira-makes-a-killing-from-managing-models-1573712
  2. 1 2 3 4 5 6 7 8 https://www.independent.co.ug/joram-muzira-new-force-ugandas-modeling-landscape/
  3. 1 2 3 4 5 6 https://www.newvision.co.ug/articledetails/123165
  4. https://www.voaafrica.com/a/africa-fashion-week-new-york/6747698.html
  5. 1 2 3 4 5 6 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/a-model-scout-and-beauty-pageant-trainer-1593314
  6. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 https://www.newvision.co.ug/articledetails/1495891
  7. 1 2 3 4 5 6 https://www.sqoop.co.ug/201206/features/hustler-joram-job-muzira.html
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2024-02-25. Retrieved 2025-10-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2025-08-13. Retrieved 2025-10-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 https://www.monitor.co.ug/uganda/business/commodities/modelling-a-hobby-that-makes-money-1843312
  11. https://www.sqoop.co.ug/202109/four-one-one/there-is-a-ray-of-hope-for-fashion-joram-muzira.html
  12. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2023-04-06. Retrieved 2025-10-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2023-08-23. Retrieved 2025-10-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. 1 2 3 https://nilepost.co.ug/2018/05/05/ugandan-top-model-agent-set-for-us-fashion-weekend/

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Engule za Abryanz Style n'emisono (ASFAs)
  2. Joram model management Uganda