Jump to content

Joseph B. Willigers

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Joseph B. Willigers, MHM (26 Omwezi ogwekkumi , 1930 30 Omwezi ogwomenda , 2012) yali musumba omukatuliki ow'essaza ly'obukatuliki ery'e Jinja Uganda . Omubala gwe ogw’obwepisikoopi gwali De petra melle ekivvuunulwa nti (n'omubisi okuva mu lwazi), Zabbuli 81:17

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Willigers yatuuzibwa ku bwa kabona mu 1955, n’alondebwa okuba omusumba mu 1967 n’awummula mu 2010. Joseph Bernard Louis Willigers yayingira ekibiina ky'abaminsani ba Yozefu Omutukuvu aba Mill Hill ng’alina emyaka kumi na mwenda. Mu 1955, ng’alina emyaka 25, yatuuzibwa mu London, Kalidinaali Bernard Griffin n’asindikibwa e Roma okusoma amateeka g'ekereziya (Canon Law.) Bwe yatikkirwa mu 1958 yasitula n’agenda mu Afrika okukola mu buminsani.

Willigers yakolera mu by’enjigiriza n’obusumba obusookerwako mu Uganda ne Kenya era mu 1965 nga Vviika genero ow’essaza ly’e Kenya ery'e Kisumu, wansi w’omusumba omudaaki Jan de Reeper. Mu 1967 Musinyooli (Msgr) Willigers yalondeddwa ng’omusumba eyasooka ossaza ly’e Jinja, ebuvanjuba w’ekibuga kya Uganda ekikulu Kampala. Okutukuzibwa kwe kwakolebwa Ssaabasumba Emmanuel Nsubuga, oluvannyuma eyafuuka Kalidinaali wa Uganda eyasooka. Okumala emyaka 42 egy’obuweereza obumatiza, obwegombesa era obw'ekitiibwa, Omusumba Willigner yakulembera abakkiriza b’essaza lye, okutuusa lwe yawummula mu Mwezi ogwokusatu 2010. Ng’omusumba, musinyooli (Msgr.) Willigers yaluŋŋamizibwa eby’omwoyo gwa Charles de Foucauld ow'omukisa era nga yamanyibwa ng’omugezi, omusanyufu ayaniriza era akumaakuma.

Mu 2009, yeetaba mu lukiiko lw'abasumba oluteesa ku nsonga eziba ziriwo mu ekereziya (Synod of Bishops Assembly) olwali luteesa ku Afirika. Enkolagana n'essaza lye gyazaalibwa ery'e Roermond yeeyongera mu myaka gyonna , nga Roermond yawagira mu by’ensimbi pulojekiti mu Jinja, era nga Omusumba Willigers yalina amaka ewaka gyava.

Ng’akomyewo e Budaaki nga mulwadde, Omulabirizi Willigers yabeera mu nnyumba y’abaminsani e Vrijland e Oosterbeek, mweyafiira ku makya ennyo nga 1 Omwezi ogwekkumi 2012 nga mwanyina waali.

    1. Joseph B. Willigers

    2. Obituary