Jump to content

Joseph Ekemu

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Joseph Kalias Ekemu ( yazaalibwa nga 5 Ogwomwenda 1944) Ssaabawolereza wa Uganda eyawummula, mubaka wa paalamenti era munnabyabufuzi. Yaweereza nga Minisita w’ebyamateeka mu Uganda okuva mu 1994 okutuuka mu 1996.[1][2] Ekemu era yakiikirira Disitulikiti y’e Kaberamaido mu Paalamenti era yali mmemba ku kakiiko ka National Resistance Council (NRC),[3] mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM) ekya leero.

Ebibonerezo by’okusibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekemu wamu ne David Kamwada, omuyambi we basibwa emyaka ebiri mu kkomera ly’e Luzira olw’okubba ssente za Uganda obukadde 113 ezali zigendereddwa okuliyirira abantu b’e Teso abaali bafiirwa ente zaabwe mu buyeekera obwaliwo okuva mu 1987 okutuuka mu 1990.[4] Emisango emirala egyasingisibwa gyali ku misango etaano nga ku gino kwe kujingirira foomu y’okuggulawo akawunti ya Greenland Bank era ekibonerezo kyaali ku ssente z’omugwira, Suresh Ghelan.[5]

Mu 2002, yamaliriza ekibonerezo ky’okusibwa emyaka ebiri. Ono ye mukungu wa gavumenti ya Uganda ow’oku ntikko eyasooka okusingisibwa omusango gw’obufere.[6]

Mu 2018, yeegayirira Sipiika w’ekiseera ekyo Rt.Hon Rebecca Alitwala Kadaga okumuyamba mu by’ensimbi ng’agamba nti kyandibadde kya bwenkanya singa abaaliko ababaka ba paalamenti bayambibwa.Yagattako nti abaali ababaka ba paalamenti balina okuyingizibwamu singa kituuka ku mirimu gy’ebyobufuzi. Kino kyaliwo oluvannyuma lw’ababaka ba paalamenti abawera 1000 okuva mu Paalamenti eyasooka mu 1962 okutuuka mu Paalamenti ey’omukaaga okubeera nga bakadde era nga tebalina wakujja nsimbi zitegeerekeka wadde nga baali baweerezza eggwanga nga bammemba ba Paalamenti.

Okuddamu okukola emirimu gy’amateeka

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekemu yali asigazza emyezi etaano mu kakiiko akakwasisa empisa aka Law Council Disciplinary Committee (LCDC) nga tannasibibwa, yakola okusaba okugenda mu maaso n’okukola emirimu gy’amateeka oluvannyuma olukiiko olufuzi n’akulira ekitongole kya LCDC ne bakigaana. Elijah Wante eyali amaze ebbanga ng’amanyi Ekamu yamuwa amagezi okussaayo okusaba okupya okuzzibwa ku mulimu. Oluvannyuma lw’okwegayirira olukiiko olufuzi olw’akakiiko ka LCDC okumukkiriza okugenda mu maaso n’okukola emirimu gy’amateeka nga bagamba nti yabonaabona nnyo, olukiiko lwategeera emyezi etaano gyeali asigazza okumalako emyaka gye ebiri era oluvannyuma ne bamulagira okussaayo okusaba okupya ng’ebisanja biwedde.[7]

Mu mwezi Ogomwenda 2004, yazzibwawo ng’omuwolereza oluvannyuma lw’okumala emyaka enna ng’awereddwa; envumbo eno yaggyibwawo olukiiko lw’akakiiko ka LCDC oluvannyuma lw’okulaga nti yeenenyezza.[8]

Ensengeka y’ebitabo

[kyusa | kolera mu edit source]
  • oseph Ekemu. Encyclopedia, Joseph Ekemu, Unique Identifier: 4779375235. Notes: Occupation: lawyer Education: LLB with honors, Makerere University, 1971. Career: Minister justice and attorney general, Government of Uganda, Kampala, 1994 — Career: Deputy speaker parliament, 1994 Career: Member parliament, 1989–95 Career: Advocate, Ekemu & Co., Kampala, Uganda, 1972–89 Career: Advocate, Elemu & Kabu Co., Kampala, Uganda, 1972–89. Career: Advocate, Kulubya & Co. Advocates, Kampala, Uganda, 1972–89. Career: Advocate, Mboijana & Co. Advcates, Kampala, Uganda, 1972–89, Career: Pupil state attorney, Ministry of Justice, Kampala, Uganda, 1971–72.[9]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Chiefs of State and Cabinet members of foreign governments / National Foreign Assessment Center. 1995Jan-Apr 1995". HathiTrust (in Lungereza). Retrieved 2018-06-24.
  2. Oloka-Onyango, J. When Courts Do Politics: Public Interest Law and Litigation in East Africa . p. 281.
  3. "Former MPs ask Speaker Kadaga for financial assistance – Parliament Watch". parliamentwatch.ug. Retrieved 2020-11-18.
  4. "Road Trip Museveni Katureebe relationship Tumwesigye". The Monitor. Retrieved 18 November 2020.Template:Dead link
  5. Nakitendde, hadijah. "New Corruption Fight: Too Little too late to remedy the Country – Sunrise" (in American English). Retrieved 2020-11-18.
  6. "Ekemu Kamwada freed". www.newvision.co.ug. Retrieved 2020-11-18.
  7. "Ekemu eur application practice law rejected". www.newvision.co.ug. Retrieved 2020-11-18.
  8. Hillary Nsambu (27 September 2004), "Uganda: Ekemu joins advocates 'Roll Again", Allafrica, retrieved 18 November 2020
  9. Joseph Ekemu (in Lungereza). OCLC 4779375235.

Ebijuliziddwamu wabweru wa Wikipidiya

[kyusa | kolera mu edit source]