Jump to content

Joseph Hutchinson

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

 

Sir Joseph Burtt Hutchinson FRS [1] (21 Ogwokusatu 1902 – 16 Ogusooka 1988) yali mukugu mu by’obulamu Omungereza. Yali pulofeesa omukenkufu mu by'obulimi (Professor of Agriculture) mu yunivasite y’e Cambridge okuva mu 1957 okutuuka mu 1969.

Yakola nga pulezidenti w'ekitongole kya The Uganda Society wakati wa 1952 ne 1953

Yasomera mu ssomero lya Bootham School, [2] York ne mu St John's College, Cambridge . Yalondebwa okuba Fellow of the Royal Society mu Gwokusatu 1951 [1] [3] era yaweebwa omudaali gwa Royal Medal mu 1967 " Mu kusiima omulimu gwe ogw'ekitiibwa ku buzaale n'enkulaakulana y'ebimera-birime ng'ajuliza nnyo ppamba. " [4]

Ekiwandiiko kye eky'okwesimbawo ku FRS kyagamba nti: "Ebikolwa bye bya njawulo nnyo mu kunoonyereza ku kwongera omutindo gwa ppamba ogufulumizibwa okusinziira ku nsigo n'ebiwandiikibwa ku bimuli eby'enjawuo. Omulimu gwe agukolera mu kugobelera ennono z'abakozi ba, olw'okutegeera okw'enjigiriza okw'ekitalo, okugatta n'enkola ey'ekikugu." yateeka Ppamba mu birime ebisinga okusomesebwa, mu birime ebirimibwa mu nsi yonna Olw’omulimu gwe ogw’obuzaale, nga kw’ogasse n’okunoonyereza okw’enjawulo okuva mu nsi yonna ku birime by’omu nnimiro (naddala Ppamba), mu West Indies, Buyindi ne Afrika, emisingi gya ssaayansi mu kwongera omutindo gw'ebimera mu ngeri ey’omugaso ginywezeddwa nnyo." [1] Yali pulezidenti wa The Uganda Society mu 1952–1953.

Yaweebwa ekitiibwa ekiweebwa Abangereza abasukkulum mu 1956. [1] Yakubiriza olukiiko lw'ekibiina kya British Association olwatuula mu 1966. [5] Yafa nga 16 Ogusooka 1988.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:FRS 1951Lua error: Invalid configuration file.