Joseph Mukasa Balikuddembe
Joseph Mukasa Balikuddembe Yali mulamu okuva mu mwaka gwa 1860 okutuuka nga 15 ogwekkumi 1885. Yali mujulizi wa Uganda Omukatoliki era nga akola nga majordomo mu lubiri lwa Ssekabaka Mwanga II owa Buganda, era nga Mukasa ono amanyiddwa ng’omutuukirivu Eklezia Katolika.
Abaminsani ba Africa bajja mu Uganda mu mwaka gwa 1879. Balikuddembe yawandiisibwa nga omusomi wa katekisimu mu mwaka ogwaddako era ono yali wamu ne Andrew Kaggwa eyabatizibwa Père Simon Lourdel M.Afr. (Fr. Mapeera) nga ennaku z'omwezi 30 ogw'okuna 1882. [1] [2] [3] Balikuddembe yaweebwa erinnya ly'okubatiza erya "Joseph". [4]
Okuva mu mu mwezi ogw'ekumi n'ogumu, omwaka gwa 1882, okutuuka mu Kasambula wa 1885 abaminsani Abakatoliki, olw’ensonga z’ebyokwerinda, baasuulawo obuminsani mu Uganda ne badda mu bukiikaddyo bw’ennyanja Victoria. Mu kiseera nga abaminsani tebaliiwo, Balikuddembe yalondebwa okuba omukulembeze w’Abakristaayo. [4] [2]
Ssekabaka Muteesa yasikirwa mutabani we ow’emyaka kkumi n’omunaana, Danieri Mwanga II. Ku ntandikwa y’obufuzi bwe, kabaka omuggya yatandika okufufuggaza abaminsani Abakristaayo n’abo abaali bakyuse nebegatta ku ddiini mu nsi ye, era n’atta omulabirizi omungereza James Hannington ne banne mu mwezi ogw'ekumi nga ennaku z'omwezi 29, mu mwaka gwa1885, nga tafudeeyo ku kwegayirira kwa Balikuddembe okusonyiwa omulabirizi. Godfrey Muwonge kino akiteeka ku Katikkiro wa Mwanga (Ssaabaminisita) Mukasa, eyayagala ennyo okukugira okusaasaana kw’Obukristaayo mu Buganda ng'ayita mu kumalawo abasomesa baayo. [5]
Nga abasomi ba katekisimu, abaali bakakyuka baali tebakyasobola kwenyigira mu bikolwa bbo bye baalaba ng’ebitali bya kikulistaayo. Mwanga kino yakiraba ng’okumujeemera. [6]
Ng’omuwabuzi wa Mwanga omukulu, Balikuddembe yavumirira nnyo ky'okutta omulabirizi. Kino Mwanga yakitwala ng’obutamusaamu kitiibwa era oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo okumala ekiro kiramba, kabaka yasalira Balikuddembe omusango gw’okufa. Muwonge agamba nti Katikkiro Musaka yarwana nnyo okulaba nti ekiragiro kino kituukirizibwa nga kabaka tannakyusa kirowoozo kye. [5] Nga 15 ogw'ekumi n'ogumu, omwaka 1885 Balikuddembe yatwalibwa mu kifo ekiriraanye omugga Nakivubo gye baamutemerako omutwe era omulambo ne gusuulibwa ku ntuumu y’enku ezaali ziyaka. [4] Emirimu gye gyatwalibwa mu maaso omuvubuka eyali omusomi w'eddiini ayitibwa Charles Lwanga .
Okussaamu ekitiibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Balikuddembe ajjukirwa nga omujulizi wa Uganda eyasooka era nga ye mukuumi wa bannabyabufuzi n’abaami ba Kabaka. [1]
Ekigo kya St. Joseph Mukasa Balikuddembe kisangibwa mu Kisoga. [7]
Famire ye
[kyusa | kolera mu edit source]Taata wa Balikuddembe yali Matia Mulumba okuva e Jinja ate nnyina ye yali mukyala Mutoro. [3]
Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Uganda Martyrs Shrine, Namugongo, Kampala Archdiocese, Uganda". Archived from the original on 11 November 2016. Retrieved 14 November 2016.
- 1 2 "Mapeera, the man behind Uganda's first-ever mass, baptism". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-03.
- 1 2 "Uganda Martyrs: tracing the history". Monitor (in Lungereza). 2021-01-05. Retrieved 2023-10-05.
- 1 2 3 "Shorter, Aylward. "Mukasa Balikuddembe, Joseph", Dictionary of African Christian Biography, 2003". Archived from the original on 2010-03-23. Retrieved 2008-08-31.
- 1 2 ""Katikkiro Mukasa Was Behind Many "Mwanga II Executions", Buganda Watch, 21 May 2015". Archived from the original on 8 December 2015. Retrieved 3 December 2015.
- ↑ Nsambu, Jean-Marie. "Who are Uganda Martyrs?", New Vision, 2007 Template:Webarchive
- ↑ easervites (12 November 2014). "SILVER JUBILEE OF BALIKUDDEMBE CATHOLIC PARISH". Retrieved 14 November 2016.
Ebijuliziddwa eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]
- Ebikwata ku bulamu bwa Joseph Mukasa
- Abajulizi ba Uganda okuva mu magazini ya The Word Among Us eya August 2008 Archived
- Joseph Mukasa okuva mu UgandaMartyrsShrine.org
- Joseph Mukasa Balikuddembe's profile from Dictionary of African Christian Biography
Lua error: Invalid configuration file.