Joseph Mulenga
Joseph Nyamihana Mulenga (yafa 29 Omwezi gwomunaana 2012) yali i munna Uganda omulamuzi. Yaweereza ng’omulamuzi wa kkooti enkulu mu Uganda okumala emyaka kkumi n’ebiri wakati wa 1997 ne 2009, era n’abeera omulamuzi n’oluvannyuma Pulezidenti wa kkooti y’obuvanjuba bwa Afrika . [1] Mulenga yafa mu mwezi gwomunaana 2012. [2]
Obutobwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Omulamuzi Mulenga yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Kigezi, yasomera Mutolere ne Sooko mu Pulayimale, St. Mary’s College Rushoroza, mu Disitulikiti y’e Kabale, St. Leo’s College Kyegobe mu Fort Portal ne St. Mary’s College Kisubi. [3] Mu 1960, yafuna satifikeeti ye eyo mutendeera gwa siniya eyomukaaga mu 1960. Emisomo gye egy'amateeka yagisomera mu Bungereza, gye yatikkirwa Diguli eyookubiri mu mateeka okuva mu Yunivasite y'e London mu 1965. Yayitibwa mu bbaala y'Olungereza nga Barrister-at-Law okuva mu Middle Temple mu 1966. [4]
Mu myaka kkumi n'ena Mulenga yali omumyuka wa Ssentebe w'ekibiina kya Democratic Party of Uganda . [4]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Wakati w'emyaka gya 1986 ne 1989 yali Minisita w’ebyamateeka era Ssaabawolereza wa Gavumenti, oluvannyuma yafuka Minisita w’enkolagana mu bitundu. [4] [5] [6] Mu 1997 yafuuka mmemba mu kkooti ensukkulumu mu Uganda gye yali agenda okuweereza okumala emyaka kkumi n’ebiri. Era yafuuka omulamuzi mu kkooti y’obuvanjuba bwa Afrika n’oluvannyuma n’afuuka pulezidenti waayo. [4] [7] Oluvannyuma yatandika okuweereza ku bw’ekiseera ekigere mu kkooti ya Afrika evunaanyizibwa ku ddembe ly'obuntu n'abantu . Mu 2001, omulamuzi Mulenga y’omu ku balamuzi babiri aba kkooti ensukkulumu abaasazaamu okusaba okwaleetebwa mu kkooti nga Kizza Besigye nga avunaana Yoweri Museveni olw’okubba obululu. Yalondebwa okubeera omulamuzi wa kkooti ya Afrika mu 2008 okumala ebisanja mukaaga. [8] Yakola mu by’amateeka okumala emyaka 47, n’ayamba nnyo nga omukugu mu by’amateeka mu Uganda .
Okufa
[kyusa | kolera mu edit source]Joseph yafa nga 29 Omwezi gwomunaana 2012 mu ddwaliro e Nakasero mu Kampala olw’obulwade obwekuusa ku kookolo . [4] [3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Monica Mugenyi
- George Kanyeihamba
- Josephine Abaijah, omuwandiisi w’ebitabo
- Kiryowa Kiwanuka
- Sam Kutesa
- Disitulikiti y'e Kigezi, eyali disitulikiti mu maserengeta ga Uganda
- Kabale Disitulikiti, disitulikiti mu Bukiika ddyo ne Bugwanjuba wa Uganda
- ↑ "Likely new faces at the Supreme Court". Archived from the original on 2010-04-30. Retrieved 2010-01-25.
- ↑ "Retired Judge Mulenga is dead". Archived from the original on 2012-08-30.
- 1 2 "Retired Judge Mulenga is dead". Archived from the original on 2012-08-30.
- 1 2 3 4 5 Frank Kisakye (29 August 2012). "Justice Mulenga is dead". The Observer. Retrieved 21 April 2015.
- ↑ "Retired Supreme Court Judge Mulenga Dead :". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2025-12-13.
- ↑ gorbiromaric. "Justice Joseph Nyamihana Mulenga - Uganda - African Court on Human and Peoples' Rights". www.african-court.org (in American English). Archived from the original on 2024-12-24. Retrieved 2025-12-13.
- ↑ "EACJ mourns deceased former judge President Justice Joseph Mulenga". East African Court of Justice (in American English). 2012-08-30. Retrieved 2025-12-13.
- ↑ "EACJ mourns deceased former judge President Justice Joseph Mulenga". East African Court of Justice (in American English). 2012-08-30. Retrieved 2025-12-19.