Jump to content

Joseph Musanyufu

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Joseph Musanyufu ye Lieutenant General mu ggye lya Uganda People's Defence Force (UPDF), akola nga omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ensonga z'omunda mu Uganda. Amangu ddala nga tannalondebwa mu kifo ky'alimu kati, yaweereza nga Joint Chief of Staff, eddaala ery’okusatu mu magye ga Uganda. Alina abaana bana, omulenzi 1 Musanyufu Chris jr n’abaana 2 ab’obuwala. [1] Musanyufu era yaliko akulira abakozi n'okuddukanya emirimu mu UPDF, ekifo kye yalondebwa mu 2014. [2]

Musanyufu yadda mu bigere bya Wilson Mbadi, eyakuzibwa ku ddaala lya Lieutenant General n’alondebwa okuba omumyuka w’akulira amagye mu UPDF. [3] Musanyufu, eyali brigadier nga tannalondebwa mu kifo ky'alimu kati, yakuzibwa n’afuulibwa major general mu kiseera we yalondebwa ng’akulira abakozi ab’awamu. [1]

Obuvo bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu biseera bya 1962 [4] mu Disitulikiti y'e Bushenyi nga bweyitibwa leero, mu ttundutundu ly'obugwanjuba bwa Uganda. Nga tannayingira magye, yasomera mu Seminary e Kitabi, mu Disitulikiti y’e Bushenyi ne ku ssomero lya Ntare mu Disitulikiti y’e Mbarara n’afuuka omu ku bayizi abaasinga mu mwaka gwe. Oluvannyuma yagenda mu yunivasite y’e Makerere n’atikkirwa diguli esooka mu by’enfuna nga yayitira mu ddaala lisooka. [5]

Mu kiseera kye yaweereza mu UPDF, yasomera mu kkoosi y’abaduumizi abakulu mu ttendekero ly’abakozi mu Amerika n’ettendekero ly’abakozi mu Royal Military College Sandhurst [Bungereza] n’omusomo omulala mu National Defence College e Buyindi . [2]

Mu Gwomunaana 1985, Musanyufu yeegatta ku ggye lya National Resistance Army, eryasooka erya UPDF. Mu kiseera ekyo, banne bwe baayingizibwa kwaliko; James Mugira, Shaban Bantariza ne David Muhoozi . [5] Waliwo ekiseera mwe yaweerereza nga ADC eri Mugisha Muntu, mu kiseera ekyo eyali omuduumizi w’amagye ga Uganda. Musanyufu era yaliko omumyuka w’omugenzi Nobel Mayombo, nga mu kiseera ekyo Mayombo yali akulira ekitongole ekikessi mu magye. [5]

Oluvannyuma Musanyufu yakola nga chief controller finance mu ggye lya UPDF n’oluvannyuma n’akola nga chief of integrated resource management information system. [2] Mu kifo kye ekipya nga akulira abakozi ba UPDF ab’awamu, muwabuzi wa magye ow’oku lusegere eri pulezidenti wa Uganda, era nga ye muduumizi w’amagye ga UPDF. [4]

Nga 8 Ogwokubiri, 2019, abajaasi ba UPDF abasajja n’abakazi abasoba mu 2,000 baakuzibwa ku lunaku lumu. Ku lunaku olwo Joseph Musanyufu yakuzibwa okuva ku ddaala lya major general n'adda ku ddaala lya Lieutenant General . [6]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 http://www.monitor.co.ug/News/National/Brig-Musanyufu-promoted-UPDF-Chief-staff/688334-3514496-5vudp3/index.html
  2. 1 2 3 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1443959/musanyufu-appointed-updf-joint-chief-staff
  3. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1477950/-united-kingdom-commends-updf
  4. 1 2 https://theugandan.com.ug/museveni-promotes-joseph-musanyufu-gen-mbadis-jcos/
  5. 1 2 3 https://chimpreports.com/maj-gen-musanyufu-named-updf-joint-chief-of-staff/
  6. https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-promotes-Muhoozi-Kainerugaba-Lieutenant-General/688334-4972994-mqpx8tz/index.html