Joseph Oyanga
Joseph Oyanga (28 Ogwokubiri 1936 – 21 Omusanvu 2018), yali munnayuganda Omusasedooti eyaweereza ng'Omulabirizi w'essaza ekkulu erya Lira okuva nga 4 Ogwomusanvu 1989 okutuuka nga 2 Ogwekkuminebiri 2003. [1]
Eby'emabega n’obusasedooti
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa ku kyalo Omararii, mu Ssaza lya Omoro nga kati ye Disitulikiti ya Alebtong, mu bitundu bya Lango, mu mambuka ga Uganda . Oyanga yatuuzibwa ku Busasedooti e Lira, nga 15 Ogwokutaano 1963. Yaweereza mu kifo kino mu Bulabirizi bwa Lira okutuusa nga 4 Ogwomusanvu 1989. [1] [2]
Ng'Omulabirizi
[kyusa | kolera mu edit source]Yalondebwa okuba Omulabirizi w’Essaza ly’e Lira nga 4 Ogwomusanvu 1989. Oyanga yatukuzibwa okuba Omulabirizi nga 1 Ogwekkumi 1989 e Lira nga Ssaabalabirizi w’essaza ekkulu erya Kampala Kalidinaali Emmanuel Kiwanuka Nsubuga † yeeyamutuuza ng’ayambibwako Omulabirizi w’essaza ly’amagye ga Uganda Omulabirizi James Odongo, wamu n'Omulabirizi w'e Soroti Erasmus Desiderius Wandera. [1]
Joseph Oyanga yafa ng'Omulabirizi w'e Ssaza lya Lira eyawummula, nga 21 Ogwomusanvu 2018 mu ddwaliro lya St. Anthony, mu kibuga ky'e Tororo, mu Ssaza ly’e Tororo [1] [2]
Era laba
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 http://www.catholic-hierarchy.org/bishop/boyanga.html Cite error: Invalid
<ref>tag; name "1R" defined multiple times with different content - 1 2 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1482210/bishop-joseph-oyanga-laid-rest Cite error: Invalid
<ref>tag; name "2R" defined multiple times with different content