Joseph Semwanga
Endabika
Brigadier Joseph Semwanga munnayuganda munamagye. Mu kiseera kino ye komanda w'egye erya buligeedi, erye Masaka . [1] Yalondebwa mu kifo ky'alimu kati mu Ogw'okutaano 2013, n'adda mu bigere bya Major General David Muhoozi, eyafuuka Omuduumizi w'amagye ag'oku lukalu mu ggye lya Uganda People's Defence Forces . [2]
Ebyafaayo n’okutendekebwa
[kyusa | kolera mu edit source]Joseph Semwanga yazaalibwa mu 1973 mu Disitulikiti y'e Mukono . Yeegatta ku magye mu 1995 era n’aweebwa omulimu nga 4,Ogw'omusanvu 1997 oluvannyuma lw’okumaliriza koosi y'obuserikale okuva mu Monduli Military Academy, Tanzania . Abadde mu misomo gy’amagye egiwerako, omuli gino wammanga:[2]
- Omusomo gw’Abasomesa
- Omusomo mu ggye ery’enjawulo erya Light Infantry
- Omusomo gw'abakozi ba ttanka
- Omusomo gw'okuduumira Tank Platoon
- Omusomo gwa Tekinologiya wa Ttanka mu Buyindi
- Omusomo gw’okuduumira kkampuni ya ttanka
- Omusomo gw'okuduumira ekibinja kya ttanka
- Omusomo gw’ettendekero ly’abaduumizi n’abakozi abakulu, mu Tanzania, mu 2008. [2]
Omulimu gw’amagye
[kyusa | kolera mu edit source]Joseph Semwanga azze akola emirimu egiwerako mu UPDF, omuli bino wammanga: [2]
- Administrative Officer, Kalama Armored Warfare Training School, Kabamba, Disitulikiti y'e Mubende
- Omusomesa omukulu Kalama Armored Warfare Training School, Kabamba, Disitulikiti y'e Mubende
- Commandant Kalama Armored Warfare Training School, Kabamba mu Disitulikiti y'e Mubende
- Akulira ebikwekweto n'okutendeka aba Brigade, Armoured Brigade, Masaka, Disitulikiti y'e Masaka
- Commandant Armored Brigade, Masaka, Disitulikiti y'e Masaka - Ekifo ky'alimu kati.[2]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Security Grills UMEME On Power Cuts In Masaka". Monday Times Uganda. 23 January 2014. Archived from the original on 28 March 2016. Retrieved 6 March 2015.
- 1 2 3 4 5 Kakaire, Sulaiman (29 May 2013). "New Army Big Wigs: Who Are They?". Archived from the original on 13 May 2014. Retrieved 6 March 2015.