Josephine Anenih, munnabyabufuzi
| Ekikula | mukyala | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Nigeria | |
| Erinnya eriweereddwa | Josephine | |
| Yazaalibwa nga | 6 Gwamusanvu(Kasambula) 1948 | |
| Gy'azaalwa | Sokoto | |
| Native language | Igbo | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | munnabyabufuzi, Minisita | |
| Ekifo ky'alimu | Minister of Women Affairs and Social Development | |
| Gyeyasomera | Obafemi Awolowo University, University of Benin | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Peoples Democratic Party | |
| Ediini | Christianity | |
| Langi y'amaaso | black | |
Iyom Josephine Anenih (yazaalibwa 6 Ogwomusanvu 1948) [1] [2] munnabyabufuzi Omunigeria eyalondebwa okubeera Minisita w'ensonga z'abakyala nga 6 Ogwokuna 2010 akola nga Pulezidenti Goodluck Jonathan bwe yalangirira kabineti ye empya. [3]
Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Sokoto mu 1948, yasenguka nga ne kitaawe, omukozi wa gavumenti mu kitongole ky’emirimu, eyaweereza mu States ez'enjawulo mu Nigeria . Yazaalibwa mu maka g’Abakristaayo. Siniya yagimalira mu Queen’s College, Lagos . [4] Ng’asoma amateeka, yafuna diguli ya B.Ed, LLB, ne BL okuva mu Yunivasite y’e Ife (1974/75) ne Yunivasite y’e Benin .
Bba, Tony Anenih (1933–2018) yalondebwa okubeera Minisita w’ebyemirimu mu 1999 mu kabineti ya Pulezidenti Olusegun Obasanjo eyasooka. [5]
Yali ssentebe w’ekibiina ekigatta bannamateeka abakyala okuva mu 1994 okutuuka mu 2000, era ye yali omukulembeze w’abakyala mu ggwanga eyasooka mu kibiina kya People’s Democratic Party (PDP) okuva mu 1999 okutuuka mu 2005. [3] Mu Gwokuna 2002, yagamba nti okussa mu nkola enkola y’amateeka eya Sharia mu ssaza ly’e Kano kwatumbula eddembe ly’abakyala nga bwe kiragiddwa Obusiraamu. [6] Yali muwabuzi wa Pulezidenti Obasanjo ow'enjawulo ku nsonga z'abakyala okutuusa mu 2006. [7]
Y’omu ku baatandikawo ekibiina kya'bakyala ki Women Foundation Nigeria (WFN), ekiyamba abakyala b’e Nigeria mu kuwaanyisiganya endowooza ku nsonga z’abakyala mu nsi yonna n’okuyamba okutumbula abakyala mu byobufuzi. Mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kulonda kw’ekikula ky’abantu ne Ssemateeka ka (Gender Electoral and Constitutional Memoranda Committee), akagenderera okussa endowooza z’abakyala mu mateeka g’ebyokulonda n’ennongoosereza mu Nigeria. [8]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "ANENIH, Barr Josephine Nwogo". Nov 11, 2016. Archived from the original on October 6, 2022. Retrieved Sep 8, 2020.
- ↑ "Dad flogged me the day a visitor gave me a coin at Xmas – Josephine Anenih". onlinenigeria. Apr 4, 2010. Retrieved Sep 8, 2020.
- 1 2 "Ministers - the Profiles". ThisDay. 7 April 2010. Retrieved 2010-04-14.
- ↑ Ayo-Lawal Gbenoba. "I was so tiny in school that my friends served punishments on my behalf - Josephine Anenih, Former PDP Woman Leader". Tribune. Archived from the original on 2011-07-24. Retrieved 2010-04-14.
- ↑ "Profiles of ministerial nominees". Peoples Daily. Archived from the original on 2021-06-16. Retrieved 2010-04-14.
- ↑ "Josephine Anenih Commends Sharia in Kano State". Daily Trust. 23 April 2002. Retrieved 2010-04-14.
- ↑ Ademola Adeyemo (28 March 2010). "New Ministers - Would They Perform Miracles?". ThisDay. Retrieved 2010-04-14.
- ↑ "Expert Profiles". The International Knowledge Network of Women in Politics. Archived from the original on 2010-02-26. Retrieved 2010-04-14.