Jump to content

Josephine Kakooza

Bisangiddwa ku Wikipedia

Josephine Kakooza (8 Ogwomukaaga 1955 – 9 Ogwolubereberye 2019) yali muserikale wa poliisi Munnayuganda, omukulembeze wa Police Band era nga yaliko Kaminsona wa Poliisi. Mu Gwekkumineebiri gwa 2011 yalondebwa okuba Dayirekita w’okuyimba mu Poliisi ya Uganda ekyamufuula omukyala eyasooka okubeera mu kifo ekyo. Era yali muyimbi era ng’akuba omulere.

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Kakooza yazaalibwa mu 1955 mu ddwaaliro lya Villa Maria Hospital, Masaka nga bazadde be kwaliko Joseph Kakooza nga ono yali omukulu wa ssaza mu Buganda, ne Theodora Namutebi Kakooza [1]

Yasomerako ku Ntinda Nursery School, Nabagereka Primary School n’oluvannyuma St.Agnes Naggalama wakati wa 1960 ne 1966. [2] Wakati wa 1966 – 1968 yasomera ku Trinity College, Nabbingo oluvannyuma n’agenda mu Uganda Police Force mu 1970. [1] Wakati awo, yasomerako mu ssomero ly'abannaansi erya The Butabika Hospital Nursing School [3] [4]

Nga ali mu Uganda Police Force, yafuna okutendekebwa okukwata ku nkozesa y'eby'okulwanyisamu 1973 n’akola essomo lya Junior Command Course mu 1997 n’amasomo amalala agawerako mu ggwanga n’ebweru. [5] [3] Era yalina satifikeeti mu kubudaabuda abalwadde ba siriimu eyafunibwa wansi wa The Aids Support Organization (TASO) . [4]

Nga 1 Ogwomwenda 1969 yeewandiisa okutendekebwa okumala emyezi 3 mu Kitongole kya Police ya Uganda, era n'atikkirwa diguli ya Band Woman Constable nga 2 Ogwekkumineebiri 1969. [1] Era yatendekebwa okumala emyaka ebiri mu Kibuli Police Training School era oluvannyuma nassibwa mu Police Band wansi w'ekitongole ky'ebyokuyimba. [3]

Mu ggye ekkulu, Kakooza yatandika nga omuserikale wa poliisi agezesebwa, oluvannyuma n’akuzibwa n’afuulibwa omuserikale wa poliisi n’oluvannyuma kkopolo mu 1982, nga tannafuuka saajenti mu 1987. [2] [6]

Mu 1993, yakuzibwa n’afuulibwa Assistant Inspector of Police era mu Gwokubiri gwa 2000, yafuuka Omukulu w'ebyokunooneyereza mu Poliisi mu bujjuvu. [2] [6] Oluvannyuma yakuzibwa n’afuulibwa Assistant Superintendent of Police (2004) n’oluvannyuma Superintendent mu 2008. [5] Nga wayise emyaka ena mu 2012, yalondebwa okubeera Assistant Commissioner of Police(ACP) [5]

Bwe yali atuuse mu myaka mu Uganda egyobuwaze egyokulekulira kw'abakozi ba gavumenti mu 2013, Kakooza mu kifo ky’okuwummula yasalawo endagaano ye eyongezebweyo nga ali ku mutendera gw'okulabirwako mu buweereza bwe. [5]

Nga Poliisi ya Uganda eweza emyaka 100 mu 2014, Kakooza y’omu ku baserikale Pulezidenti Yoweri Museveni be yakuza naatuuka ku ddaala lya Kamiisona wa Poliisi . [7]

Okusinziira ku kiwandiiko ekyawandiikibwako nga afudde okuva mu Uganda Police Force, yasindikibwa ku Nsambya Police Band Unit gye yaweereza okutuusa lwe yafa mu 2019 [5]

Okusiimibwa ne awaadi ze

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Omudaali gw'obuweereza obw'enjawulo ogwa The Uganda Police Force (guweebwa abantu ssekinnoomu olw'obuweereza obw'enjawulo) [3]
  • Long Service with Good Conduct Medal of The Uganda Police Force (egiweebwa abaserikale abamaze emyaka 30 n'okusoba) [3]
  • Omudaali gw'ameefuga g'eggwanga [3]

Obulamu bwe obw’obuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Kakooza yatandika okulima n'okulunda e Mukono mu myaka gye egyaddirira. [3] Yalina abaana bana. Kahooza yaziikibwa Namumira mu Disitulikiti y'eMukono . [6]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/uganda-police-band-director-josephine-kakooza-dead-1799618
  2. 1 2 3 https://nilepost.co.ug/featured/34305/josephine-kakooza-the-police-brass-band-labrosone-goes-silent
  3. 1 2 3 4 5 6 7 https://observer.ug/lifestyle/58486-josephine-kakooza-s-five-decades-in-police-career-full-of-satisfaction
  4. 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/josephine-kakooza-tribute-to-a-girl-who-dared-to-dream-big-1800260
  5. 1 2 3 4 5 https://www.upf.go.ug/igp-mourns-kakooza/
  6. 1 2 3 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/orbituary-head-of-police-band-unit-kakooza-was-talented-and-committed-1799906
  7. https://www.upf.go.ug/promotions-police-officers/