Josephine Kasya
Josephine Kasya mukyala omu nnayuganda eyasooka okukulira disitulikiti.[1]Yalondebwa nga ssentebe wa LC5 mu Disitulikiti y'e Kanungu okuva ekiiko z'ebyalo bwe zaalatebwawo mu ggwanga.[2][3]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1992, Josephine yakola nga omukulembeze w'abakyala mu lukiiko mu nkola ya disitulikiti. Mu 1994, yagezaako okufuna ekifo mu lukiiko olufuzi mu Rukungiri Disitulikiti, nga yesimbye ku Winnie Mastsiko eyali ku ludda oluvuganya, naye teyasobola kuwangula mu kalulu ako. Mu 1998, yakola nga n'abamyuka wa ssentebe mu lukiiko lwa disitulikiti y'e Rukungiri oluvanyuma lw'okufula Kanungu disitulikiti ku lwayo mu 2001 we yatuuzibwa nga ssentebe okumala ebanga lya myezi mukaaga eritaali lya nkalakkalira. Yasalawo okwesimba mu kifo ekyo mu kalulu era n'awangula, nakomekkereza obukulembeze bwe mu by'obufuzi.[3][4]Mu 2006 yaddamu neyesimba ku kifo ekyo era n'awangula. Kasya yaddamu n'alondebwa mu bululu obwaddako, ng'ogasseko n'okulonda kwa bonna okwa 2011 kweyawangula n'obululu 30,400, obwenkana 51% kubululu bwonna obwalondebwa.[5][2]Mu 2006, yaddamu nawangula.[6]Mu kiseera ky'obukulembeze bwe, yateeka essira ku kusutula eby'engiriza by'abaana n'abazadde mu disitulikiti, wamu n'okwongera omutindo mu kulabirira n'okuliisa abaana.[7][8]
Mu mwezi gw'omunana mu mwaka gwa 2020, Kasya yasalawo mu lujjudde okuva mu by'obufuzi nga awulira nti yali akoze ekimala mu kukulaakulanya Kanungu era nga kyekyali ekiseera abantu abalala okuzimba ku misingi gye yali ataddewo.[9][10]
Ng'oggyeeko obyobufuzi, Kasya abadde ku lukiiko olw'ekitogongole kya National Water & Sewerage Corporation (NWSC). Mu kifo kino, abadde yeetaba mu kukola obukodyo n'efunga y'ekitontogole, nga akozesa obumanyirivu bwe obw'amanyi mu kitongole kya gavumenti.[11]
Ebiwandiiko Ebikozeseddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/today-s-uganda-top-fifty-women-movers-1487802
- 1 2 https://www.newvision.co.ug/news/1030650/kanungu-woman-lc5-chair
- 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/museveni-mbabazi-rivalry-divides-kanungu-leaders-1587338
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/museveni-mbabazi-rivalry-divides-kanungu-leaders-1587338
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1180092/kasya-uganda-eur-woman-lc-boss
- ↑ https://visiblepolls.org/ug/2016-election/candidates/kasya-josephine-2768/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1105951/brief
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/engage-more-youth-in-family-planning-un-calls--1603292
- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/josephine-kasya-retains-kanungu-lc5-seat?districtId=565
- ↑ https://chimpreports.com/josephine-kasya-ugandas-first-elected-district-chairperson-quits-politics/
- ↑ https://www.nwsc.co.ug/board-of-directors