Jump to content

Jovan Kiryabwire

Bisangiddwa ku Wikipedia

Jovan William Mabudo Kiryabwire (Ogwekkumi 1928 - Ogwomunaana 2004) yali Munnayuganda omusawo alongoosa obwongo, nga yakolako ng'omusawo eyeebuuzibwako mu by'okulongoosa obwongou mu ddwaliro Dwaliro Ekkulu e Mulago. Mu kiseera kye kimu yali akola nga Pulofeesa era akulira ekitongole ky'okulongoosa obwongo mu ttendekero lya Makerere University School of Medicine . Yafa mu Gwalubereberye gwa 2004 nga yafa bulwadde bwa kookolo w'omulubuto . Kigambibwa nti ye Mufirika eyasooka okutuukiriza ebisaanyizo by'okubeera omusawo w'obwongo mu mawanga g'obuvanjuba n'amasekkati ga Afrika . [1] [2]

Obuto n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa nga 28 Ogwekkumi, 1928, mu ssaza ly’e Butebo, mu Disitulikiti y’e Pallisa, mu ttundutundu ly'obuvanjuba bwa Uganda. Yasomerako ku Butebo Primary School n’amala nadda mu Kamuge Primary School. Oluvannyuma yakyuka n'agenda mu Nabumali High School ebweru w'ekibuga Mbale, gye yafunira dipuloma eyenkanankana n'okumaliriza siniya eyoomukaaga . [1] [2]

Mu 1952, yaweebwa ekifo mu Makerere University Medical School Yatikkirwa mu 1957 n'afuna diguli esooka eya Bachelor of Medicine ne Bachelor of Surgery . Oluvannyuma yasomerako mu Bungereza ne Scotland, n’afuna obwa mmemba mu bibiina by'abasawo abalongoosa obwongo omwali ekya Fellow of the Royal College of Surgeons of England (FRCS) ne Fellow of the Royal College of Surgeons of Edinburgh, FRCS(Ed). [1] [2]

Ono amanyiddwa olw’okuteekawo ekifo awaalongoosebwa obwongo ekyasooka mu Uganda. Mu kuziika kwe banne, omwali be yali mkwano gye, abaali abayizi be ne banne bwe baali baddukanya eby’obujjanjabi baawa obujulizi ku busobozi bwe, okwewaayo kwe n’obwesimbu bwe. Mu myaka gya 1970 ne 1980, yagaana emirimu egyali giyingiza ssente ebweru wa Uganda n'asigala emabega okuweereza "abantu be", wadde nga waaliwo okusoomoozebwa. Yagenda mu maaso n’okukola ku balwadde b'olulonggosa okuva Uganda n’amawanga ag’omuliraano. [1] [2]

Pulofeesa Kiryabwire yaleka nnamwandu, Mary Aligaweesa Kiryabwire n’abaana abakulu mwenda. Ezzadde lye kuliko Joel Kiryabwire omulongoosa w'obwongo ne Geoffrey Kiryabwire, Omulamuzi wa kkooti ejulirwamu mu Uganda . Abaana abalala kuliko omusawo omulala, munnamateeka omulala, omusawo w’ebisolo, bayinginiya babiri, nnansi n’omusomesa omu. [1] [2]

Obulwadde n’okufa kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yafa nga 17 Ogwolubereberye 2004 ku myaka 75 olwa kookolo w'omulubuto . Gavumenti ya Uganda yamuwa "okuziikibwa okutongole". [1]

Ebitiibwa bye

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga akyali mulamu, gavumenti ya Uganda yamwambaza Omudaali Gw'obusawo ku lunaku lw'ameefuga, olw’obuweereza bwe eri eggwanga lye. Era yali Commander (Brother) mu kibiina kya Order of St John era yaweebwa ekitiibwa ky'obwa knight mu 1991. [1]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 6 7 https://www.newvision.co.ug/news/1108218/surgeon-hangs-gloves
  2. 1 2 3 4 5 https://www.newvision.co.ug/news/1301084/kiryabwire-father-neurosurgery-east-central-africa