Joy Ruth Acheng

Joy Ruth Acheng mukungu wa Uganda, eyali Omubaka wa Uganda ng'atuula mu kibuga Ottawa, e Canada.[1][2][3][4]Mmemba w'ekibiina kya Uganda People's Congress era yalondebwa mu Palamenti ya Uganda ey'omwenda mu 2011.[5]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Acheng yazaalibwa Ejang Margaret Obia.[6] Alina diguli eyookubiri eya Masters in Management Studies, Diguli mu busomesa eya Bachelor of Education n'ebbaluwa mu mateeka eya Certificate in Administrative Law.[5]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Acheng yaweereza ng'omubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Kole mu Palamenti ey'omwenda eya Uganda (2011-2016). Yalondebwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okubeera Minisita omubeezi w'ebyennyanja naye oluvannyuma n'amukyusa.[7] Yali mmemba ku kakiiko ka Physical Infrastructure and HIV/Aids mu Palamenti ya Uganda ey'omwenda okuva mu 2011 okutuuka mu 2016.[5]
Yaliko omubaka wa Uganda mu Canada okuva nga 12 Ogwomwenda 2017.[8]
Ebitakwatagana ku ye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwomunaana 2024, Gavumenti ya Canada yalangirira nti Acheng nti yali tasaanidde kukiikirira Uganda mu Canada ekiyitibwa persona non grata mu Lulatini olw'onneeyisa ye era n'emugoba e Canada.[8] Mu kiseera kino ye mubaka wa Uganda mu nsi ya Bahamas.[9]
Laba na bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebyawandiikibwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ http://nilepost.co.ug/2021/12/15/acheng-looks-to-closer-ties-with-uganda-as-she-is-reconfirmed-amb-to-canada/
- ↑ https://allafrica.com/stories/202112160127.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/ugandan-envoy-to-canada-speaks-out-on-embassy-fight-1879924
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-06-16. Retrieved 2025-04-08.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - 1 2 3 https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/kole-woman-mp-seat-race-gains-momentum-1602022
- ↑ https://chimpreports.com/kole-rdc-beats-injures-ambassadors-mother/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/residents-protest-revocation-of-acheng-s-appointment-1654900
- 1 2 https://www.newvision.co.ug/category/news/canada-to-deport-ugandan-ambassador-acheng-NV_194129
- ↑ https://niletimes.net/president-museveni-deploys-amb-jr/