Joyce Mpanga

Joyce Rovincer Mpanga (Yazaalibwa 22 January 1934- N'afa nga 18 Ogwekkuminoogumu 2023) yali munnabyabufuzi enzaalwa ya Uganda era nga mmemba w'Olukiiko lwa Buganda okuva mu 2009. Mpanga yali Minisita w'abakyala ne Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza ebya pulayimale mu 1988 okutuuka mu 1989 . Ng'oggyeeko egya Kabineeti ya Uganda, Mpanga yali Mubaka mu Palamenti owa Disitulikiti y'e Mubende okuva mu 1996 okutuuka mu 2001.
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mpanga yazaalibwa nga 22 January 1934 mu Disitulikiti y'e Mityana mu Uganda n'asomera mu Gayaza High School. Oluvannyuma lw'okumaliriza emisomo mu Makerere College mu 1958, yeegatta ku University of London gye yafunira ddiguli ya Bachelor of Arts ne mu Indiana University Bloomignton gye yafuna Diguli eyookubiri eya Master of Science mu 1962.[1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mpanga yatandika okusomesa ku Makerere College mu 1958 n'afuuka omumyuka w'omukulu w'essomero lya Gayaza High School mu 1962.[1]Mu kiseera kye mu Makerere, Mpanga yalondebwa n'afuuka omubaka mu Palamenti ya Uganda mu 1960.[2] Mpanga yawaŋŋangukira e Bungereza mu omwaka gumu oluvannyuma lw'okulumbibwa kw'olubiri lwa Kabaka mu 1966 n'adda mu Uganda mu 1972.[1]Ng'ali e Bungereza, yali musomesa mu ssomero erimu erya elementary.[3]
Mu 1988, Mpanga yafuuka Minisita w'abakyala eyasooka mu Uganda era n'asikirwa Gertrude Byekwaso Lubega.[4]Mu mwaka ogwaddako, yalondebwa okuba Minisita w'ebyenjiriza bya Pulayimale era n'akibeeramu okutuusa mu 1991. Ng'oggyeeko okuweereza mu Kabineeti ya Uganda, Mpanga era yali mubaka wa Palamenti owa Disitulikiti y'e Mubende okuva mu 1996 okutuuka mu 2001.[3]
Wakati mu bifo by'ebyobufuzi, yeenyigira mu kuddamu okuwandiika ssemateeka wa Uganda mu 1995.[5]Mu 2009, Mpanga yafuuka mmemba w'Olukiiko olwa Buweekula[6] era yali akiikirira abakyala mu Lukiiko lwa Buganda okuva mu 2011.[7]
Ebirala ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Mpanga yali mufumbo n'abaana babiri.[8] Muzzukulu we ayitibwa George the Poet, muyimbi era mutontomi.[9]
Mpanga yafa nga November 18, 2023, ku myaka 89.[10]
Ebiwandiiko ebijulize
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 https://books.google.com/books?id=39JMAgAAQBAJ&pg=RA3-PA270
- ↑ https://books.google.com/books?id=36BViNOAu3sC&pg=PA158
- 1 2 http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Joyce-Mpanga--A-quiet-champion-for-women-s-rights/689842-1531966-ctdgc5/index.html
- ↑ https://books.google.com/books?id=C4f--wYMhhkC&pg=PA87
- ↑ https://web.archive.org/web/20190307054010/http://articles.orlandosentinel.com/2008-02-06/news/luganda06_1_beacon-college-primary-education-universal-primary
- ↑ https://web.archive.org/web/20171128071432/http://www.observer.ug/news-headlines/3061-full-list-of-buganda-lukiiko-members
- ↑ https://web.archive.org/web/20111014042837/http://www.buganda.or.ug/index.php/representatives-of-different-categories-professionals
- ↑ https://web.archive.org/web/20190308004404/https://www.monitor.co.ug/Magazines/PeoplePower/Marriage-led-to-Mpanga-s-exile/-/689844/1966402/-/item/0/-/iepitsz/-/index.html
- ↑ https://www.bbc.co.uk/programmes/m000cmym
- ↑ https://dailyexpress.co.ug/2023/11/18/former-minister-joyce-mpanga-dies-at-89/