Judith Bakirya
Judith Bakirya Munnayuganda mulimi ow'ekola ya permaculture [1]. Yalondeddwa ng'omu ku bakyala 100 aba BBC mu mwaka gwa 2019. [2]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Bakirya yazaalibwa mu kitundu ky'e Busoga mu Uganda, era yakulira ku faamu, wadde nga mu kusooka yali tagenderera kubeera mulimi. Ng’akyali mwana muto, ng’oggyeeko okukola ku faamu yaabwe, Bakirya ne bagandabe baasoma. Ku ssomero lye erya pulayimale yalina ebisaanyizo by’okufuna sikaala okugenda mu ssomero lya siniya ery’ekitiibwa, Mt St Mary’s College Namagunga. Oluvannyuma yalina ebisanyizo era yafuna sikaala ya gavumenti okugenda mu Yunivasite, era n’afuna diguli eyookubiri mu by’obulamu n’enkulaakulana okuva mu Birmingham University mu Bungereza.
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2000, Bakirya yava ku mulimu gwe mu kibiina ky’obwannakyewa okusobola okudda mu kulima. Ng’akozesa ssente ze yali yatereka ne looni entonotono gy'eyafuna mu kibiina ky'okukyalo ekitereka n'okuwola ssente, yatandikawo ekitongole kya Busaino Fruits & Trees. Mu 2014, yawangula empaka z’abalimi abasinga obulungi nga ziwagirwa Vision Group, ekitebe kya Budaaki mu Uganda, KLM Airlines ne bbanka ya DFCU Bank. Ekirabo kino kyalimu omukisa okwolesa mu mwoleso gw'ebyobulimi ogwa Source of the Nile n'okwetaba mu myoleso gy'ebyobulimi mu Budaaki . Oluvannyuma lw'ekyo, yaggulawo ekifo kye eky'okwolesezaamu eddagala ly'ekinnansi n'obuwangwa mu Disitulikiti y'e Jinja mu Uganda. Mu 2017, yatandika ekitongole kya National Agro-Tourism Institute e Jinja okwongera okutumbula obulambuzi bw’ebyobulimi n’ebyenjigiriza mu Uganda.
Bakirya kati eddukanya Busaino Fruits & Trees nga ffaamu y’ebibala nga eri ku yiika ezisoba mu 1,000, ng’essira liteekeddwa nnyo ku bulambuzi bw’ebyobulimi n’okusomesa ku bikwata ku nkola z’ennima ezikuuma obutonde bw’ensi. Mu 2019, omulimu guno gwamuviirako okusiimibwa ng'omu ku bakyala e 100" aba BBC ab'omwaka.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=83RIWs4saiU
- ↑ https://www.bbc.com/sport/av/africa/50076703
- "Launch of the Agro-Tourism Institute at Busaino Fruit Trees & Herbs". Resource Center for the Africa Agribusiness Academy. July 8, 2017. Archived from the original on 17 February 2020. Retrieved November 13, 2019.
- "BBC 100 Women 2019: Who is on the list this year?". BBC News. October 16, 2019. Retrieved November 13, 2019.
- "Amsterdam flower fair impresses Ugandan farmers". New Vision: Uganda's Leading Daily. April 20, 2015. Retrieved November 13, 2019.
- "Jinja Agriculture Supplement: Best farmers to exhibit in Jinja". New Vision: Uganda's Leading Daily. July 7, 2015. Retrieved November 13, 2019.
- "How awards changed farmers' lives". New Vision: Uganda's Leading Daily. December 7, 2018. Retrieved November 13, 2019.
- "Judith Bakirya: The Ugandan Farmer Cultivating More than Just Fruit". She Inspires Her. January 4, 2016. Archived from the original on 6 December 2019. Retrieved November 13, 2019.
- "'You can make money and preserve the environment'". BBC Sport. October 17, 2019. Retrieved November 13, 2019.