Jump to content

Julianne Mweheire

Bisangiddwa ku Wikipedia

Julianne Rwakakoko Mweheire (amanyikiddwa nga Julianne Rwakakoko), amanyiddwa nga Julianne Mweheire, munnayuganda omukugu mu by'obusuubuzi, omubalirizi w'ebitabo era omukulembeze w'ekitongole. Aweereza ng'omukulu w'ebyenkulaakulana n'ensoga z'amakolero mu kitongole ky'ebyempuliziganya ekya Uganda, okuva mu August wa 2018.[1] Yasooka kukola nga maneja omukulu, Carrier Relations ne Senior accountant,interconnection and roaming ku MTN Uganda.[1]

Obulamu obw'obuto n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu disitulikiti y'e Ntungamo mu bugwanjuba bwa Uganda, kitaawe ye Elly Rwankakoko eyali akulira ekitongole ky'emisolo ekya Uganda Revenue Authority.[2]

Julianne yassomera ku Kitante Primary School mu Kampala. Alina ddiguli mu by'obusuubuzi, ebyenfuna n'okubala ebitabo. Oluvannyuma yafuna ddiguli okuva mu Stevens Institute of Technology mu New Jersey mu Amerika ne ddiguli mu Master of Science mu Telecommunications Management.[1]

Obumanyirivu mu mulimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Okumala emyaka kumpi amakumi abiri, okutandika mu 2000, Julianne yakolerako mu bifo eby'enjawulo omuli nga maneja omukulu n'omubalirizi w'ebitabo mu MTN Uganda, ekitongole ky'amasimu ekisinga obunene mu ggwanga lya East Africa.[3]

Bwe yalondebwa mu kifo kye, yasikira Tumubweine Twinnemanzi, eyalondebwa okuba omukulu w'ekitongole ekilondoola bbanka ya Bank of Uganda, Bbanka enkulu mu Uganda.[4][5]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 https://chimpreports.com/julianne-mweheire-replaces-twinemanzi-at-ucc/
  2. https://mulengeranews.com/ex-ura-boss-gal-quits-mtn-eats-big-ucc/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2018-11-01. Retrieved 2025-04-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://web.archive.org/web/20190529024136/http://xclusive.co.ug/2018/09/julianne-r-mweheire-eats-big-at-ucc/
  5. https://ugandaradionetwork.com/story/bous-bagyenda-out-tumubweine-in-as-ed-supervision