Julius Oketta
Major General Julius Facki Oketta (yazaalibwa nga 3 Ogwekkumi 1956 – 5 Ogwomwenda 2016) yali muserikale wa magye mu Uganda. Yaliko omuduumizi omukulu mu ggye lya Uganda People's Defence Force (UPDF). Nga tannafa, yaliko Dayirekita w’okukwasaganya embeera ez’amangu mu ggwanga n’emirimu mu ofiisi ya Ssaabaminisita wa Uganda.[1] Mu Gwekkumi 2013, Pulezidenti wa Uganda yamusimbawo era Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’Amawanga Amagatte n’awagira General Oketta okwegatta ku kibiina ekiwabula ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) Central Emergency Response Fund (CERF).[2] Mu 2004, ku ddaala lya Brigadier, yali mmemba w'ekibiina ky'abaasooka okugenda mu ttendekero lya Uganda Senior Command and Staff College, e Kimaka, Jinja, mu Buvanjuba bwa Uganda, wansi w'omuduumizi waalyo eyasooka, Lieutenant General Ivan Koreta. Oketta yafa mu matumbi g'obudde nga 5 Ogwekkuminoogumu 2016.[3]
Ebyafaayo by’emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Yeegatta ku magye mu 1979 amangu ddala nga Pulezidenti Idi Amin amaze okuwambibwa. Yali muserikale wa UNLA nga tannegatta ku NRA mu 1985. Okuva mu 1989 okutuuka mu 1993, ye yali omuduumizi wa divizoni y’eggye ery’omukaaga erya National Resistance Army (NRA). Okuva mu 2001 okutuuka mu 2003, yali akulira eby’okutambuza ebintu n'ebyobwa yinginiya mu UPDF. Mu 2003, yaliko omukwanaganya wa Uganda, mu Republic of Sudan . Oluvannyuma lw’ekyo, yaliko akulira ekitongole ekigula n’okutunda ebintu mu minisitule y’ebyokwerinda mu Uganda mu mwaka gwa 2004. Okuva mu 2007 okutuusa lwe yafa mu 2016, yali dayirekita w’ekitongole ekikwasaganya emirimu egy’amangu mu ggwanga, mu ofiisi ya Ssaabaminisita.[4] Mu 2013 yeegatta ku kibiina ky’amawanga amagatte ekya CERF -Advisory Group. Yalondeddwa ku kakiiko akawabula CERF. Bammemba b’ekibiina ekiwabula beekiikirira so si nsi yaabwe. Abalala abaali mu kibiina kino kuliko Susan Eckey owa Norway, Susanna Moorehead okuva e Bungereza, Yukie Osa okuva e Japan ne Nancy Butijer Omucroatia.[5]
Obuvunaanyizibwa obulala
[kyusa | kolera mu edit source]Era yaliko Omubaka wa Palamenti, ng’akiikirira eggye lya UPDF mu paalamenti ey’omwenda (okuva 2011 okutuuka 2016).[3] Mu palamenti, yali mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku bukiiko, Ebitongole ebifuga Amateeka n’Ebitongole bya Gavumenti. Mu Gwomwenda 2014, Major General Oketta yasunsulwa okwegatta ku mulimu gw’okuyamba abantu ogwakulemberwa Omukago gwa Afrika okukola ku bulabe bw’akawuka ka Ebola eri ssemazinga ono. Omulimu guno ogwatuumiddwa erinnya lya Africa Union Support to Ebola Outbreak in West Africa (ASEOWA), gusangibwa mu Ethiopia. Oketta yakwasibwa omudaali ogw’ekitiibwa omukulembeze w’eggwanga lya Liberia olw’okufuba kwe mu kulwanyisa Ebola.[6]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Kivabulaya, Fredrick (10 November 2012). "Kibaale Flood Victims Complain As Government Relief Aid Delays". Uganda Radio Network. Retrieved 3 September 2014.
- ↑ Sekanjako, Henry (2 October 2013). "Major General Oketta for UN Advisory Job". Retrieved 3 September 2014.
- 1 2 Kafeero, Stephen (5 November 2016). "Maj Gen Julius Oketta dies at 60". Retrieved 5 November 2016.
- ↑ "Oketta Julius Facki, UPDF Representative". Parliament of Uganda (Kampala). 2011. Retrieved 3 September 2014.
- ↑ "UN Secretary-General appoints new CERF Advisory Group Members - World | ReliefWeb". reliefweb.int (in Lungereza). Retrieved 2022-09-18.
- ↑ Arinaitwe, Solomon (3 September 2014). "General Oketta for African Union Anti-Ebola Operation". Daily Monitor Mobile. Retrieved 3 September 2014.
Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Uganda Esindika omukugu ku Ebola mu Bugwanjuba bwa Afirika Archived 5 November 2023 at the Wayback Machine