Jump to content

Julius Poloto

Bisangiddwa ku Wikipedia
Julius Poloto
Omuzannyi w'omupiira omunnayuganda Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Country for sportUganda Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga29 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 2002 Kyusa Wikidata
Olunaku lwe yafa9 Gwamwenda(Mutunda) 1999 Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimuomusambi w′omupiira Kyusa Wikidata
Ekifo ky'a­zan­nya/ obumanyimidfielder Kyusa Wikidata
Azannyira mu KiraabuKampala Capital City Authority FC Kyusa Wikidata
Omuzannyoomupiira ogw'ebigere Kyusa Wikidata
Yeetabye muUganda Premier League Kyusa Wikidata

 

Julius Poloto (yazaalibwa nga 9 Ogwomwenda 1999)[1] Munnayuganda omuzannyi w'omupiira azannya mu makkati mu Kampala Capital City Authority FC, emanyiddwa ennyo nga KCCA FC, mu liigi ya Uganda Premier. Poloto yaliko kapiteeni wa ttiimu z’eggwanga zombi eza Uganda ez'abali wansi w'emyaka 17 ne 20.[2] Yakola ng’omumyuka wa kapiteeni era kapiteeni wa kiraabu mu KCCA FC mu sizoni ya 2023/24 ng’adda mu bigere bya Benjamin Ochan eyali kapiteeni wa kiraabu okumala sizoni bbiri.[3]

Julius Poloto yava ku katebe n’ateeba ggoolo eyasalawo nga KCCA ewangula Gaddafi ggoolo 1-0 mu Gwokuna 2023, n’ekuuma emipiira gy’omutendesi Jackson Mayanja egya liigi nga takubiddwa.[4]

Obuto bwe n’okuzannyira kiraabu

[kyusa | kolera mu edit source]

Julius Poloto yatandika okusoma Siniya ku Kasawo Secondary School, oluvannyuma ne yeegatta ku Amus College School, gye yazannyira mu mpaka z’eggwanga eza 2015.[5] Oluvannyuma yasomera ku Kibuli Secondary School, gye yava ne yeegatta ku KCCA Football Academy. Yafuna okulinnyisibwa mu ttiimu y’abakulu mu 2017[6] wansi w'omutendesi Mike Mutebi ng’ali wamu n’abazannyi nga Allan Okello ne Peter Magambo.[7] Poloto era alina akakwatene Bukedi College mu mpaka z’abavubuka.

Okuzannyira ku ddaala ly'ensi yonna

[kyusa | kolera mu edit source]

Poloto yali kapiteeni wa ttiimu ya Uganda ey'abali wansi w'emyaka 20 mu mpaka za CAF U-20 eza 2018,[8] n'ateeba ggoolo nga bazannya South Sudan ne Cameroon.[9] Mu 2014, yazannya mu ttiimu ya Uganda eya U-17, n'ateeba mu mupiira gwe bawangula Rwanda ggoolo 4-0.[10] Mu 2018, yali omu ku baayitibwa ku ttiimu ya Uganda Cranes ey'okwetegekera okwetaba mu mpaka za AFCON wadde yali tanazannya ku ttiimu enkulu.[11]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ "Julius POLOTO – KCCA FC" (in American English). 1999-09-08. Retrieved 2025-07-21.
  2. ↑ "Poloto Named U-20 National Team Captain – KCCA FC" (in American English). 2018-03-27. Archived from the original on 2018-08-13. Retrieved 2025-07-21.
  3. ↑ "KCCA FC confirms team captains". Swift Sports Uganda (in American English). 2023-08-04. Retrieved 2025-07-21.
  4. ↑ "UPL: Poloto strikes KCCA past Gaddafi". MTN Sports (in American English). 2023-04-29. Retrieved 2025-07-21.
  5. ↑ Isabirye, David (2018-03-29). "Uganda U-20 captain Poloto vows to deliver service above self". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2025-07-21.
  6. ↑ Muyita, Joel (2019-12-04). "Poloto returns as KCCA brush aside Proline". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2025-07-21.
  7. ↑ "Mubiru bemoans Poloto injuries". Monitor (in Lungereza). 2024-10-26. Retrieved 2025-07-21.
  8. ↑ Isabirye, David (2018-03-29). "Uganda U-20 captain Poloto vows to deliver service above self". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2025-07-21.
  9. ↑ "10-man Uganda Hippos Humble South Sudan 5–1 :". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2025-07-21.
  10. ↑ Marsha, Ahmed (2014-07-19). "CAF 2015 Under 17 QUALIFIER: Uganda humiliates Rwanda 4 – 0 (1st leg)". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). Retrieved 2025-07-21.
  11. ↑ Muyita, Joel (2018-09-26). "Okello,Poloto Named In Cranes Provisional Squad For Lesotho Double Header". ChimpReports (in American English). Retrieved 2025-07-21.