Julius Wandera Maganda
Julius Wandera Maganda, era Julius Maganda yazaalibwa 13 Ogwomunaana 1971,Munnayuganda, munnabyabufuzi. Yaliko Minisita omubeezi ow'ensonga z'obuvanjuba bwa Afrika mu kabineeti ya Uganda . Yalondebwa mu kifo ekyo nga 6 Ogwomukaaga 2016, n’aweerezayo okutuusa mu Gwokutaano 2021. [1]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Wandera yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Busia mu kitundu ky’Ebuvanjuba bwa Uganda, nga 13 Ogwomunaana 1971. Yasomera mu Bulekei Primary School mu pulayimale. Oluvannyuma yasomera mu Masaba College Busia okusoma mu O-Level . Oluvannyuma yamaliriza emisomo gye egya A-Level ku ssomero lya Mbale High School, e Mbale, mu Disitulikiti y’e Mbale . [2]
Alina diguli ya Bachelor of Public Administration okuva mu Islamic University mu Uganda, eyamuweebwa mu 2007, ne satifikeeti mu by’amateeka, okuva mu Law Development Center, gye yafuna mu 2009. Dipuloma ye ey’okubiri mu by’okuddukanya emirimu yamuweebwa ettendekero lya Uganda Management Institute mu 2014. [3]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Nga tannegatta ku byo'bufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu 2000 okutuuka mu 2004, Wandera yali maneja w’ettabi lya DHL Global . Okumala emyaka etaano okuva mu 2004 okutuuka mu 2009, yakola nga maneja w’ekitundu mu kibiina ekiyitibwa P80 Nedloyd . Okuva mu 2010, aweereza nga Country Director wa Goomag Logistics . [2]
Emirimu gye egy'ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2011, Wandera yegatta ku kisaawe ky'eby'obufuzi eby'okulonda bwe yavuganya ku bw'omubaka mu paalamenti akiikirira Konsityuwensi ya Samia Bugwe ey'Obukiikaddyo nga yesimbyewo nga talina kibiina. Yaddamu okulondebwa mu 2016 ng'omubaka wa Paalamenti mu Paalamenti ey’ekkumi okuva mu 2016 okutuuka 2021 ku tikiti y’ekibiina ky’ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement . [2] Yalondebwa nga Minisita omubeezi ow’ensonga z’omukago gwa East Africa mu mwaka gwe gumu. [1]
Ebirala ebikulu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kifo kye nga Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku mukago gwa East African Community, alina ebisaanyizo okuweereza nga mmemba w’olukiiko olufuzi olwa East African . Yalayizibwa mu bujjuvu nga 31 Ogwomunaana 2016. [3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 https://web.archive.org/web/20161007121926/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%27s+cabinet.pdf Cite error: Invalid
<ref>tag; name "One" defined multiple times with different content - 1 2 3 http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=72 Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Two" defined multiple times with different content - 1 2 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1434172/minister-maganda-sworn-eala-officio Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Three" defined multiple times with different content