Juma A. Oris
Juma Abdalla Oris[1] yafa mu Gwokusatu mu 2001 nga yali muserikale wa Uganda era minisita wa gavumenti mu kiseera ky'obwannakyemalira bwa Idi Amin . Oluvannyuma lw’okudduka mu nsi ye mu lutalo wakati wa Uganda ne Tanzania, yafuuka omukulembezze w’ekibiina kya West Nile Bank Front (WNBF), ekibiina ky'abayeekera ekyakolera ng'ennyo mu kitundu kya West Nile mu Uganda mu myaka gya 1990.
Ebikwata ku bulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Juma Abdalla Oris yazaalibwa mu bukiika ddyo bwa Uganda,[1] [2] oba Nimule mu bukiika kkono bwa Sudan.Yali Musiraamu [2][3] era, mu ggwanga, yali Mumadi [2]era oba Omunubian . [1] Oris yafuna obuyigirize butono, [4] era okukakana nga yeegatta ku magye ga Uganda, n'afuuka colonel mu bitiibwa eby'awagulu ku ntandikwa y'emyaka gya 1970.[3]
Oluvanyuma lw'okuwamba gavumenti mu Uganda mu 1971, yafuukaa omu ku bantu abakulembera mu gavumenti ya Idi Amin. Yasooka kubeera Minisita w'ensonga z'ebweru w'eggwanga, ng'era yalondebwa okubeera minisita w'ensonga z'ebweru w'eggwanga omujjuvu nga 25 Ogwokutaano mu 1975.[3] Yasigala mu kifo ekyo okutuusa mu 1978,[5] ate nga bw'awereza nga Minisita w'amawulire n'okuweereza ku mpewo.[4] Oluvanyuma lw'okutwala Minisitule y'eby'amawulire, ebiragiro ebipya n'obukwakulizo byaweebwa abakola amawulire mu Uganda. Empapula z’amawulire zonna zaali zirina okukuba ebigambo bya Amin mu bujjuvu, ate omukutu gwa Radio Uganda ne Uganda Television by'alina okubitambuza mu bujjuvu. Okwongereza ku bino, zino zombi zaalina ng'okugulawo wamu n'okugalawo buli kyebawereza nga bakikulembezza na saala ya ggwanga. Oris era yanenya nnyo empapula z’amawulire ga Uganda bbiri ez’obwannannyini, Munno ne Taifa, olw'okufulumya amawulire ag’obuliimba ku Amin kubanga zaali tezikuba mboozi ze zimu nga gavumenti buli lunaku, omukutu gwa Voice of Uganda.[6] Yatwalibwanga ng'omugoberezi w'omumyuka wa Pulezidenti Mustafa Adrisi.[7] Oris yagobwa mu kifo ky'okubeera minisita w'ensonga z'ebweru w'eggwanga nga kwotadde ne Amin okumugya mu bifo bye byonna eby'okubeera minista atalina bifo byankalakalira mu 1978,[8] oba oli awo ng'ekimu ku bitundu by'okulongoosa ebyobufuzi oluvannyuma lwa Adrisi okugyibwa mu buyinza.[9] Mu butongole, Amin yagamba nti Oris yagobwa kubanga ekifaananyi kya Uganda ebweru w’eggwanga kyali kiddukanyizibwa bubi era nga n’abakungu ba Uganda tebasasulwa bulungi o mu kiseera kye.[10]
Oluvannyuma mu kaseera akatono ku nkomerero ya 1978, amagye ga Uganda gaalumba omuliraano gwa Tanzania mu mbeera ezitategeerekeka bulungi, ekyavaako olutalo wakati wa Uganda ne Tanzania. Tanzania yaddamu n'okulumba, era gavumenti ya Amin n'etandika okugwa. Oris y’omu ku baserikale ba Uganda abatono abaasigala nga beesigwa mu biseera ebisinga obungi eby’olutalo. [11] Mu 1979, yali alondeddwa okubeera Minisita avunaanyizibwa ku biva mu bisolo[7] ne Minisita w’ettaka. [11] Nga 4 Ogwokuna mu 1979, Amin yategeka akakiiko akateekateeka olutalo nga k’abantu bana nga kalimu abagoberezi bbe beyali asinga okwesiga, nga ne Oris mw’ali. Mu kiseera kino amagye ga Uganda agasinga gaali gasasika. [11] Oluvannyuma lw'okugwa kwa Kampala, Oris yadduka n'ente 3,000 n'agenda mu buwanganguse e Sudan.[7] [12] Yalina enkolagana ennungi n’ebitongole by’eby'okwerinda ebya Sudan mu kiseera kino, era n’atuuka n’okwegatta ku magye ga Sudan ng’omuserikale ow’okupangisa mu kiseera ekimu.[13] Yayingiza abantu ba West Nile mu kibinja kya Sudan ekyalwana mu lutalo lwa Iran ne Iraq ku lwa Iraq.[4] Ng’akozesa enkolagana zino, Oris yayambako okutegeka omukago gw’ebibinja by’abaali amagye ga Uganda mu nkambi z’ababundabunda mu Sudan. Abayeekera bano baatandikawo obuyeekera mu 1980, ne batandika mu Uganda olwali munsiko.[4] Orise yafuuka omu ku bamemba b'ekibiina ky'amaggye ekyali kiyitibwa Former Uganda National Army (FUNA)[14][15] nga kwekuli n'ekya Uganda National Rescue Front (UNRF), nga byombi byalwana mu lutalo lw'ensiko.[4][16] Kunkomerero y'emyaka gya 1980 n'okutandika kw'emyaka gya 1990 Joseph Kony, omukulembezze w'ekibiina ky'abayeekera ekimanyiddwa nga Lord's Resistance Army yagamba nti yalimu omwoyo gwa Juma Oris. Kirabika yali tamanyi nti mu kiseera ekyo Oris yali akyali mulamu —ekintu kye yazuula abasajja bano bombi bwe baatuuka n’okusisinkana mu buntu.[17]
Oris yatandikawo eggye lye ery'abayeekera,[17] eryayitibwa " West Nile Bank Front " (WNBF), mu 1994. Wadde nga yatandikibwawo mu Zaire n'omukisa gwa Mobutu Sese Seko,[18] ekibiina kino kyasinga kuwagirwa gavumenti ya Sudan,[7][19] nga gavumenti ya Mobutu yali emaze okusebengerera mu kiseera kino.[19] WNBF yalwanirira okwekutula ku kitundu ekitono ekya West Nile [16][20] oba okudizibwaawo kwa Idi Amin nga Pulezidenti wa Uganda.[15]Oris yasobola okufuna obuwagizi mu bukiika ddyo bwa Uganda ng’akozesa okusika omuguwa kw’amawanga n’obutaba na mikisa gya nkulaakulana mu kitundu, n’awa abayinza okwegata ku WNBF ssente mungeri y'okuwanyisiganya.[21] Ng'ategeka olutalo ku gavumenti ya Uganda, Oris yatyoboola eddembe ly’obuntu ng’asimba bbomu z’oku ttaka mu kugezaako okuteega. [22] Yalwana n'abagoberezi bbe mu lutalo lw'omunda mu Sudan olw'okubiri ku ludda lwa gavumenti ya Sudan. Mu Gwokusatu 1997, WNBF n’ebanywanyi bbe baawangulwa mungeri ey'amaanyi abayeekera ba South Sudan aba SPLA bwe baawamba enkambi zaabwe mu Zaire ne Sudan, oluvannyuma ne bateega amagye gaabwe agaali gadda emabega okulinaana Yei mu kiseera ky’ekikwekweto kya Operation Thunderbolt . Oris yafuna ebisago eby’amaanyi mu lutalo luno, era WNBF kumpi yasaanawo ddala.[23][24] Abalwanyi ba WNBF abasinga obungi, omuli n'omumyuka w'omuduumizi Abdulatif Tiyua, battibwa oba ne bakwatibwa. [21] [25] Oluvannyuma Oris n'abasigalira b'abajaasi bbe nebaddukira e Juba.[26] Okuva olwo, WNBF ''mu bukulu yasaasaanyizibwa" ng'amagye ag'okulwana.[15]
Olw’okuba Oris yafuna obulwadde bw'okusanyalala ku nkomerero ya 1999, yaweebwa ekitanda okuva olwo n'okweyongerayo. Embeera ye yeeyongera okubeera embi ku ntandikwa ya 2001, era n’afiira mu maka ge e Juba oba Khartoum mu Gwokusatu mu 2001. Kino kyasambajja amawulire agaasooka okusinziira ku byali bigambibwa nti yali atiddwa mu lutalo n’amagye ga Uganda Peoples’ Defence Forces. Oris yaziikiddwa e Sudan. [27] [28]
Ebiwandiiko
[kyusa | kolera mu edit source].mw-parser-output .reflist{margin-bottom:0.5em;list-style-type:decimal}@media screen{.mw-parser-output .reflist{font-size:90%}}.mw-parser-output .reflist .references{font-size:100%;margin-bottom:0;list-style-type:inherit}.mw-parser-output .reflist-columns-2{column-width:30em}.mw-parser-output .reflist-columns-3{column-width:25em}.mw-parser-output .reflist-columns{margin-top:0.3em}.mw-parser-output .reflist-columns ol{margin-top:0}.mw-parser-output .reflist-columns li{page-break-inside:avoid;break-inside:avoid-column}.mw-parser-output .reflist-upper-alpha{list-style-type:upper-alpha}.mw-parser-output .reflist-upper-roman{list-style-type:upper-roman}.mw-parser-output .reflist-lower-alpha{list-style-type:lower-alpha}.mw-parser-output .reflist-lower-greek{list-style-type:lower-greek}.mw-parser-output .reflist-lower-roman{list-style-type:lower-roman}
Ebijulizidwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 John Daimon (6 April 1979). "Libyan Troops Supporting Amin Said to Flee Kampala, Leaving It Defenseless". The New York Times. p. 9. Retrieved 21 December 2019.
- 1 2 3 https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- 1 2 3 John Daimon (6 April 1979). "Libyan Troops Supporting Amin Said to Flee Kampala, Leaving It Defenseless". The New York Times. p. 9. Retrieved 21 December 2019.
- 1 2 3 4 5 "Uganda: The Immediate Consequences of a Successful Effort to Topple President Amin". United States Central Intelligence Agency. 16 June 1977. Retrieved 19 April 2019.
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfnp
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- 1 2 3 4 https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- 1 2 3 John Daimon (6 April 1979). "Libyan Troops Supporting Amin Said to Flee Kampala, Leaving It Defenseless". The New York Times. p. 9. Retrieved 21 December 2019.
- ↑ Wren, Christopher S. (13 June 1979). "Ugandan Refugees Finding A Haven in Southern Sudan". The New York Times. p. 2. Retrieved 21 December 2019.
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfnp
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfnp
- 1 2 3 https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfnp
- 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfnp
- 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfnp
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfnp
- 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfnp
- ↑ "KAMPALA-POLITICS: Amin Stays Put In Jeddaha". Inter Press Service. 12 November 1995. Retrieved 14 October 2018.
- 1 2 Robert Elema (3 March 2018). "Government agrees to pay veterans". West Nile Web. Archived from the original on 28 April 2019. Retrieved 28 April 2019.
- ↑ SUDAN
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfnp
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfnp
- ↑ Faustin Mugabe (14 May 2016). "I was condemned for being 'Amin's' soldier". Daily Monitor. Retrieved 28 April 2019.
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfnp
- ↑ Abbey, Yunusu (11 March 2001). "Juma Oris Is Dead Buried In Sudan". New Vision. Retrieved 29 April 2019.
- ↑ "2005-07 UK Home OGN Uganda" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2011-07-16.