Jump to content

Juma Kisaame

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Juma Kisaame Munnayuganda mubalirizi w’ebitabo, musuubuzi, era eyaliko omukungu wa bbanka. Mu kiseera kino ye ssentebe w'ekitongole kya Uganda ekiwooza ky'omusolo (ki Uganda Revenue Authority) okuva mu Mwezi ogwokusatu 2020. N'era aweereza nga ssentebe w'ekitongole kya Uganda ekivunanyizibwa ku busizi bw'ensimbi ne bamusigansimbi ki (Uganda Investment Authority)[1]

Yeeyakava kubwa ssenkulu addukanya emirimu eggya buli lunnaku era omukungu ow'okuntikko owa bbanka ya DFCU, bbanka y’ebyobusuubuzi ekwata ekyokuna mu ggwanga mu by’obugagga. [2]

Obuvo bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Juma Kisaame yazaalibwa mu Uganda awo nga mu mwaka gwa 1965. Yasomera ku yunivasite y' e Makerere yunivasite ya ya gavumenti esinga obukadde era esinga obunene mu Uganda, naatikkirwa ddiguli esooka ey'ebyobusuubuzi mu 1988.


Oluvannyuma lw’emisomo gye e Makerere, Kisaame yeegatta ku bbanka ya Uganda Development Bank mu 1988, nga omubazi w'ebitabo atendekebwa . Yakolera eyo okutuusa mu 1992, naayita mu mitendera okutuuka ku kifo ky'omubalirizi w'ebitabo omukulu. Yeegatta ku DFCU mu 1992 ng’akulira eby'ensimbi. Yakola mu bifo eby'enjawulo mu bbanka okutuusa mu 2004. Omwaka ogwo, yavaayo n’agenda okwegatta ku bbanka ya Eurafrican Bank (EAB) ku muliraano e Tanzania nga ssenkulu agiddukanya. Eyatandikibwawo mu 1995, EAB yagulibwa Bank of Africa Tanzania mu 2007. [3] Mu 2007, Juma Kisaame yadda mu DFCU Bank nga ssenkulu agiddukanya, era n’aweereza mu kifo ekyo, okutuusa lwe yalekulira mu 2019. [4]

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

Okuva mu 2006, aweereza nga dayirekita ku lukiiko olufuzi olwa kkampuni ya Jubilee Holdings limited kkampuni eyazaala kkampuni ya yinsuwa eya Jubilee Insurance. [5] Okuva mu Mwezi ogusooka 2015 neera aweereza nga ssentebe w'ekitongole ekitwala okusiga ensimbi ne baamusigansimbi ki Uganda Investment Authority . [6] Mu Mwezi ogwokusatu 2020, yalondebwa nga ssentebe w’ekitongole ekiwooza ky'omusolo ekya Uganda Revenue Authority, ng’adda mu bigere bya Dr. Simon Kagugube eyafa mu Mwezi ogwokubiri 2020. [1]

Mu 2002, Kisaame yatandikawo ekibiina ki Uganda Leasing Association era n’aweereza nga Pulezidenti waakyo, okuva mu 2002 okutuuka mu 2006. [7]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Paul Ampurire (23 March 2020). "Former DFCU Bank MD, Juma Kisaame Is New Chair Of URA's Board". Kampala: SoftPower Uganda. Retrieved 8 April 2020.
  2. Nakaweesi, Dorothy (31 October 2018). "Dfcu appoints Katamba, announces Kisaame exit". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 8 December 2018.
  3. Bloomberg BusinessWeek Investing (2014). "Executive Profile of Juma Kisaame". New York City: Bloomberg BusinessWeek Investing. Retrieved 23 January 2015. {{cite web}}: |author= has generic name (help)
  4. "About Bank of Africa Tanzania". Bank of Africa Tanzania. 2015. Archived from the original on 23 January 2015. Retrieved 23 January 2015.
  5. Dorothy Nakaweesi (31 October 2018). "Dfcu appoints Katamba, announces Kisaame exit". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 9 April 2020.
  6. "The Directors & Officers of Jubilee Holdings Limited". Reuters Finance (RF). 2014. Retrieved 23 January 2015.
  7. Ladu, Ismail Musa (23 January 2015). "New UIA Board Chair Tasked To Complete Industrial Park". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 23 January 2015.
  8. Uganda Leasing Association (2015). "Uganda Leasing Association: Leadership of The Association". Uganda Leasing Association. Archived from the original on 23 January 2015. Retrieved 23 January 2015.
  1. 1 2 Paul Ampurire (23 March 2020). "Former DFCU Bank MD, Juma Kisaame Is New Chair Of URA's Board". SoftPower Uganda. Retrieved 8 April 2020.
  2. Nakaweesi, Dorothy (31 October 2018). "Dfcu appoints Katamba, announces Kisaame exit". Retrieved 8 December 2018.
  3. "About Bank of Africa Tanzania". Bank of Africa Tanzania. 2015. Archived from the original on 23 January 2015. Retrieved 23 January 2015.
  4. Dorothy Nakaweesi (31 October 2018). "Dfcu appoints Katamba, announces Kisaame exit". Retrieved 9 April 2020.
  5. "The Directors & Officers of Jubilee Holdings Limited". Reuters Finance (RF). 2014. Retrieved 23 January 2015.
  6. Ladu, Ismail Musa (23 January 2015). "New UIA Board Chair Tasked To Complete Industrial Park". Kampala. Retrieved 23 January 2015.
  7. Uganda Leasing Association (2015). "Uganda Leasing Association: Leadership of The Association". Uganda Leasing Association. Archived from the original on 23 January 2015. Retrieved 23 January 2015.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]