Juma Miyagi
Juma Miyagi, yazaalibwa nga 5 Ogwokuna mu 2003 muzannyi wa cricket mu Uganda. Yasooka kuzannyira ttiimu ya Uganda eya cricket ku mutendera gw'ensi yonna mu 2022 era azannyira ku mukono ogwa ddyo. [1]
Miyagi yakulira Naguru ku njegoyego za Kampala, mu kitundu ekibadde kyogerwako nga disitulikiti y'enzigota.[2] Yasooka kuzannya ttena nga tanafuka bwagazi bwa muzannyo gwa cricket.[3]
Miyagi yakiikirira ttiimu ya Uganda eya cricket ey’abali wansi w’emyaka 19 mu mpaka za 2022 eza Cricket World Cup eza bali wansi w'emyaka 19 mu ggwanga lya West Indies. [4] Yamalira ne wicket 13 mu mizannyo, egyali gisinga nga gikoleddwa Omunnayuganda era egisinga eri omuzannyi yenna mu mpaka zino, omuli 4/25 nga bazannya Scotland, 4/29 nga bazannya Papua New Guinea ne 3/33 nga bazannya South Africa.[5]
Mu 2022, Miyagi yaweebwa ab'ekibiina kya Uganda Cricket Association ekidukanya omuzannyo gwa cricket mu Uganda endagaano oluvannyuma lw'okutuuka kunzikiriziganya. Yazannya mu mpaka za Twenty20 International ezaali zisooka nga battunka ne Namibia mu Gwokuna 2022. [1]
Mu Gwokutaano 2024, Miyagi yatekebwa ku ttiimu ya Uganda eyali egenda mu mpaka za ICC Men's T20 World Cup eza 2024.[6][7]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Juma Miyagi". ESPN Cricinfo. Retrieved 8 June 2024. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Cricinfo" defined multiple times with different content - ↑ Sharma, Bharat (30 May 2024). "From slums of Kampala to T20 World Cup". Times of India. Retrieved 7 June 2024.
- ↑ "'Dream come true' as Uganda prepare for first cricket World Cup'". SuperSport. 28 May 2024. Retrieved 7 June 2024.
- ↑ Tabu, Peter (15 February 2023). "IPL is Juma's ultimate dream". Pulse Sports. Retrieved 8 June 2024.
- ↑ "Cricket Records in ICC Under-19 World Cup, 2021/22". ESPNcricinfo. Retrieved 8 June 2024.
- ↑ "Uganda's 15-Player Squad for ICC T20 World Cup 2024". ScoreWaves (in Lungereza). Retrieved 2024-06-12.
- ↑ "Uganda name squad for historic T20 World Cup appearance". International Cricket Council. 2024-05-06. Retrieved 2024-05-06.