Justice Forum
Justice Forum ekitera okuyitibwa JEEMA[1] kibiina kya byabufuzi mu Uganda. Ekibiina kino kyasooka kutandikibwawo nga kibiina ekyaali kiteekawo akazito mu 1995 wansi w'enkola y'ekibiina ekimu eya National Resistance Movement, kubanga ebibiina by'obufuzi ebirala byali tebikirizibwa okutuusa ng'akalulu ka semateeka aka 2005 kawedde. JEEMA ebadde yeetaba mu by'obufuzi bya Uganda eby'okulonda era ng'ereeta abeesimbawo ku mutendera gw'obwapulezidenti, palamenti n'obukiiko bw'ebitundu okuva mu 1996. Mu 1996 ne 2001, Kibirige Muhamad Mayanja, omukulembeze w'ekibiina kya JEEMA eyasooka, yavuganya ku bwa Pulezidenti bwa Uganda, era okuva olwo, ekibiina kino kyakiikirira mu lukiiko lwa Uganda olukulu. Mu kiseera kino, kye kimu ku bibiina ebitaano ebirina abakiise mu palamenti ey’ekumi ne gavumenti z’ebitundu. Olukungaana lwa JEEMA olwasooka olw'etabibwamu abakungu okuva mu ggwanga lyonna lwatuula nga 28 Ogwokusatu mu 2004 ku Kolping Hotel e Mityana, nga luno lwalaba semateeka w’ekibiina eyasooka okutandika okukola, era ekibiina kino kyawandiisibwa mu butongole nga 23 Ogwokusatu mu 2005 oluvannyuma lw’akalulu k’ekikungu akaddamu okusaawo enkola y’ebibiina ebingi mu Uganda.
Kibirige Muhamad Mayanja eyakulembera ekibiina kino okuva lwe kyatandikibwawo mu 1995, yalekera munnamateeka Asuman Basalirwa ow’emyaka 33 obuyinza mu 2010 mu lukungaana lw’abakungu olw’okubiri olwatuula ku Tal Cottages e Rubaga .
JEEMA essa nnyo esira ku ddembe ly’obantu n’obwenkanya, wamu n’enkola ya semateeka, era ekibiina kino kitera okusinga okwetanirwa Abasiraamu abatono mu ggwanga. [2]
Ekigendererwa
[kyusa | kolera mu edit source]JEEMA yeeyogerako nga "ekibiina ky'obwenkanya era n'okubeera obulungi kw'abantu," era kyagaana okweyita ekibiina ekiteeka ssente mu by'obusuubuzi okufuna amagoba, obusosoze oba n'enjawukana.
JEEMA ewagira empeereza z’obulamu ez’obwereere ng'eby'obulamu n’eby'enjigiriza eri banaansi bonna, okulungamya akatale, n’okwebuuza ku bantu aba wansi.
Ekibiina kiwagira okukyusa okudda ku kukukiikirira abantu mu kigero n’enkola ya Westminster ku mutendera gw’eggwanga, nga kigamba nti Uganda tefunangako kulonda kutaataataganyiziddwa bibiina birala era nti enkola y’okulonda okusooka okuyita mu kifo etumbuula okusa esira kunzikiriza z’omuntu sekinoomu okusinga ez’abalonzi bbe, ekigambibwa nti kye kivaako obuli bw’enguzi.
Ekibiina kino kiwagira okufuula obuli bw'ebisiyaga omusango[2]. Omubaka yekka ow'ekibiina kino eyaleeta ebago mu Gw'okusatu 2023, nga ligamba okubonereza okw'emyaka 10 ng'oli mu komera olw'okulya ebisiyaga. [3]
Ebiwandiiko
[kyusa | kolera mu edit source].mw-parser-output .reflist{margin-bottom:0.5em;list-style-type:decimal}@media screen{.mw-parser-output .reflist{font-size:90%}}.mw-parser-output .reflist .references{font-size:100%;margin-bottom:0;list-style-type:inherit}.mw-parser-output .reflist-columns-2{column-width:30em}.mw-parser-output .reflist-columns-3{column-width:25em}.mw-parser-output .reflist-columns{margin-top:0.3em}.mw-parser-output .reflist-columns ol{margin-top:0}.mw-parser-output .reflist-columns li{page-break-inside:avoid;break-inside:avoid-column}.mw-parser-output .reflist-upper-alpha{list-style-type:upper-alpha}.mw-parser-output .reflist-upper-roman{list-style-type:upper-roman}.mw-parser-output .reflist-lower-alpha{list-style-type:lower-alpha}.mw-parser-output .reflist-lower-greek{list-style-type:lower-greek}.mw-parser-output .reflist-lower-roman{list-style-type:lower-roman}
Ebijulizidwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Efn
- 1 2 Simba, S. K. (2015). "Same Same but Different: Parties, Politics and Ideology in Uganda". Makerere University College of Humanities and Social Sciences. p. 25. Archived from the original (PDF) on 9 August 2020. Retrieved 27 April 2020.
- ↑ "MPs return death penalty for gays". Monitor. March 22, 2023.