Jump to content

Justine Nameere

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Justine Nameere (yazaalibwa 17 Ogwokuna 1989) Munnayuganda, mukozi wa TV, munnamateeka, era munnabyabufuzi nga ye mubaka wa Paalamenti omukyala akiikirira ekibuga Masaka mu Paalamenti ey'ekkuminebiri.

Obuto bwe n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Nameere ava Masaka, muwala wa Vincent Ssempijja, nga yazaalibwa 17, Ogwokuna 1989. Maama we yafa ng’alina emyaka 12.

Emisomo gye egya Pulayimale yagimalira mu Namugongo Boarding n'agenda mu maaso ne yeyongerayo mu King's College Budo, gye yali mmemba mu kilaabu y'abannakatemba eya Drama club ne school band. Yatikkirwa n’ebitiibwa eby’eddaala erisooka mu dipulooma mu mateeka okuva mu Law Development Center . Alina satifikeeti mu by'obusuubuzi oba Business Administration okuva mu Makerere University Business School, satifikeeti mu by'okubudaabuda n'okulungamya okuva mu Kampala International University, era yakola ne diguli mu mateeka okuva mu Ssettendekero wa Makerere

Nameere omulimu gw’amawulire yagutandikira ku NTV Uganda, ng’ategeka pulogulaamu ya Life Stories, eyasooka okulagibwa nga 26,Ogwokusatu 2012. Pulogulaamu eno, eyalimu emboozi ez'akafubo n’abantu ssekinnoomu nga bagabana ebintu eby’enjawulo n’ebyo bye bayitamu, era yawangula awaadi ya pulogulaamu ya Telefayina ey'omwaka 2012 mu mpaka za Edutainment Africa Awards eza 2012. [1] Oluvannyuma yegatta ku Urban TV, gye yakolera pulogulaamu ya Life and People ku Sunday akawungeezi. Nga tewannayita mwaka, Nameere yakyuka n’agenda ku Bukedde TV, omukutu gw’olulimi Oluganda, nga yali muweereza wa pulogulaamu ya Minibuzz ne Dickson Zzizinga okumala emyezi nga esatu, n’alekulira kubanga yali lubuto ate ng’obulamu bwe tebwali mu mbeera nnungi. [2] Mu 2018, yeegatta ku Salt TV ng’omuweereza wa pulogulaamu y'Omunnyo Ku Makya kyokka n’ayimirizibwa mu mwezi gumu olw’ebigambibwa nti yali anyomoola bakama be.

Yatandikawo ekibiina ky’obwannakyewa mu 2012, ekiyitibwa Voice of the Pearl Foundation, ekyalabirira abantu abalina obuzibu obw’amaanyi mu by’obulamu, yakolako nga omuwandiisi wa kkooti mu kkooti y'e Lukaya esookerwako mu Masaka-2011. Yali muweereza wa leediyo ya Best FM e Masaka, ng’aweereza pulogulaamu y’abavubuka ku bulamu obulungi mu 2009.

Yayingira eby'obufuzi mu 2015, ne yeetaba mu kalulu ka k'ebiina kya National Resistance Movement (NRM) n’awangula ekifo ky'omumyuka wa Ssentebe wa NRM Youth League mu Disitulikiti y’e Kalungu. Yalangirira nti agenda kwesimbawo ku bw'omubaka wa Paalamenti omuvubuka owa Central Region okumala ekisanja kya 2016–2021 kyokka n’ava mu lwokaano olw’ensonga ezitannamanyika. Oluvannyuma yavuganya ku kifo ky’omubaka wa Paalamenti akiikirira Konsityuwensi ya Bukoto ey'Obuvanjuba kyokka n’awangulwa Florence Namayanja . [3]

Mu kulonda kwa bonna okwa 2026, yalangirirwa ng’omubaka omukyala ow'ekibuga Masaka oluvannyuma lw’okuddamu okubala obululu okwali kuliko enkaayana nga kwakubirizibwa omulamuzi omukulu Abert Asiimwe, ekyasazaamu ebyali birangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda akaali kalangiridde Rose Nalubowa ng’omuwanguzi. [4] [5]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Nameere aluŋŋamizibwa Rebecca Kadaga ne Christine Amanpour owa CNN . Ayagala nnyofirimu ekika kya documentaries n’endaga za ttivvi ez’ebirowoozo.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/at-just-23-she-is-changing-lives-1536812
  2. ↑ https://www.sqoop.co.ug/201711/four-one-one/red-pepper-editors-deserve-rot-nalufenya-justine-nameere.html
  3. ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/nameere-challenges-nalubowa-s-victory-in-masaka-city-woman-mp-seat-5342184
  4. ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/complaints-over-masaka-city-woman-mp-vote-recount-5345440
  5. ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/masaka-woman-mp-vote-recount-unearths-gross-mismatch-in-numbers-5344828

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]