KAKUBANSIRI
Endabika
Kamera kampi ddala mundabika era kaagala okwefaanyirizaako kamunye. Kalina obukoola butono nnyo kumpi nga kamuye. Kawunya nnyo ng’okakunyidde mu ngalo oba ng’okakuteko. ENDWADDE/ENKOZESA Olubuto oluluma: Fumba mu mazzi, nnywa Empiiyi: Fumba mu mazzi, nnywa Omusujja: Fumba nnywa oba yenga, onaabe.