Kabarega w'e Bunyoro
Chwa II Kabalega yazaalibwa nga 18 Ogwomukaaga mu 1853, n'afa nga 6 Ogwokuna mu 1923, nga yali Mukama w'e Bunyoro mu Uganda okuva mu 1870 okutuuka mu 1899.
Ebimukwata
[kyusa | kolera mu edit source]
Mu 1869, Omukama Kamurasi Kyebambe IV yafa era babiri ku beesiimbu abaalina ebisaanyizo by'okumudira mu bigere kwalieo, Kabalega ne Kabigumire baali tebakiriziganya ku ani yalina okumudira mu bigere. Kino kyavaako olutalo olw’okusikira olwaali olw’amaanyi mu Bw'omukama bw'e Kitara. Bulijjo, entalo zino ez'okulwanira alina okusikira entebe zitera kubeera nnyimpi era nga zisalawo okutuusa omu agirwanira okufa newaberawo asigala nga mulamu.[1] Wabula, obutabanguko nga buno, bwagenda nga mumaaso, nezitaataganya ebitundu nekivirako enjala, etemu n’ebizibu by’ababundabunda.[1] Mu mungeri eno, abakulu b'ebika ne muganda w'Omukama eyali afudde, Omulangira Nyailka, baali bakooye entalo za Kabaleega ne Kabigumire ezaali ezaabuli kadde era nebalagira Kabalega eyalina omukisa omunene okukiikirira amateeka ga Bunyoro agasalawo ani alina okudda mu ntebe n'okusalawo olutalo werwali terulina kusuka mu bitundu n'okukomekereza olutalo, Kabalega webaamutikira ng'omukama, yatandika okulakulanya Obw'omukama bwe ng'ayitira mu by'obusuubuzi nadala mu Kibiro Saltworks. [2] Nga 1 Ogwoluberyeberye 1894, Abangereza baalangirira olutalo ku Bunyoro. Ku ntikko y’olulumba lwa Bungereza ku bw'Omukama bwe, Kabalega yagenda neyeekweeka mu Acholi wansi w'obukuumi bw'Omutaka Awich Abok ow’e Payira. Okuva olwo kweyasinziira okukulembera obujeemu bw’Abanyangire obwalaga nti bubeera erigwa ku ludda lw’abafuzi b’amatwale Abangereza.
Omukululo
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1972, Pulezidenti Idi Amin yakyusa erinnya lya kiyiira ekimannyikiddwa Murchison Falls, esinganibwa munda ewakuumibwa ebisolo mu Murchison Falls National Park, n'agiyita Kabalega Falls ng’asinziira ku Omukama.
Nga 8 Ogwomukaaga mu 2009, Kabalega yalangirirwa Pulezidenti Museveni ng’omuzira w’eggwanga lya Uganda . [3]
Mu 2010, [4] ekibiina ekali kimannyikiddwa nga Most Honourable Order of Omukama Chwa II Kabalega kyatandikibwawo Omukama w’e Bunyoro-Kitara mungerii y'okujukira Kabalega[5]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Sfn
- ↑ Template:Cite EB1911, Encyclopædia Britannica Eleventh Edition
- ↑ Royal Order "The Most Honourable Order of Omukama Chwa II. Kabalega".
- ↑ Royal Order "The Most Honourable Order of Omukama Chwa II. Kabalega".
- ↑ "About Titles of Ugandan Traditional Rulers, Royalty, Chiefs, Nobility and Chivalry". Archived from the original on 4 June 2016. Retrieved 19 September 2016.
{{cite web}}: CS1 maint: unfit URL (link)
Ensengeka y’ebitabo
[kyusa | kolera mu edit source]- Otunnu, Ogenga (2016). Crisis of Legitimacy and Political Violence in Uganda, 1890 to 1979. Cham, Switzerland: Springer. p. 369. ISBN 9783319331560.
Ebisingawo mu bisomebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- A. R Dunbar, Omukama Chwa II Kabarega, Ekitongole ky’ebiwandiiko mu buvanjuba bwa Afrika, 1965.