Jump to content

Kahaye II

Bisangiddwa ku Wikipedia

Edward Suleiman Kahaya II yafuuka Omugabe wa Nkore mu 1895, bwe yali awo mu myaka nga kkumi na munaana. Omugabe kye kitiibwa ekyakozesebwanga ku mukulembeze ow'enonno owa Nkore. Mu 1901, Obugabe bwa Nkore bwayingizibwa mu nsi Uganda ekuumibwa Bungereza, era okuva kwolwo bwali ku Bugabe bwa Ankole, nga bukosa ekitundu ekyali kikubisaamu obunene emirundi ebiri obugabe nga bwe bwasooka.

Omugabe yayingizibwa mu nkola y’obufuzi bw'amatwale obwa Ankole. Kahaya yali takyalina makulu era yali akimanyi. Olw’okuba obugabe bwe bwagaziyizibwa nnyo Abangereza, bannansi baabwo abasukka mu kitundu baali tebabangako wansi w’obufuzi bw’Omugabe. Yawangaalira mu bulamu obw’ekikangabwa, mweyabeera nga takyennyigira nnyo mu nsonga z’obugabe bwe. Abangereza baamuyisa ng’omwana omuto, era mu myaka egitawera makumi matono yassibwa amaddaala nava ku kubeera omufuzi owe'kitiibwa n’afuuka kkalaani /omuwandiisi addukanya emirimu. Kayaha yafa mu 1944, era yali amaze emyaka mingi ng’atawanyizibwa by’ebyobulamu. Kino kisuubirwa nga kyali kiva ku kikula kye: yali mita bbiri mu buwanvu era ng’azitowa kkiro 136. Mu 1918 yaweebwa ekitiibwa kya Order of the British Empire olw'obuweereza mu kusonda n'okutegeka emisolo okuva mu bannansi n'ekitongole ky'ebyokwerinda mu kitundu mu Uganda ekuumibwa.

Yalina omutabani omu Suleiman Mirindi kyokka yasikirwa mugandawe omwana wa kitaawe omuto Omugabe Gasyonga II ng’awagira abafuzi b’amatwale

Kahaya n’ababuulirira be, 1902

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]


  1. ANKOLE Template:Webarchive
  2. J.F. Cunningham, Uganda and its people (London 1905), pp. 20-21.
  3. Template:London Gazette