Jump to content

Kakende ow'e Toro

Bisangiddwa ku Wikipedia

Rukirabasaija Kakende Nyamuyonjo yali Omukama ow’omunaana mu Bukama bw'e Tooro, yafugira akaseera katono okuva mu 1875 okutuuka mu 1876 era nate okuva mu 1879 okutuuka mu 1880. Obukulebeze bwe bwaliwo mu kiseera eky’akatabanguko olw’okulwanagana okw’omunda n’okulumbibwa ab'ebweru, naddala Obukama bwa Bunyoro obwali ku muliraano, eky'ali kisomooza obuyinze n'amaanyi g'Obukama bwa Tooro mu kiseera ky'obukulembeze bwe. [1]

Okulinnya ku ntebe y'Obukama

[kyusa | kolera mu edit source]

Obukulembeze bwe obwasooka (1875–1876)

[kyusa | kolera mu edit source]

Kakende yalinnya ku Nnamulondo mu 1875 oluvannyuma lwa mukulu we Rukidi II okuva mu ntebe n’okudduka kwa muganda we omulala Rububi Kyebambe II olw’obulumbaganyi bw’amagye g’e Bunyoro nga gakulembeddwamu Omutaka Kikuule ow’e Bugangaizi. Okusituka kwe kwawagirwa eggye okuva mu Buganda, okulemesa Bunyoro okuyingira mu nsonga za Tooro. Kyokka obukulembeze bwa Kakende obwasooka bwali bwa kaseera katono, kubanga yavaayo n’amagye ga Buganda mu 1876, n’akkiriza muganda we Katera okutwala entebe. [2]

Obukulembeze bwe obw’okubiri (1879–1880)

[kyusa | kolera mu edit source]

Kakende yakomawo mu 1879, nate ng'ayambibwako amagye ga Buganda, n’agoba muganda we Rububi Kyebambe II asobole okweddiza entebe. Obukulembeze bwe obw'omulundi ogw’okubiri bwali bumpi kyenkanyi, bwaggwa mu 1880 amagye g’e Bunyoro bwe gamugoba, ekyaleetawo obukulembeze obw'enjawulo nga kino ky'aviirako Tooro okudda wansi w'obukulembeze bwa Bunyoro okutuusa mu 1891. Kakende n’addukira mu Buganda.

Emyaka gye egy'oluvanyuma

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 1880, Obwakabaka bwa Tooro bwalumbibwa eggye okuva e Bunyoro . Abalumbaganyi baagoba Omukama Kakende, eyasooka okuddukira Ankole n’oluvannyuma mu Buganda . Omukama Kakende yafa obulwadde bwa kawumpuli mu Buganda, nga 1885 tannatuuka.Yaziikibwa mu Zooni y'eBusimba , Mpogo, mu Disitulikiti y’e Sironko.

Obulamu bwe obw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yawasa Logose a musoga okuva mu Kika kya baise igaga

Omukama Kakende yazaala abaana basatu ne mukyalawe logose okuli;- omulenzi omu Katunku Zephania n'abawala babiri Bulage ne Mpindi.

Engeri Abakama gye bazze beddiringana:Omulundi ogwasooka

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Engeri Abakama gye bazze beddiringana:Omulundi ogw’okubiri

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]