Jump to content

Kalema owa Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Rashid Kalema Muguluma yali Kabaka w'Obwakabaka bwa Buganda owa 33 mu Uganda okuva nga 5 Omwezi ogw'ekkumi 1889. ,[1] [2]

Okulinnya ku namulondo

[kyusa | kolera mu edit source]

Kalema Muguluma yali mutabani wa Kabaka Mukaabya Walugembe Muteesa I, Kabaka wa Buganda, eyafuga wakati wa 1856 ne 1884. Maama we yali Ndibuwakanyi, ow’ekika ky'e Mamba. Yalangirirwa nga Kabaka eggye ly'abasiraamu eryamaamulako mukulu we Kabaka Kiweewa Mutebi ku namulaondo nga 21 Omewzi gw'ekkumi 1888. Ekibuga kye yakireka ku kasozi Mengo [1]

Obulamu bw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Awandiikiddwako okuba nga yawasa abakyala bano: [3]

  1. Nabikukuzi muwala wa Jjumba ow'ekika ky'e Nkima
  2. Sofia Kabakalongoosa muwala wa Kinyolo ow'ekika ky'e Nkima
  3. Nakibuuka muwala wa Mugema ow'ekika ky'e Nkima
  4. Zefiria Nnampa Nakibuuka muwala wa Bakkabulindi ow’ekika ky’e Ngeye
  5. Nabibooge muwala wa Kibaya ow'ekika ky'e Nsenene
  6. Veneneka Nabiwemba, muwala wa Wakooli, Omusoga ow’ekika ky'e Ngabi
  7. Njera Saabaddu muwala wa Gabunga ow'ekika ky'e Mamba

Abaana be abamanyikiddwa mulimu:

  1. Omulangira Kiweewa Zzimbe, nga nnyina yali Nabikukuzi
  2. Omulangira Edmond Alamanzaani Ndawula nga nnyina yali Zefiria Nnampa. Yafa nga 1,Omwezi gw'omusanvu 1916
  3. Omulangira Yozefu Musanje Walugembe, MBE. Yazaalibwa nga 31 Omwezi gw'omunaana 1889. Maama we yali Nabibooge. Yasomera mu ssomero lya Namilyango College . Mu Mwezi gwekkumi 1914, yakuzibwa nga 2nd Lieutenant mu ggye lya African Native Medical Corps. Mu 1915, yakuzibwa n’afuulibwa Lieutenant. Yaweereza mu Ssematalo Asooka okuva mu 1915 okutuuka mu 1919. Yaweebwa emidaali Member of the Order of the British Empire (MBE), 1915 Star and the British War n’ogwa Allied Victory medals. Nga 18 Omwezi gww'ekkumi n'ogumu 1907, yawasa Sala Kiire, muwala wa Chevalier Stanislas Mugwaanya, OBE, GCSG , ku White Fathers' Mission, Nsambya . Omulangira Musanje yazaala abaana basatu ab’obulenzi n’abawala babiri: (a) Omulangira Joseph Mukaabya (b) Omulangira Daudi Kimera (c) Omulangira Lodoviko Kamanya ne (c) Omumbejja Tereza Namukaabya (d) Omumbejja Mary Kamuwanda.
  4. Omumbejja Yuniya Maliamu Kamuwanda, nga maama we yali Veneneka Nabiwemba. Omumbejja Kamuwanda yatuuzibwa ku bwa Naalinnya eri Kabaka Daudi Chwa II nga 14, Omwezi gwomunaana 1897. Yafuna omudaali gwa Silver Jubilee mu 1935, ogwa Coronation medal mu 1937 n'ogwa Papal medal Pro Ecclesia et Pontifice" mu 1951. Yafa nga 30, Omwezi ogwokutaano 1951.
  5. Omumbejja Besemerese Hana Dimbwe. Yazaalibwa mu Kampala mu 1887. Maama we yali Sofia Kabakaalongoosa. Mu Mwezi gw'omwenda 1905, yafumbirwa, e Mbale, ng'omukyala owookusatu owa Semei Lwakirenzi Kakungulu, eyali Kabaka wa Bukedi mu kiseera ekyo. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (August 2020)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
Ekkomera lya Kalema mu Lunnya

Ekiseera okuva mu 1884 okutuuka mu 1897 kyalimu okusika omuguwa okw'amaanyi mu Buganda . Abaganda abawera baali bakyuse ne badda mu emu ku ddiini essatu enkulu mu bwakabaka; Obukatuliki, Obupolotesitante oba Obusiraamu Ng'abakulembeze mu bwakabaka bagezaako okuzza obuyinza ku bantu baabwe abaali beeggase ku maddini gano obwakabaka bwajjamu akasambattuko, obujeemu, okulwanyisa obuggyeeemu n’okuyigganyizibwa olw'eddiini.

Mu bbanga lya myaka kkumi n’esatu okuva mu 1884 okutuuka mu 1897, Buganda yalimu enkyukakyuka mu bukulembeze e Mengo emirundi mukaaga, ekyali kitabangawo mu bwakabaka. Ba Kabaka bangi baalondako enjuyi kwebagwa mu ddiini emu oba endala, okwesanga nga bamaamuddwa ku namulondo abawagizi b’amadiini ge bataalonda. Era embeera ne yeddingana bwetyo

Mu Mwezi ogw'ekkumi 1888, ekiwayi ky’ Abasiraamu kye kyali kisinga amanyi mu Buganda[4]. Abaminsani abakulisitaayo bonna baagobebwa, era Kabaka Kiweewa Mutebi Nnyonyintono n’aggyibwa ku namulondo . Kabaka Kalema Muguluma eyali akyuse n'adda mu busiraamu era naalonda erinnya lya Rashid, yatuuzibwa ku namulondo nga yatuuzibwa katikkiro wa Kiweewa, Muguluma . Wabula oluvannyuma lw’omwaka gumu gwokka, yawalirizibwa amagye g'Abangereza abafuzi b'amatwale okugivaako. Yaweebwa Abangereza akakwakkulizo: okukyuka okudda mu bukulisitaayo asigaze namulondo, oba okusigala nga musiraamu agifiirwe. Kirabwa n'ayonka nti yalondako busiraamu era naggyibwa ku namulondo.

Mu myezi ebiri ng’afuga, Kalema yaweereza ebirabo by’amasanga eri Sultan w’e Zanzibar n’awereekerezaako n'ebbaluwa. Mu bbaluwa, Kalema yeerangirira nga Sultan wa Buganda, era n’alangirira enteekateeka ye okugifuula eggwanga ery'obusiraamu. Yasaba kkulaani okusomesa Abasiraamu, wamu n’emmundu okukuuma ensi ye okuva ku balumbaganyi Abakulisitaayo.

Abakulisitaayo abanoonyi b'obubudamo bwebeegatta ne Mwanga, mu kugezaako okuwamba namulondo ya Kalema, Kalema yafuba okunyweza ekifo kye ng’aggyawo abantu bonna ab’olulyo olulangira abaali basobola okusendebwasendebwa okwegatta ku nsonga y’Abakulisitaayo. Yalagira abalangira n’abambejja bonna okwokebwa nga balamu. Abalangira n’abambejja nga amakumi asatu be baafiira mu ttemu lino nga kuliko ne batabani ba Mwanga abawere Kyonya ne Kagalo.

Okutta kuno okw’aboolugandalwe mu kirindi kwanyiiza abantu. Engeri Kiweewa gye yattibwamu- okumulumya enjala okumala ennaku eziwera, n'oluvannyuma n’akubwa amasasi n’afa ne bakazibe nabo ne battibwa yalabibwa ng’etaasaana kuyisibwamu kabaka, era ng'akabonero akabi ku bwakabaka. N’olwekyo abantu tebaayagala nnyo kwewandiisa ku ggye lye mu lutalo olwali lubindabinda erii amaggye g'abalukisitaayo. Mu lutalo olwaddirira, yawangulwa n’addukira e Singo.

Emyaka egyasembayo

[kyusa | kolera mu edit source]

Oluvannyuma lw'okuggyibwa ku Nnamulondo Abazungu, Kabaka Kalema yagenda mu buwanganguse mu Bunyoro. [5] Yafiira mu buwanganguse obulwadde bwa kawaali mu mwezi ogusooka 1891. Mu kiseera we yafiira, emyaka gye giteeberezebwa okuba nga gyali wakati w'amakumi abiri. Enjole ye yakomezebwawo n'ezikibwa e Mmende mu Busiro. [6]

Emmeeza y'obusika

[kyusa | kolera mu edit source]


Yasiksira Kabaka wa Buganda Yasikirwa

Kiweewa Nnyonyintono 1888-1889 Mwanga II

Mukaabya

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Bibles turn into bullets in Buganda". Monitor (in Lungereza). 2020-09-14. Retrieved 2024-05-25.
  2. "AFRICAN ARCHIVES GENERAL". theafricanarchives.com. Archived from the original on 2024-05-25. Retrieved 2024-05-25.
  3. Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. pp. 61–62.
  4. Sir John M. Gray, 1950. The Year of the Three Kings of Buganda. "Uganda Journal", 14, pp.15-52.
  5. Sir John M. Gray, 1950, ibid.
  6. Sir Apollo Kaggwa, 1901. Ekitabo kya Basekabaka b'e Buganda.
  7. "Former Buganda King, Nuhu Rashid Kalema Was a True Muslim Hero-Mufti". October 31, 2022.
  8. "Kabaka Kalema Muguluma Is Buried At Mmende, Busiro". Buganda.com. Archived from the original on 2013-06-15. Retrieved 2009-08-31.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Kabaka wa BugandaTemplate:Kabaka of Buganda

  1. 1 2 "Bibles turn into bullets in Buganda". Monitor (in Lungereza). 2020-09-14. Retrieved 2024-05-25.
  2. "AFRICAN ARCHIVES GENERAL". theafricanarchives.com. Archived from the original on 2024-05-25. Retrieved 2024-05-25.
  3. Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. pp. 61–62.
  4. https://exploreuganda.com/buganda/
  5. "Former Buganda King, Nuhu Rashid Kalema Was a True Muslim Hero-Mufti". October 31, 2022.
  6. "Kabaka Kalema Muguluma Is Buried At Mmende, Busiro". Buganda.com. Archived from the original on 2013-06-15. Retrieved 2009-08-31.