Erinnya lino litegeeza nti Kabaka ali ng'ensinjo mu maanyi ne mu bugumu, kuba ensinjo y'etema ebyuma ebirala. Ne Kabaka bwatyo awngula buli mulangira, oba buli mwami, oba omutaka yenna, amujeemera.