Kalooli Ddawano (Charles Darwin )

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Kalooli Ddawano (Charles Darwin) yali musajja Mungereza munnassomabiramu(biologist).Ye yasooka okulambulula
(i) “Ekigereeso ky’Ensibuko y’Ebikula” (the Theory of the Origin of Species)
(ii) Ekigreeeso ky’Ekyerongooserezo ky’Obulamu” (the Theory of the Evolution of life) era ekiyitibwa
(iii) Ekigereeso ky’Ekyerongooserezo ky’Ebikula (the theory of the evolution of species).
Abamu nno mubadde mukiyita kweyubula kwa bikula naye okweyubula kuba mu nsolo lugirigimba nga emisota . Bannakyerongooserezo (Evolutionists) bagamba nti ensibuko y’obulamu eri mu “enkyukakyuka ez’obuziba” (chemical reactions) ezaaliwo oruberyeberye mu byazi ku Nsi ne zivaamu obulamu obwangu ennyo(simple life) obw’akataffaalikamu(single celled organisms).
Bannakyerongooserezo bagamba nti obulamu obwangu obwasooka buzze bwerongoosereza okuyita mu Dawrwin kyayita okulondoba kw’obutonde (by natural selection) okutali kweyagalire, ekintu kye balaga nga beyambisa amatabi g’enjawukanya y’ebiramu (taxonomy of living things).