Kamanda Bataringaya

Kamanda Bataringaya musawo munnayuganda, munnabyabufuzi era yaliko omukiise wa Uganda wabweru. Ono era yaliko Minisita omubeezi ensonga z'abakozi n'amakolero mu kabineti ya Uganda . Yalondebwa ku kifo ekyo nga 1 Ogwokusatu 2015. [1] Okujja mu minisitule eyo yava mu minisitule y'ebyenjigiriza gyeyakoleranga nga minisita omubeezi avunaanyizibwa kubyenjigiriza ebisookerwako okuva nga 16 Ogwokubiri 2009. [2] Yaliko omubaka wa Palamenti akiikiirira Bwamba County mu disitulikiti ye Bundibugyo . [3]
Ensibuko n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Bataringaya yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Bundibugyo nga 24 Ogwekuminebiri 1959. Bataringaya alina diguli mu busawo eya Doctor of Medicine (MD), gyeyafuna mu 1990 okuva mu Kharkiv National Medical University e Ukraine . Alina ne diguli ey'okubiri munzirukanya ya bizinensi eya Master of Business Administration gye yafuna mu 2003 okuva mu yunivasite e Nkumba . Diguli ye eyokubiri mubyobujanjabi eya Master of Public Health yajifuna mu 2009, okuva mu University of the Western Cape, mu kibuga Cape Town e South Africa . Bataringaya era alina Dipuloma mu by'obulamu okuva mu ttendekero ly'ebyobujjanjabi erya International Christian Medical Institute e Canada .
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Yakolako nga omusawo ku ddaala erya Medical Officer ku ddwaliro ekkulu e Mulago okuva mu 1990 okutuuka mu 1992. Oluvannyuma yaweereza nga akulira eddwaliro lya Mityana District Hospital, e Mityana, okuva mu 1992 okutuuka mu 1996. Mu 1994, yalondebwa ku lukiiko olwabaga Ssemateeka wa Uganda owa 1995, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa 1995. Mu 1996, yalondebwa Omubaka wa Uganda mu Democratic Republic of the Congo, n'aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2000. Mu 2001, yayingira ebyobufuzi era n'avuganya ku kifo ky'omukiise mu palamenti e Bwamba County mu disitulikiti ye Bundibugyo era nawangula okulonda mu mwaka ogwo, mu 2006 ne 2011. Mu 2001 Kamanda Bataringaya yalondebwa okuba Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’obuggagga obw’omu ttaka, n’aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2009 lweyalondebwa mu minisitule y’ebyenjigiriza, nga Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako.
Ebimukwatako ebirala
[kyusa | kolera mu edit source]Mufumbo era munna kibiina kyabyabufuzi ekya National Resistance Movement . Kigambibwa anyumirwa kunoonyereza ku by'obusawo wamu n'ebyobufuzi .