Jump to content

Kambale Ferigo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Kambale Ferigo munnabyabufuzi Omunnayuganda era ali mu bakola amateeka g'eggwanga, nga mubaka, akiikirira munisipaali y’e Kasese mu Paalamenti ya Uganda eye 11. [1]

Yalondebwa mu Paalamenti oluvannyuma lw’okuvuganya n’okuwangula Robert Centenary n’abalala, mu kulonda kwa bonna okwa 2021. [2] [3] [4]

Mu kakuyege gweyaliko mu kunoonya akalulu k'okulonda kwa 2021, yasuubiza okusikiriza gavumenti okuddamu okuzimba eddwaliro lya Kilembe Mines, okuzimba eggwanika ery’omulembe, okuzimba ekisaawe ky’ennyonyi e Kasese n’okutegeka emisomo gy’eby'obusuubuzi okutumbuula bizineensi. [5]

Era y'Akulira ekibiina ky'omubintu ekiyitibwa Big Heart Foundation (BHF) ekitegeka okutendekebwa mu by'emikono eri abavubuka mu disitulikiti y'e Kasese, ng'era kibakulembeddemu mu kutandikawo ebibiina ebibayamba okulwanyisa okumalawo obutabeera na mirimu gyakukola.[6]

Mu kaseera keyamala nga y'Akulira Eby'ensiimbi e Kasese mu 2015, ekibinja ky’abavubuka kyalumba amaka ge nga kimusaba okwesimbawo mu kulonda kwa 2016, kye yakola wabula n’awangulwa. [7]

Y'ali omu kubaali ku ttiimu y’Ababaka ba Paalamenti okuva e Kasese, abaali basaba okwanguya mu kusala omusango wamu n'okuteebwa kwa Omusinga Charles Wesley Mumbere ow’e Rwenzururu, eyali ssaabaminisita we n’omukuumi w'Omusinga ow’e Rwenzururu. [8]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Parliament Swearing in Day two: who is on the list". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2021-12-09.
  2. "Centenary Concedes as Partial Results Paint loss for Him in Kasese Municipality". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2021-12-12.
  3. "How opposition disunity awarded NRM 20 MP seats". The Independent Uganda (in American English). 2021-03-18. Retrieved 2021-12-12.
  4. "Kambale Ferigo - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-09.
  5. "Mr. Kambale Ferigo on lobbying's for Kasese people". Kasese Guide Radio (in American English). 2020-10-17. Retrieved 2021-12-12.
  6. "Kasese NRM youth storm CFO's home". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2021-12-12.
  7. "Kasese NRM youth storm CFO's home". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2021-12-12.
  8. "Kasese MPs want Mumbere's trial expedited". Nile Post (in American English). 2021-08-24. Retrieved 2021-12-12.